Waliwo omusajja ow’emyaka 23 akubidwa mu mbuga z’amateeka nga alangibwa kubba Mbwa
Nickson Nimungu nga mutuze we Nakawa yaasimbidwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku City Hall Elias Kakooza omusango gw’okubba embwa naagwegana.
Oludda oluwabi lutegezezza kooti nti nga 8th August 2015 e Ntinda ,Nimungu yabba embwa ekika ekya German Shepherd nga ebalirirwamu emitwalo nkaaga.
Embwa egambibwa…
Mu dwaliro e Mulago waliyo omwana ow’emyezi omweda ali mubulumi obutagambika, oluvanyuma lw’okwokyebwa caayi abadde alekedwa ku meezza.
Okusinzira ku avunanyizibwa kuby’amaka n’abaana ku polisi ye Wandegeya Stella Asiyo, omwana Charles Kaweesi aleetedwa kitawe Paul Kaweesi omutuuze we Katanga , oluvanyuma lwa nyina okwekweka nga atya abatuze okumugajambula.
Mukaseera kano omwana atwalidwa Mulago afune obujanjabi
Mu district ye Iganga waliwo e motoka ekika kya Fuso ekwatidwa nga ekubyeko obugule bw’obwenyanja obuto.
Emotoka eno namba UAR-963c ebade eva ku Nyanja Nalubaale okwolekera disitulikiti ye Busia, era nga ebadeko tani z’ebyenjanja ezisoba mu munaana.
Twogedeko ne Imiran Tumusiime nga ono yakulira ebikwekweto mu ofisi ya minister akola ku byenvuba, naatutegeeza nti basobode okukwata abantu…
Omubaka akikirira amasekati ga kampala Mohamad Nsereko akubidwa mu mbuga z’amateka, nga kino kidiridde okulemwa kusasaula obukade 270 zeyeewola kumusuubuzi w’omukampala.
Omusuubuzi Amdan Khan yaatutte Nsereko mu kooti ekola ku by’obusuubuzi, nga ono agamba nti yamuwola Doller 100,000 mu December wa 2012 nga amusuubizZa okuzizza mu naku 90 , wabula okuva olwo tamulabangako.
Ono agamba nti aludde…
Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC era ngayesimbyewo okukwata bendera ya FDC mu kulonda kwa 2016, Dr Kiiza Besigye alabye katemba atali musasulire abegwanyiza okwesimbawo ku bubaka bwa parliament mu kibiina kya FDC mu municipality ye Soroti bwebalwanidde ebyuuma by’emizindaalo.
Obutakanya buno bubaluseewo okuvanyuma lwa Herbert Ariko bwagezezaako okujjawo emizindaala abategesi gyebabadde baleese, olwo natekawo emotooka eriko…
Ab’ekibiina kya UPC bataddewo obukwakkulizo bwebaba nga bakwegatta ku mukago gw’abavuganya gavumenti ogwa the Democratic alliance.
Ekibiina kino kyagaala omukulembeze waakyo y’aba akwata bendera ku bukulembeze bw’eggwanga
Bano era bagamba nti bajja kusimbawo abantu baabwe ku mitendera gyonna awatali kwegatta ku kibiina kyonna nti basimbewo omuntu omu.
Bino bisaliddwaawo bannakibiina abasoba mu 800 abakungaanidde ku Jokas Hotel e…
Poliisi ng’eri wamu n’abantu babulijjo babaze ku muyiggo gw’omwana w’emyaka etaano etabuze mu ngeri etategerekeka
Omwana ono Cynthia Natuuzi yabula ku lw’okuna oluvanyuma lw’omukozi okumulagira okunoonya sapatu zeyali abuzizza
Okusinziira ku b’oluganda lw’omwana ono, omwana ono eyabadde azannya ne banne yabuziza sapatu olwo omukozi n’amulagira okuzinoonya kyokka nga yakanyizza kulinda kukomawo nga tadda.
Maama w’omwana ono omuto Sarah…
Omuntu omulala eyakubiddwa ka guluneedi e Semuto afudde
Afudde ategerekese nga Julian Naluggwa ate bbo abalala babiri okuli Nalongo Nakayiza ne Goretti Namakula bali mu mbeera mbi ddala.
Ka guluneedi kano kalondeddwa abaana ababadde bagenze okutyaba nebakatereka mu ffumbiro gyekayabidde
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti ka guluneedi kano kasse omwana ow’emyaka eyategerekese nga…
Abamu ku bakulembeze b’abayizi abasiramu mu ntendekero ekkulu e Makerere batisatisiza okukuba abakulira entendekero lino mu kooti, olwokulinya eggere mu lukungana lwabwe akawungeezi g’egulo.
Poliisi ngeddumirwa DPC we Wandegeya Brain Ampirwe wamu n’abakulira Makerere bagaanyi olukungaana luno okugenda mu maaso n’abagamba nti lwabadde lumenya mateeka oluva lwokukizuula nti Erias Lukwago ne Amama Mbabazi babadde bayitiddwa mu…
Omuntu omu afiriddewo, n’abalala 3 nebabuuka n’ebisago eby’amaanyi,ekintu ekyefananyiriza bbomu bwekitulikidde mu ffumbiro ku kyalo ekimanyiddwa nga Kirolo ku luguudo lwe Ssemuto.
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti ekintu kino kyandiba nga kyalondebwa omwana eyakitutte mu ffumbiro era bwekisemberedde omuliro olwo ne kibwatuka.
Omulambo gw’omwana gukutuseemu ebitundu 2 ate n’abalumiziddwa tebanafuna bujanjabi.
Watufunidde amawulire gano nga poliisi tenabakutuuka okutwala omulambo…