File Photo: Fred Enanga asooka nga wandiika
Omusajja asse mukyala we ng’amulanga kumumma kaboozi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga omukwate amumenye David Kotosi omutuuze ku kyaalo ekimanyiddwa nga green pasture e Mbale.
Enanga agamba nti omusajja ono mukyala we amusanze mu kiyungu n’amusaba akaboozi ky’agaanye n’abaka akambe akabadde okumpi.
Ono wakuggulwaako misango gya ttemu
File Photo:Ekipande kya Mbabazi ekya kampeyini
Ab’ekitongole kya Kampala
File Photo:Aronda ngali na bawandisa endaga muntu
Pulezidenti Museveni agamba nti bakukola kyonna ekisoboka okumanya ekituufu ekyasse abadde minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga gen Aronda Nyakairima
Bw’abadde akyaliddeko ab’enyumba y’omugenzi, pulezidenti agambye nti gavumenti yatandise dda ku ddimu lino yadde nga tekijja kuzza bulamu bwe.
Agambye nti ekirungi nti Gen Aronda yabadde n’abantu abalala bana abagenda okuyambako okunyonyola…
Gavumenti esabye abantu okusigala nga bakkakkamu nga bw’enonyereza ku kufa kw’omuduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Aronda Nyakarima.
Kino kizze wakati mu biyitingana nti Gen Aronda yandiba nga yattiddwa.
Gen Kaihura agamba nti kano kaseera kakukungubaga sso ssi kusonga nnwe mu bantu.
Bbo abantu bakyagenda mu maaso n’okukungubagira Aronda bangi gwebogerako ng’omusirise kyokka ng’abadde mukozi.
Ababaka aboogeddeko naffe bagamba nti Aronda…
Abatuuze be Kibaale ne Kasese bagumbye ku kooti enkulu, nga bagamba nti okuvaawo nga gavumenti emaze kubaliyirira.
Bano abasoba mu 500 bagamba nti baagobwa mu kibira ekigambibwa okubeera ekya gavumenti kale nga beetaga okubaliyirira obukadde obusukka mu 300
Bano bagamba nti gavumenti yali yabasuubiza okubawa obukadde 12 buli maka,wabula nga na guno gujwa nakaakano mpaawo nusu gyebali…
Akakiiko k’ebyokulonda kakalambidde nekategeeza nga bwewatali Muntu agenda kukkirizibwa kukuba nkungaana , okujjako ng’amaze okukakasibwa.
Bino byogeddwa akulira akakiiko k’eby’okulonda Eng Badru Kiggundu bw’abadde awayaamu n’abagenda okuvuganya ku bwa pulezidenti ku kitebe ky’ekibiina kino.
Kiggundu agambye nti abeesimbyewo baakima bukimi mpapula eziraga nti bagenda kuvuganya kale nga mpaawo yaabakakasizza.
Ono agamba nti etteeka erifuga okulondebwa kw’omukulembeze w’eggwanga terimanyi…
Akakiiko k’ebyokulonda kakiggumizza nga bwewatali Muntu yenna akkirizibwa okukuba enkungana , okujjako nga amaze okususunsulwamu nakakasibwa mukakiiko kano nti egenda kuvuganya.
Bino byogedwa akulira akakiiko k'eby’okulonda Eng Badru Kiggundu bw'abadde awayaamu n'abagenda okuvuganya ku bwa pulezidenti ku kitebe kyekibiina kino.
Kiggundu agambye nti abantu bonna kaakakano abeeyita abagenda okuvuganya baakima bukimi mpapaula, mpaawo yaabakakasizza, kale nga kimenya…
Abadde minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen. Aronda Nyakairima afudde.
Aronda afiiridde ku kisaawe e Dubai nga yakava e South Korea ng’abadde n’emyaka 56.
Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ategeezezza nti Gen Aronda afiiridde ku kisaawe e Dubai nga yakava mu South Korea era ng'abadde alinda nyonyi ndala.
Yye Sipiika wa Palamenti omukyala Rebecca Kadaga agambye…
Eyali ssabaminista w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi kyaddaaki yegasse ku mukago gw’abavuganya ogwa Democratic Alliance
Kiddiridde okussa emikono ku ndagaano emukkiriza okukolagana na bano.
Mbabazi yakulembedde kibinja kyeyatuumye Go Forward era olw'amaze okussa omukono ku ndagaano n’akwasibwa foomu ezimukkiriza okuyingira olwokaano lw’okulonda anaakwata bendera.
Ababaddewo nga bino bigenda mu maaso kuliko Wasswa Biriggwa, Asuman Basalirwa, Zac Niringiye n’abalala…
Abantu abawerera ddala 107 beebafudde n’abalala 230 nebalumizibwa ekimotoka kiwetiiye bwekikutuseeko ekikono nekigwa wakati mu bakkirizza e Mecca mu Saudi Arabia.
Ekikono kino kigudde wakati mu muzikiti ogusinga obunene mu nsi yonna era kino kibaddewo mu kusaala kwa Juma
Akulira ensonga z’ebyokwerinda mu Saudi Arabia ategeezezza nti omuyaga ogwmaanyi ogujjidde mu nkuba gwekuzadde ebizibu.
Kino kizze nga abayisiraamu…