File Photo: Mao nga ziina
Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao awakanyizza eby’okuzira okulonda kwa 2016 nga tewali nongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okuzzaayo foomu z’okwesimbawo okukwata bendera y’abavuganya, Mao agambye nti ekyabagasse ku bavuganya kwekulaba nti basimbawo omuntu omu mu kulonda sso ssi ate kukuzira.
Mao agamba nti okusaba enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda kusigalewo…
File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda
Landiloodi eyakuba omupangisa we emiggo n’amutta olw’okuganza muwala we addizidwaayo ku meere e Luzira.
James Lubayizi asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku City Hall Elias Kakooza alagidde abasirikale b’amakomera bamuzze e Luzira okutuusa ssabbiiti ejja.
Wabula kino kiddiridde omuwaabi wa gavumenti Jackie Kyasimire okutegeeza kkooti nti okunonyereza ku musango guno kukyagenda…
File Photo: Naduuli nga laaga empapuula ze
Ssentebe wa disitulikiti ye Luweero Abdul Nadduli ajereze aba abamusojja kuluwonzi nti talina mpapula zabuyigirize.
Nadduli gwetusanze ku kitebe kya NRM ng’azzaayo empappula z’okwesimbawo ku bwa Ssentebe bwa district ye Luweero, Nagambye nti abo ababungeesa engambo nti talina mpapula zabuyigirize bagaala kubuzabuza balonzi mu disitulikiti ye Luweero.
Nadduli agambye nti ne…
File Photo: Taxi ngaziri mu park
Kondakita wa taxi aludde ng’anyaga abatuuze abakozesa oluguudo lwe Kamwokya Ntinda akwatiddwa era n’asimbibwa mu mbuga z’amateeka.
Peter Namawa avunaaniddwa mu kkooti y’omulamuzi Moses Nabende ku City Hall kyokka ng’omusango agwegaanye.
Kigambibwa nti Namawa abadde ajja akwata mu nsawo z’abasaabaze naddala abatuula mu maaso
Asoose okumuwaako obujulizi abadde mukyala Esther Nakyonyi ategeezezza nti …
File Photo: Baddereva ba Taxi mu lukunmwana
Ba dereeva ba taxi basatu beebalumiziddwa mu kulwanagana okubaddewo nga KCCA yezooba n’abatikkira ku siteegi y’oku mini price mu kibuga Kampala.
Okulwanagana kuno kuddiridde ekitongole kya KCCA okuwera emotoka zonna ezitikkira n’okujjamu abasabaaze mu paaka ne siteegi z’ekimpatiira.
Abalumizidwa kuliko Joseph Kisambu nga mugoba wa taxi ku siteegi ye Gayaza, ssalongo…
File Photo: Mbabazi nga e Mbale
Kyaddaaki eyali ssabaminisita w’eggwanga nga kati ayagala bwa pulezidenti John Patrick Amama Mbabazi atuuse mu kibuga Mbale wakati w’okwanirizibwa namunji w’omuntu n'obukwakkulizo eri poliisi .
Poliisi eggadde enguudo bbiri ezoolekera Hotel Pretoria Mbabazi gy’asuubirwa okusisinkana mu bakakuyege be.
Enguudo zino kuliko olwa Republic Street n’olwa Naboa zonna nga ziri mu tawuni ye…
File Photo : Mao ngali mulukumwana
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Norbert Mao azizzaayo empapula z’okwesimbawo ku bwapulezidenti ku tikiti y’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa the Democratic alliance .
Mao abadde awerekeddwaako ssabawandiisi w'ekibiina Mathias Nsubuga n'omubaka Isa Kikungwe.
Azze akwataganye n'enkumbi ng'akabonero akalaga nti wa DP era nga ng'ono gy'ayagala okukiikirira mu lwokaano lw'okukwata Bendera y'abavuganya…
File Photo: Laddu esse abantu mu Buyindi
Laddu esse abantu 32 mu ggwanga lya Buyindi.
Enjego eno ebadde mu masaza okuli Andhra Pradesh ne Orissa.
Abasinga laddu eno ebakubidde mu nnimiro oluvanyuma lw’enkuba okubasanga nga balima.
Mu biseera by’enkuba laddu zikuba nyo abantu mu ggwanga lya Buyindi.
Yo gavumenti eyongedde okulabula abantu mu bitundu ebitali bimu okwegendereza enyo mu biseera…
File Photo: Abaana nga bazanyira munkuba
Abatuuze mu disitulikiti ye Agago basigadde bafumbya miyagi oluvanyuma lwa namutikkwa w’enkuba okuleka nga asudde amayumba agasinga.
Enkuba eno era esanyizzawo ennimiro z’entungo, omuwemba, ensuku z’amatooke n’ebirime ebirala mu gombolola ye Parabongo .
Ssentebe w’egombolola eno Augustine Oryem ategezezza nga yiiki z’ebirimu ezisoba mu 400 bwezononeddwa.
Oryemu agamba bakyatekateka alipoota ku bibamba bino…
File Photo: Bus nga efunye akabenje
Abantu 18 banyiga biwundu mu ddwaliro lye Lacor oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje ka baasi mu gombolola Minakulu mu disitulikiti ya Oyam.
Akabenje kano kaagudde ku luguudo oluva e Gulu okudda e Kamdini baasi ya kampuni ya Victory namba UAT 596H ebadde edda e Juba bw’eseredde n’eva ku luguudo neyevulungula.
Aduumira poliisi mu…