Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abavubuka babagobye ku bifo mu NRM

File Photo: A member ba NRM Olukiiko lwa NRM olw’okuntikko lugaanye mukoddomi wa pulezidenti Museveni Odrek Rwabogo okwesimbawo. Rwabogo abadde yesimbyeewo ne Mathew Kyaligonza kko ne Kahinda Otafire ku kifo ky’amyuka ssentebe wa NRM mu bugwanjuba Otafire yye abivuddemu ekirese Kyaligonza nga talina amuvuganya. Olukiiko lwelumu lugaanye Hakim Lukenge okwesimba ku Alhajji Moses Kigongo ng’amyuka ssentebe w’ekibiina. Bino byonna byatuukiddwaako…

Read More

Aba DP babalemesezza e Mukono

Poliisi eremesezza aba DP e Mukono okukumba ku nguudo z’omu kibuga. Bano babadde bategese okutambula okutuuka ku festino city awalina okubeera olukiiko lw’abo bonna abaayise mu kamyufu ka DP. Bano babadde bakatandika poliisi nebebulungulula   Yye akulembeddemu abantu bano Betty Nambooze agambye nti kyannaku nti poliisi bulijjo ekkiriza aba NRM kyokka nga bwegutuuse ku bbo n’ebagaana Wabula aduumira poliisi e…

Read More

Seya bamugobye

Olukiiko tabamiruka olwekibiina kya liberal democratic trasperancy olutudde olwaleero lugobye Al hajji Nasser Ntegge Sebaggala ku bukulembeze bw’ekibiina ekyo. Bano balonze Abdnoor Kigunddu okudda mu bigere bye. Henry Walulya naye alondedwa okumyuka ate yye Zaidi Mukasa kati ye ssabawandiisi. Bw’abadde ayogerako nebanamawulire oluvanyuma lw’olukungana luno, Ssabawandisi w’ekibiina Zaidi Mukasa agambye nti Alhaji sebaggala agobeddwa oluvanyuma lw’okulemererwa okugoberera amateeka…

Read More

Obuveera buyooleddwa

Abakwasisa amateeka okuva mu kitongole ekikola ku butonde bw’ensi ekya NEMA baboye obuveera obubadde bugabwa mu supamaketi  n’amaduuka agabusuubuza mu kibuga kye Masaka. Ekikwekweto kino kissa mu nkola etteeka eryayisibwa nga liwera obuveera okukozesa Omwogezi wa NEMA Bob Nuwangira agambye nti baboye obuveera bwonna obuweweevu  kubanga baludde nga balabula ababutunda n’ababugaba naye nga tabawulira Wabula bbo abasuubuzi bakolimye…

Read More

Abali mu BUrkina Faso batubidde

Embeera mu ggwanga lya Burkinafaso ekyaali ya bwerinda yadde ng’enteseganya zikyagenda mu maaso. Bannamawulire abasangibwa mu ggwanga lino nga bagenze kwetaba mu Lukiiko olukwata ku ddembe lyaabwe negyebuli kati bakyasobeddwa Omu ku bano ye Munnayuganda Keno Lilian atutegeezezza enkya ya leero nti nakati tebannaddizibwa biwandiiko byaabwe. Keno agamba nti okuva enteseganya lwezatandise wakati w’abayekeera, omukulembeze wa Senegal and…

Read More

Bana bafiiridde mu kabenje

Abantu bana bafiiridde mu kabenje n’abalala 10 nebaddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka. Kabenje kano kagudde ku kyaalo Kalembe ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende Taxi namba UAW 780Q ebadde ejjudde abasaabaze eyabise omupiira n’egwa ekigwo. Atwala poliisi y’ebidduka e Mubende Johnson Yeheyo ategeezezza nti  abafudde kubaddeko abakyala babiri kyokka nga tebannategerekeka mannya. Dereeva wa Taxi eno…

Read More

Aba TDA bakyalemereddwa okukkaanya

Abavuganya gavumenti wansi w’omukago gwa The Democratic Alliance baddamu okutuula leero okwongera okuteesa ku ky’okusimbawo omuntu omu. Kiddiridde abakulu bano okulemererwa okutuuka ku kyebabadde basuubira olunaku lwajjo. Abeesimbyeewo baasabye okwongerwa ku budde batuule bokka berondemu omuntu omu. Ng’ayogera eri bannamawulire ekiro kyajjo, akulira DP Norbert Mao yategeezezza babawadde okutuuka bbalaza nga balonze omuntu era ng’olunaku lwaleero akafubo kaabwe…

Read More

Eby’okwerinda ku kisaawe Entebbe byakunyweera

Gavumenti emalirizza enteekateeka ezigendereddwaamu okunyweza eby’okwerinda ku kisaawe Entebbe. Senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agambye nti gavumenti ng’eri wamu n’ekitongole ekikola ku byembuuka y’enyonyi yakuzimba ekifo ky’omulembe Entebbe nga kirimu buli kalonda akwata ku by’okwerinda . Kaihura agambye nti bakwataganye ne gavumenti ya Kenya okulaba nti omulimu gutandika. Ekifo kino kyakubaamu kamera, zisikaana, embwa kko n’ebitaala by’ebyokwerinda…

Read More

Nambooze yesimbye mu bazimba ebbaala

Omubaka wa Munisipaali ye Mukono Betty Nambooze asimbidde ekkuuli eky’okuzimba ebbaala okumpi n’ekitebe kye Goma. Ono annenyezza nnyo tawuni kilaaka Innocent Ahimbisibwe okuwa bano olukusa okuzimba ebbaala ku ttaka awabadde wagenda okuzimbibwa eddwaliro nga liri mu ntekateeka. Ebbaala eno ezimbibwa wakati mu bukuumi bw’amaggye nga nanyini yo tanamanyika. Ekifo kino kyakusuza balambuzi abanajja kuno mu ku kyala kwa…

Read More

Omubbi wa Boda bamusse

Agambibwa okubeera omubbi wa bodaboda akubiddwa emiggo egimuttiddewo wali e Kayanja Namataba mu distulikiti ye Mukono. Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omubbi ono omulambo gw’omusajja ono bakedde kugusanga mu kitundu. Abatuuze bagamba nti omusajja ono kiteekwa okuba nga bamuttidde walala nebamusuula e Kanyanja Omulambo gwe gutwaliddwa e Kawolo mu ddwaliro

Read More