Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Atuze nyina omuto

Omwana agwiridde nyina omuto n’amutuga katono kumutta lwakulemera mu maka ga kitaawe Ivan Kisekka ow’emyaka 17 y’azze ku muka kitaawe Sarah Kayaga n’amutuga bw’amugwikirizza mu nyumba nga banne bagenze ku ssomero. Kayaga asangiddwa mu ddwaliro e Mulago nga obulago buzimbye agambye nti omwana ono amulanga kulemera mu maka gaabwe nga kati myaka 3 nga kitaabwe agenze e…

Read More

Ebizinga byakukulakulanyizibwa

File Photo: Ekizinga kye Kalangala Obwakabaka bwa Buganda butandise okunonya bamusiga nsimbi abanakulakulanya ettaka lyokubizinga bye Funve mu disitulikiti ye Kalangala erifa otulo awatali alikolerako. Minisita wa ssabasajja ow’ebyettaka , obulimi n’obutonde bw’esni  Eng. Martin Kasekende ategezezza ga obwakabaka bwebulina ettaka eriwerako erisaana okukulakulanyizibwa. Bino minisita Eng . Kasekende abyogedde alambula ettaka lino ne minsisita w’ebyobusuubuzi mu bwakabaka…

Read More

Abavubi bayombye

Abavubi ku mwalo gwe Lyabaana mu district ye Buvuma bavudde mu mbeera nebekalakaasa nga bawakanya envuba ya Early-Up ministry gyeyatongoza. Abavubi okuva e Kiyindi bebasinga okukozesa envuba eno nga kati etuuse ne Lyabaana, abaayo gyebemulugunyako nti mbi ebuza ebyenyanja. Bagamba abava e Kiyindi batega Mukene nenvuba eno nebakola ne ffujjo okuli okusala obutimba bwonna bwebasangawo. Abavubi balayidde nti…

Read More

Omukazi atemye omwana we

Entiisa ebutikidde abatuuze ku muluka gwe  Ogul mu disitulikiti ye Gulu maama bw’atemyeko mutabaniwe ow’emwaka ogumu omutwe omulambo n’agusuula mu kabuyonjo. Betty Acan  omusomesa  ku ssomero lya  Ogul Primary school  kigambibwa nti y’akutte ejambiya n’atemako mutabaniwe Joshua Kipa omutwe mu nimiro. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Aswa  Jimmy Patrick Okema akakasizza ettemu lino n’ategeeza nga poliisi…

Read More

Lwaki musindika bannayuganda ebweru

Ababaka ba palamenti batadde gavumenti ku ninga enyonyole lwaki eyagala kuwereza abakola emirimu gy’awaka mu ggwanga lya Saudi Arabia nga palamenti tenagikiriza. Ababaka okuli Beatrice Anywar, Bernard Atiku ne Elijah Okupa bategezezza nga gavumenti bweyazimuula alipoota y’akakiiko ka palamenti ak’ekikula ky’abantu eyalaga nga abawala bangi oluwerezebwa mu mawanga g’abawarabu bwebakomekereza nga bakola bwamalaaya. Ababaka bano bagamba nti…

Read More

NRM esekeredde abeekalakaasa

Akakiiko k’ekibiina kya NRM ak’ebyokulonda tekayiguse ttama ku bamemba b’ekibiina abatiisatiisa okukyabulira. Kino kiddiridde minisita omubeezi ow’ebyettaka nga era ye mubaka omukyala owa Kayunga Aidah Nantaba okutegeeza nga bweyavudde mu NRM olw’obubbi bw’obululu okweyolekedde mu kamyufu k’abakulembeze b’ekibiina ku disitulikiti gyebamumegedde. Nantaba y’alangiridde nga bw’agenda okwesimba ku ky’omukiise omukyala nga atalina kibiina mu kulonda kw’omwaka ogujja. Wabula nga…

Read More

Amateeka gakereeye nnyo- Kadaga

Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Kadaga mwenyamivu olwa gavumenti okulwawo okwanja amateeka g’ebyokulonda okukubaganyizibwako ebirowoozo.   Nga agulawo olutuula olw’enjawulo okuteesa ku tteeka ly’ebyokulonda, ategezezza nga bwebali mu kupakuka ku tteeka lino kale nga gavumenti esaanye obutanyooma mirimu gya palamenti.   Sipiika agambye ababaka mu kiseera kino bali mu kunonya kalulu kale nga okubayita okujja ate okuteesa kitataganya enteekateeka…

Read More

Atemyeeko omwana we omutwe

File Photo: Police nga ekola ogwayo Entiisa ebutikidde abatuuze ku muluka gwe  Ogul mu disitulikiti ye Gulu maama bw’atemyeko mutabaniwe ow’emwaka ogumu omutwe omulambo n’agusuula mu kabuyonjo. Betty Acan  omusomesa  ku ssomero lya  Ogul Primary school  kigambibwa nti y’akutte ejambiya n’atemako mutabaniwe Joshua Kipa omutwe mu nimiro. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Aswa  Jimmy Patrick Okema akakasizza…

Read More

Kyanjo yewozezzaako

Omubaka wa Makindye West Hussein Kyanjo yenyonyoddeko ku by’okusimbawo mutabani we okudda mu kifo kye oluvanyuma lw’okulangirira nti ye tadda. Gyebuvuddeko Kyanjo y’alagayo mutabaniwe Farouk Kyanjo naye ow’ekibiina kya JEEMA nga agenda okumuddira mu bigere ku bukiise bwa Makindye West. Kyanjo agamba y’asoose kwebuuza ku bakulu mu kitundu n’ekibiina kye nebakkanya asimbewo mutabaniwe. Kyanjo yu’omu ku banabyabufuzi abazze…

Read More

Omwana afudde asima kaamuje

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Nkomangani mu Kyegegwa   abaana 3 ababadde bagenze okusima  Kamuuje wansi bwebabuutikiddwa ettaka omu n'afirawo. Poliisi okuva e Kyegegwa ng'eyambibwako abatuuze basobodde okusimayo omulambo gw’omwana ono  ategerekese nga SsandeMuseveni Sande ow'emyaka 14. Kitaawe w’omwana ono Puluvisi Gamukama ategezeezza nga mutabani we bweyagaana okusoma 'natandika okupakasa ku kyalo nga okufa kwa mutabani we kumukubye…

Read More