Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Salva Kiir yegaanye endagaano

File Photo:Abakulembeze be biwayi ekilwanira e South Sudan Omukulembeze w’eggwanga lya South Sudan  Salva Kiir  yetemye engalike ku ndagaano y’emirembe gyeyatekako omukono. Kiir ategeezezza nga bweyasindikirizibwa  okuteeka omukono ku ndagaano y’emirembe. Nga ayogerera ku televizoni y’eggwanga, Kiir ategezezza nga endagaano eno eyatekebwako omukono omwezi oguwedde bweyali enyomoola obwetwaze bw’eggwanga lye. Wabula ategeezezza nga bwali omweteefuteefu okuteeka mu nkola ebyasalibwawo…

Read More

Semaka yesse lwa mabanja

File Photo: Onyango nga yogeera Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze b’okukyalo kabale mu gombolola ye katabi wano e Wakiso, ssemaka bw’asazeewo okwetuga ng’ensonga mabanja. Omugenzi ategerekese nga Ivan Tamwa, ng’ono asangiddwa ku muti gwa ffene e manju nga alengejja. Ayogerera poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango atubuulidde nti omugenzi abadde n’amabanja agatagambika, era nga abamubanja babadde  bajja ewuwe buli kadde…

Read More

Ebibiina mu mukago byekengedde

File Photo: Abo mukago gwa TDA ngabali mu kutuula lwa bwe Abamu ku babaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti batandise okwekengera embeera eri mukago gwa The Democratic Alliance. Kino kizze wakati mu kwemulugunya okuliwo okuva eri bannabibiina abagamba nti amateeka gamenyeddwa bwegwatuuse ku Amama Mbabazi. Omubaka we Buikwe mu bukiikaddyo Dr Lulume Bayiga agambye nti engeri yokka abavuganya…

Read More

Bagenze kusoma kulima

File Photo: Abayizi be Makerere Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi olwaleero asiibudde abayizi 200 abagenze okusoma ebyobulimi mu yisirayiri okumala emyezi 11. Abayizi bano beebamu kw’abo abasomye ebyobulimi mu yunivasite ezitali zimu. Ekibatutte kussa mu nkola byebasomye era ng’abayizi bano bakugabibwa mu mafaamu agatali gamu Sekandi agambye nti kino kirungi nnyo kubanga abayizi bajja kudda nga bakugu ate…

Read More

Gavumenti ssi yakwewola

File Photo: Patrick Ocailap nga wuliriza omukyala Geraldine owa Nssf Gavumenti etegeezezza nga bw’etagenda kwewola nsimbi ndala mu okuddukanya kulonda kwa 2016. Kati Minisitule zonna n’ebitongole bya gavumenti ebirala bisaanye okwenyweza ng’eggwanika lya Uganda lyongera okunyweza mu nsasanya y’ensimbi. Amyuka omuwandiisi w’eggwanika ly’eggwanga  Patrick Ocailap, agambye nti gavumenti egenda kugendera ku nsasaanya eyagerekebwa ogwasooka ku by’okulonda nga era…

Read More

babakenderezza ebibonerezo

Abantu munaana abaali batereddwa ku kibonerezo ky’okuttibwa oluvanyuma lw’okusingisibwa emisango gyanaggomola kkooti enkulu ebakendereza ku kibonerezo. Bano baleeteddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Lawrence Gidudu n’abakendereza ku bibonerezo oluvanyuma lw’okwenenya nebasaba kkooti ebaddiremu. Muno mubaddemu egy’obutemu, obunyazi n’emirala. Omulamuzi Joseph Mulangira awulirizza  okusaba  kwabwe n’abajja ku kibonerezo eky’okuttibwa n’abazza  ku kibonerezo kyakusibwa wakati w’emyaka 26 okutuuka ku…

Read More

Basanze mufu wa jjo

Poliisi mu Kampala etandise okunonyereza ku muyizi w’ettendekero lye Nkumba asangiddwa ng’afiiridde mu muzigo gwe enkya ya leero. Michael Irra ow’emyaka 24 abadde asula mu kisulo ekimanyiddwa nga M-hostel era nga mikwano gye egikedde okumukyalira gyegigudde ku mulambo gwe. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Oyango agambye nti omulambo gw’omuvubuka ono tegubaddeeko yadde ekiwundu. Poliisi ekwataganye n’abatwala…

Read More

Palamenti enasiima Aronda

Palamenti  etaddewo olwokuna lwa ssabbiiti eno nga olunaku olw’enjawulo okukungubagira eyali ssabadumizi w’amagye g’eggwanga Gen Aronda Nyakairima. Gen Aronda era abadde  omu ku bajaasi ba UPDF 10 abakiikirira amagye mu palamenti. Atwala ebyamawulire bya palamenti  Hellen Kaweesa ategezezza nga entekateka bweziwedde okuzza omulambo gw’omugenzi. Agamba omulambo gw’omugenzi gwakwanirizibwa ku palamenti sipiika yenyini, gukubibweko eriiso evvanyuma olwo  wategekebwe olutuula…

Read More

Abavuganya bakyalina olugendo

File Photo: Abo mukago gwa TDA ngabali mu kutuula lwa bwe Omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti gukyalina olugendo luwanvu nyo okulangirira anabakwatira bendera mu kulonda kwa pulezidenti omwaka ogujja. Olunaku olw’eggulo ensisinkano wakatai w’abakulira omukago guno n’abakwatidde ebibiina ebyenjawulo bendera teyavuddemu kalungi. Ensisinkano eyolunaku olulamba batesezza ku byakuteekawo akakiiko akanatunula mu kwemulugunya kwa loodi meeya Eria Lukwago olw’ekisinde kye…

Read More

Byandaala ali mu kkooti

File Photo: Minister we bye mirimu ne nguudo Minisita atalina mulimu gwankalakalira Eng. Abraham Byandala wakulabikako mu kkooti olwaleero bamusomere emisango gy’obufere. Kigambibwa nti omusango guno y’aguzza nga akyali minisita w’ebyenguudo. Byandala n’abaali abakungu b’ekitongole ky’ebyenguudo bakulabikako mu kkooti ewozesa abakenuzi mu maaso g’omulamuzi Julius Borore okumanya wa okunonyereza wekutuuse ku musango gwabwe. Emisango emirala kuliko okukozesa obubi ofiisi…

Read More