Ab’ekibiina kya FDC olwaleero lwebasubirwa okuwayo anabakwatira bendera mu mukago oguvuganya gavumenti ogwa the Democratic Alliance.
Dr. Kiiza Besigye, wakwegatta ku ssenkaggale w’ekibiina kya DP Norbert Mao n’eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya abesogga edda olwokaano
Mungeri yeemu eyali ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi alina okutuusa olunaku lwenkya okugyayo n’okuzzayo foomu z’okusunsulibwa bwaba wakwegatta ku mukago.
Omukago…
File Photo: Sam Rwakoojo ngali ne Kigundu
Akakiiko kalondesa olwaleero kawandikidde eyali ssabaminisita Amama Mbabazi nga kamuyimiriza okukuba enkungaana kubanga obudde tebunnaba kutuuka
Omuwandiisi w’akakiiko Sam Rwakoojo agamba nti Mbabazi alina kwebuuza ku bantu mu nkiiko entono sso ssi nkungaana nga bw’akola
Mbabazi n’olwaleero agenze mu maaso n’okwebuuza ku bantu ng’abadde Kapchorwa.
Mbabazi agamba ekimuleese kulwanirira abavubuka.
Bw’abadde ayogerako eri…
File Photo: Semaduuka we Kenya owa Garden City Mall
Bannakenya basumattuse bbomu ebadde etegedde mu ssemaduuka amanyiddwa nga Garden City mall.
Abasajja basatu beebakwatiddwa nga kigambibwa nti babadde bateze bbomu zino poliisi z’esobodde okulemesa okubwatuuka
Okusinziira ku beerabiddeko n’agaabwe , omu ku bakwatiddwa kigambibwa okuba ng’agaanye okumukebera kyokka abakuumi nebamusinza amaanyi.
Mu mwaka gwa 2013, aba Alshabaab balumba ssemaduuka…
File Photo: Abakazi nga bakoola duyilo
Abakugu mu byobulamu bakizudde ku buli bantu kkumi abakola dduyiro, omu atuuka ku ntikko.
Omusawo omukugu mu bya dduyiro Dr Debby agambye nti kisinga kubaawo ssinga omuntu akola dduyiro alimu okuwanika amagulu.
Gwe akola duyiro twetaaga bujulizi.
File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono
Paapa Francis alangiridde enteekateeka z’okulagayaamu ku mateeka agagobererwa ku kukkiriza abagattiddwa okuddamu okuwasa oba okufumbirwa ssinga badduka mu bufumbo.
Mu kadde kano, eklezia tekkiriza bafumbo kwawukana nga balina kuba bonna okutuuka kufa mu mbeera zonna
Kati ssinga abafumbo bombi basaba okugattululwa, kijja nga kubaawo
Kyokka ssinga omu ku bafumbo bano addamu…
Okulonda kw’abakulembeze ba NRM ku byalo wali ku Old Kampala kugudde butaka.
Kino kiddiridde abalonzi wamu n’abesimbyewo okwekengera enkalala z’abalonzi ezizze nga tekuli bufananayi bw’abalonzi.
Abakakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina basazewo abalonzi bawandike amanya g’abo bebaagala okulonda ku bupapula ekiwakanyiziddwa mbagirawo.
Mu nteekateeka eno atamanyi kuwandiika abadde wakuyambibwako wabula abalonzi nebategeeza nga bweruli olukujjukujju okubba obululu
Mungeri yeemu abatuuze ku kyalo…
Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao kyaddaaki afulumizza enteekateeka ye ey’okwebuuza ku balonzi .
Mao agenda kuba ng’akuyega abantu okumuwagira okukwata bendera y’omukago gw’abavuganya ogwa The Democratic Alliance.
Omwogezi wa DP Kenneth Paul Kakande agamba nti Mao wakutandikira Masaka olwo ayolekere disitulikiti ye Gulu.
Eyali ssentebe wa SC Villa Chris Mubiru bamusingizizza omusango gw'okulya ebisiyaga.
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Flavia Nabakooza y’asingisizza Mubiru omusango guno oluvanyuma lw’okwetegereza obujulizi obwaleetebwa abajulizi nga bumulumika okuvuga empanka.
Omu ku baagwa ku kyokya Emmanuel Nyanzi yoomu ku baawa obujulizi.
Nabwekityo omulamuzi asazizzaamu okweyimirirwa kwa Mubiru n’amusindika ku meere e Luzira okutuusa nga 18 September…
Abantu 2 bafiiridde mu kabenje akagudde wali ku luguudo lwa queens way.
Akabenje kano kavudde ku mmotoka ey’ekika kya super custom eremeredde omugoba waayo n’etomera omuti n’etta abantu 2 ku basatu ababadde okumpi.
Abamu ku berabiddeko n’agaabwe bategezezza nga dereva w’emmotoka eno bw’abadde agezaako okutaasa ow’ebigere abadde asala oluguudo wabula emmotoka n’emulemerera.
Wabula ye atwala poliisi ye Katwe …
Eyali ssentebe wa VIlla Chris Mubiru bamusingizizza omusango gw'okulya ebisiyaga.
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Flavia Nabakooza y’asingisizza Mubiru omusango guno oluvanyuma lw’okwetegereza obujulizi obwaleteebwa abajulizi nga bumulumika okuvuga empanka.