Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abali b’enguzi babakutte

Abasirikale babiri bakwatiddwa lwa kulya nguzi okuva ku bantu ate beebabadde bakutte. Ayogerera poliisi mu kitundu kye Kyoka Juma Hassan Nyene abakwatiddwa abamenye nga Stephen Oselle ne Richard Obace. Abasirikale bano basabye Robert Okello emitwalo etaano okusobola okubayimbula. Bano balebuukana na misango gya ttaka Abasirikale bano okukwatibwa babadde balondoola ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi e Teso nga kikolagana ne poliisi.

Read More

52 bafa pneumonia buli lunaku

Abaana 52 beebafa obulwadde bwa Pneumonia buli lunaku mu Uganda. Bino biri mu alipoota efulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte ekikolwa ku nsonga z’abaana ekya UNICEF Ku Pneumonia,kuddako musujja gwa nsiri, kiddukano n’endwadde endala ng’ebiwuka omuli ne siriimu Akola ku by’amawulire mu kibiina kino Jaya Murthy ategeezezza nti omusujja gutta abaana 42 buli lunaku ate kkyo ekiddukano kitta abawerera ddala…

Read More

Omusajja alumyeko mukyalawe omumwa

Omusajja alumyeko mukyala we omumwa bwamuteberezza nti yanyumizza akaboozi ne mulilwana. Jamir Kasirye omutuuze we Kawempe mizigo  munana yalumye Zaina Kulabako oluvanyuma lwokusanga mulilwana munyumba mulukubba olukedde okutonya. Kulabako atasobodde kwogera naffe wabula nga ebigambo abiwandiise ategezezza nga omwami we bwatasuzze wakka nga yamulesse mu kaliyooki wabula kyandiba nti ensonyi zafuddemu obusungu bwatyo namukuba okumulumako omumwa. Ono alikudwaliro…

Read More

Museveni akubirizza abantu okukola duyiro

  Pulezidenti Museveni asabye abantu bulijjo okukola dduyiro okwekuuma nga balamu bulungi Bw’abadde ayogerako eri abakungubagizi mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Gen Aronda Nyakairima, pulezidenti agambye nti abantu bangi naddala abali mu bukulembeze tebafa ku bulamu bwaabwe ate nga tebawummula kimala. Ono agambye nti kyannaku nti Gen Aronda yafudde mu ngeri esobola okwewalika kyokka era n’asaba n’abantu okukoma okussa…

Read More

Laddu esse abaana 5

Ekikangabwa kibuutikidde abayizi n'abasomesa saako nabazadde ku somero lya Kabyuuma pulayimale school laddu bw’ekubye abaana 5 nebafirawo. Abalala 20 baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mubende nga bali mu mbeerambi ddala. Okusinzira ku mukulu we somero lino John Basaaliza, laddu eno ejidde mu nkuba ebadde etonya ku ssaawa mwenda ekiddiridde kwekubwatuka Abaana abafudde babadde ba kibiina kya p.3 ne…

Read More

Omulambo gwa Gen Aronda guli ku palamenti

File Photo: Omulambo gwa Gen Aronda guuli mu palamenti Ssabadumizi w’amagye g’eggwanga Gen Katumba Wamala asambazze engambo ezibungesebwa ku kufa kwa Gen Aronda Nyakayirima. Nga ayogerako nebannamawulire Gen Katumba ategezezza nti ebiyitingana pokopoko agendereddwamu okuwabya abantu. Gen asabye bannayuganda balinde ekinayogerwa gavumenti ku nfa ya Gen Aronda bave mu kutebereza.   Era Gen Katumba ategezezza nga omugenzi bw’agenda okuweebwa ebitiibwa…

Read More

Omusawo w’ekinnansi awangudde e Mukono

File Photo: Abawagizi ba NRM Abekibiina kya NRM e Mukono balonze omusawo wekinnansi okukulembera ekibiina mu munisipaali ye Mukono. Kabona Jjumba Aligaweesa eyakazibwako erya Jajja Jjumba alondeddwa ku Lukiiko olufuzi ngomumyuka. Ono agambye newankubadde musamize ye ne banne basobola okubaako enkyukakyuka zebaleeta mu kibiina nemubyobufuzi bye ggwanga. Agambye bingi ebibadde bitatambula bulungi ebiyinza okusuula ekibiina ekiviriddeko nabamu obutaganyulwa.

Read More

Kkooti egaanye okuyimbula ba maseeka

File Photo: Abasilamu ku kooti Kkooti etaputa ssemateeka eganye omwenda abavunanibwa okutta abakulembeze b’abayisiramu okweyimirirwa. Omulamuzi Eldard  Mwangushya  ategezezza nti nga abo abavunanibwa okutega bbomu mu 2010 abaddukira mu kkoti nga balwanirira eddembe lyabwe naye ate n’abenganda z’abantu abatibwa balina okulowozebwako kubanga nabo baagala bwenkanya. Omulamuzi era ategezezza nti yadde nga ssabawaabi wa gavumenti aluddewo okuwa abavunaanwa obuliji…

Read More

Abavubuka abatabuse ku mukago

File Photo: Abavubuuka ba Fdc nga bekalakasa Waliwo ekibinja ky’abavubuka ekitabukidde ab’ebibiina byobwanakyewa  ebiri emabega w’olusirika lw’omukago oguvuganya gavumenti ogwa The Democratic Alliance Summit. Abavubuka bano nga bakulembeddwamu  Burora Anderson nga era ye ssentebe w’abavubuka ba NRM e Wakiso agamba bano bakoze bubi eggwanga nga basimbawo abantu abalina amabala mu neyisa yaabwe.   Abavubuka bano bagamba nti ebibiina byobwanakyewa…

Read More

Abavuganya batudde nate

Olusirika lw’omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa The Democratic Alliance luyingidde olunaku olwokubiri nga abana abesimbyewo okugukwatira bendera mu kulonda kwa pulezidenti omwaka ogujja bongera okusaba obuwagizi.   Olunaku olw’eggulo olusirika lwatandise ku  Royal Suites e Bugolobi, nga basoose Kuteesa ku ngeri gyebagenda okulondamu anabakwatira bendera. Buli yesimbyewo aweereddwa eddakiika  20 okuperereza abalonzi okumuwagira.   File Photo: Abo mukago gwa TDA…

Read More