Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Jjajja wa Nabagereka aziikiddwa

Nasiisi w’omuntu yeeyetabye mu kuziika abadde jjajja wa Nabagereka Maama Nagginda wali e Nkumba. Nelson Edmund Ssebuggwaawo yafa ku lunaku lwa ssande ng’aweza emyaka 103 era ng’alese abaana 25 n’abazzukulu 184. Ng’ayogerako eri abakungubazi, maama Nagginda atenderezza omugenzi gw’ayise omusomesa ng’agamba nti yeeyamusomesa empisa era abadde kyakulabirako gy’ali. Yye Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga agambye nti…

Read More

Emivuyo mu UNRA- munnamateeka agobeddwa

Waliwo munnamateeka agobeddwa mu kakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’enguudo, lwakugezaako kulagirira omujulizi engeri gyebaddamu ebibuuzo. Allan Mulindwa y’agobeddwa, akulira akakiiko kano omulamuzi Catherine Bamugemereire, oluvanyuma lw’okumulabula nga tawulira. Mulindwa abadde agenze kuwolereza Richard Ssempagala, eyalagiddwa okukeberebwa endaga butonde. Wabula oluvanyuma Ssempagala ategeezezza akakiiko nga bweyafuna ettaka e Nakigalala ewayitta oluguudo lwa Entebbe express Highway okuva ku…

Read More

Abakozi balemeddeko

Abakozi abatali basomesa mu matendekero agawaggulu, okuli Makerere, Mbabara ne MUBs e Nakawa bagaanye okudda ku mirimu okutuusa nga gavumenti emaze okubongeza emisaala. Mu lukiiko wakati wa gavumenti n’abakulira abakozi bano, gavumenti yabadde esuubizza okwongera abakozi bano omusaala mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja,kyokka abakozi bwebaatudde bonna olunaku olwaleero bino babigaanye. Akulira abakozi bano Jackson Betihama agambye nti abakozi…

Read More

Abasuubuzi bakaaba

Abasubuuzi abakolera e mu bitundu bye Nateete bakikidde ekitongole kya KCCA olw’okusengula emidaala gyabwe egyali gyisigadde mu kkubo nga tebawereddwa kiseera kimala. Bano okuli abatunda engoye,engatto ,amabaala n’ebirala bagamba nti baamenya ebizimbe byabwe kyokka nga tewali nakyebakolako wabula bbo nebasigala nga bakaaba. Twogeddeko n’abamu abakoseddwa nebasaba KCCA esooke nga kutuuza nga nkiiko olw’ensonga ba Landiloodi bwebaweebwa okulabula…

Read More

Asuddewo omwana n’agenda okulaaya

Poliisi  ye Kawaala eggalidde omuwala eyasudde omwana ku mizigo n’agenda okwetunda. Sharon Najjemba ow’e Kawaala Zooni 2 yakwatiddwa poliisi ye Kawaala oluvannyuma lwa baliraanwa be okugenda ku poliisi n’omwana ono gwe bagambye nti yamusudde obudde bukya. Najjemba okukwatibwa kiddiridde omu ku batuuze be Kawaala okumusanga mu kifo ekimu mu Kampala omwetundira bamalaaya gy’abadde yeekukumye nga kigambibwa nti…

Read More

Poliisi eremesezza Lukwago ne Bukenya

Poliisi ekozesezza eryaanyi okulemesa loodimeeya wa Kampala Erias Lukwago okwetaba mu musomo ogubadde gutegekeddwa mu ttendekero e Makerere. Lukwagho bamuggalidde ku geeti ye Makerere ku biragiro by’atwala poliisi ye Wandegeya Brian Ampirwe. Mu kusooka omumyuka w’omumyuka wa ssenkulu akola ku by’ensimbi Barnabus Nawangwe yawandiikidde abategese omusomo guno ng’abasaba bagusazeemu ku nsonga ezitategerekese. Mu ngeri yeemu era poliisi ye…

Read More

Besigye akyaleebya Muntu

Okunonyereza okuggya okukoleddwa kulaga nti Dr Kiiza Besigye akyaleebya Gen Mugisha Muntu mu mpaka z’ani anakwata bendera y’ekibiina Okunonyereza kuno okukoleddwa aba Research world International eraze nti Besigye akulembedde Muntu n’ebitundu 86% ate nga yye Muntu alina ebitundu 14% Akulira ekibiina kino Dr Patrick Wakida agamba nti abantua basing beebabuziizza bakkiriza nti Besigye y’alina obuvumu obwanganga Museveni…

Read More

Ensimbi obukadde 2 zaabuzibwaawo

Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku nsimbi z’omuwi w’omusolo kakunyizza abakulu okuva mu minisitule y’ebyobulamu ku nsimbi eziweza obuwumbi 2 ezaawebwa abasawo ng’ensako. Okusinziira ku alipoota okuva eri ssababazi w’ebitabo bya gavumenti, ensimbi zino zaweebwa abasawo kyokka nezitassibwa mu mbalirira yaabwe Ng’alabiseeko mu kakiiko kano, omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago agambye nti ensobi eyakolebwa bwebutalaga…

Read More

Omukazi yerabidde omwana we olw’akaboozi

Waliwo omukyala kasobeza eyerabidde omwana we ow’emyezi esatu n’afa ng’obuzibu bwonna kaboozi Omukyala ono abadde asitudde omwana ng’amutwala mu ddwaliro omusajja amusigudde n’amulesaawo omwana amusanze ku siteegi webalindira baasi. Ono aleseewo omwana n’agenda n’omusajja ono mu nju ye okumala essaawa mwenda era agenze okudda nga bebi w’amulese afudde Omukyala ono bw’asimbiddwa mu kkooti akkirizza emisang nga kati asibiddwa…

Read More