File Photo : Mbabazi nga yogeera
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi aweze okugenda mu maaso n’olukungaana lwe olw’e Jinja.
Kiddiridde omuwandiisi wa distulikiti okuyisa ekiragiro ekiyimiriza olukungaana lw’alina okukuba e Kakindu.
Ono agamba ekisaawe ky’e Kakindu poliisi yakyesooka okutendekeramu abaserikale baayo sso nga ewalala mu kitundu kye Kazimingi abatuuze abaliranyewo tebagala kubatataganya.
Poliisi eweze okulinya eggere mu nkungaana zonna…
File Photo: Ekizimbe nga ki bulidde mu mazzi e'Japan
Abatuuze mu ggwanga lya Japan emitima gibewanise oluvanyuma lw’amataba okukwata olunaku olwokubiri nga gagoya ebitundu ebyenjawulo olw’omuyaga gwa Typhoon Etau okuddamu okukunta.
Gavumenti kati eragidde abali mu bitundu omuli amataba okwamuka amaka gaabwe olw’okutya nti essaawa yonna ettaka lyakubumbulukuka.
Omuntu omu y’akyabuze oluvanyuma lw’okwerebwa amataba gano.
Bbo abantu 15 balumiziddwa…
File Photo: Baddereva ba Taxi mu lukunmwana
Abagoba ba taxi ku stage ye Kasubi ne Kawempe bawanjagidde ekitongole kya KCCA okuvaayo mubwangu babafunire gyebaba bakolera basobore okuganyulwa mulimu gwabwe.
Bano abasangidwa mu paaka ya Namaiba bagamba KCCA yabagoba mu paaka nebasula mu paakaya Namirembe kyokka nga nabaliyo nabob babagobye mukulwanagaana okwalesse banabwe nga banyiga biwundu.
Abadereva bagaseeko nti…
Akutte bendera y’ekibiina kya FDC mu kulonda gwa 2016 Dr Kiiza Besigye olwaleero awandiisiddwa okwesogga olwokaano lw’abo abagaala okukwata bendera y’omukago gwa The Democratic Alliance.
Besigye agambye ssi wakulekera awo kusaba nongosereza mu mateeka ga bya kulonda
Ono yegasse ku Gilbert Bukenya ne Norbert Mao abasooka okuwandiisibwa
Ku bano bonna, omu y'agenda okulondebwa okukwata bendera y'abavuganya mu kulonda…
File Photo: Mbabazi nga buza Museveni
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi agamba nti ku bigenda mu maaso tewali kimukanga.
Mbabazi abadde ayogerako eri abawagizi be oluvanyuma lwa poliisi okusattulula olukiiko lwe agambye nti gavumenti akimanyi nti etiribira kyokka nga wakusigala ng’alwanirira enkyukakyuka
Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala n’okukuba amasasi mu bbanga okusattulula abawagizi ba Mbabazi .
Olutalo lwe soroti lwakedde…
File Photo: Abaana nga bayimiridde
Ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku nsomga z’abaana ekya UNICEF kifulumizza alipoota eraze nga omuwendo gw’abaana abafa nga bato bwegukendedde n’ebitundu 50% okusinga nga bwegwali mu 1990.
Alipoota eno eraze nti emyaka 25 emabega abaana obukadde 12 nga bali wansi w’emyaka 5 bebaali bafa buli mwaka wabula nga omwaka guno bakyali obukadde…
Yadde nga olusoma olwokusatu lwaguddewo ku mande mu butongole,abaana b’abanonyi b’obubudamu mu nkambi ye Sango bay bakyali waka.
File Photo: Enyumba za babundabunda
Kino kiddiridde gavumenti okuggala essomero lyokka elyali mu nkambi bwebategeeza nga ababundabunda bano bwebaali abokutwalibwa mu nkambi endala ekitanaba kukolebwa.
Akulira essomero elyagalwa Richard Ojok agamba abaana 1632 bebolekedde okukosebwa mu nteekateka eno.
Enkambi y’ababundabunda eno…
File Photo: Mbabazi nga e Mbale
Bannamateeka ba Amama Mbabazi baweze obutassa Mukono ku ky’omuntu waabwe okugenda mu maaso n’okwebuuza ku balonzi.
Nga bakulembeddwamu Fred Muwema, bategezezza nga bwebajja okukuba akakiiko k’ebyokulonda mu mbuga z’amateeka singa kagenda mu maaso n’okulemesa omuntu waabwe okwebuuza ku balonzi.
Muwema agamba Mbabazi mpaawo tteeka lyonna ly’amenya nga era ssibuvunanyizibwa bw’akakiiko k’ebyokulonda okumukkiriza…
File Photo: Mbabazi nga e Mbale
W’owulirira bino nga eyali ssabaminisita w’eggwanga nga kati ayagala bwa pulezidenti John Patrick Amama Mbabazi atuuse e Soroti okuva okuva e Mbale gyeyasuze oluvanyuma lw’enkungaana zeyakubye e Kapchorwa olunaku lw’egulo.
Mbabazi ayaniriziddwa abawagizi be nga era awerekeddwako bandi okuyingira mu kibuga Soroti wakati.
wabula Poliisi ye Soroti eremesezza abawagizi ba Mbabazi okukunganira…
File Photo: Meeya wa Kampala nga yogeera
Ab’ekibiina kya Democratic party batandise kawefube w’okukunga ba memba abaagala okwesimbawo ku bwa loodi meeya.
Omwogezi wa DP Kenneth Paul Kakande agamba okusooka bakutegeeza omuloodi wa kampala Elias Lukwago balabe oba anavuganya nga bwanagaana olwo basimbewo omulala.
Mungeri yeemu ekibiina kya Democratic Party kyakakakasa empapula z’obuyigirize azabantu 100 abaagala okwsimbawo ku…