Abagenda okwesimbawo ku bwapulezidenti mu kulonda kw’omwaka ogujja bakutandika okugyayo empapula z’okususulibwa okuva eri akakiiko k’ebyokulonda wiiki ejja.
Okusinziira ku nteekateka efulumiziddwa akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga , abagenda okwesimbawo balina okugyayo empapula okuva nga 17 August olwo okusunsulibwa kutandike nga 5 October okutuusa nga 6 omwezi gwegumu.
Amyuka ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Joseph Biribonwa agamba abagenda okwesimbawo ku…
File Photo: Tiimu ye Gwanga eyo kubaka
Tiimu ya Uganda ey’okubaka the she Cranes ewanduse mu mpaka z’ensi yonna ez’okubaka eziyindira mu ggwanga lya Australia.
Uganda ekubiddwa Jamaica ku goolo 59-47 nga ne Malawi yabakuba mu luzanya olwasooka mu zisooka eziddirira ezakamalirizo.
Rachael Nanyonga asuuse goolo 29 sso nga kaputeeni Peace Proscovia ateebye 18 .
Uganda kati yakuzanya New…
File Photo: Abazinya mwoto nga bataasa abantu omuliro
Mu ggwanga lya China abantu 44 beebakakasiddwa okuba nti bebakafa n’abasoba mu 500 babuuse n’ebisago ebyamanyi oluvanyuma lw’omuliro ogukutte ekkolero mu kibuga Tianjin.
Ku bafudde kubaddeko abazinya mooto 12 nga bano babadde bagezaako okutaasa abalala.
Omukulembeze w’eggwanga Xi Jinping asabye bananasi bonna okukola ekisoboka okutaasa banaabwe.
File Photo: Omuvuuzi we motooka ze mpaka Lwakataka
Kafulu mu kuvulumula emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka ne banne abalala 2 badda leero mu kkooti ku musango gw’okutta abantu 9 mu disitulikiti ye Rakai.
Lwakataka, Fangesi Vincent amanyiddwa enyo nga Kanyama ne Emanuel Zinda basuubirwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ye Masaka John Keitirima.
Okuwulira omusango guno kwatandika omwezi oguwedde…
File Photo: Mbabazi ngali ne Museveni
Abawagizi b’ekibiina kya FDC e Karamoja balabudde abakulira ekibiina kyabwe obutesembereza eyali ssabaminisita Amama Mbabazi ne Gen. David Sejusa.
Abawagizi bano okulabula kuno bakukoze baaniriza eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye mu nsisinkano gy’abaddemu n’abakungu b’ekibiina mu kitundu kino abasoba mu 70.
Omukubiriza w’abavubuka ba FDC e Nepak John Ilukol…
File Photo: Aboludda oluvuganya in Uganda
Ab’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti benyamidde olw’ebyavudde mu palamenti olunaku lwajjo
Palamenti olunaku lwajjo yayisizza enongosereza mu ssemateeka era mu ngeri yeemu ne alipoota eyabadde akoleddwa ku nongosereza zino n’ekasukibwa
Omwogezi w’omukago guno omukulu Wafula Oguttu agamba nti kikaabya amaziga okulaba nti n’abavuganya benyini balemereddwa okugoberera okusalawo okwakoleddwa nebabuukira…
File Photo: Emeere nga etekedwa ku meeza
Waliwo ekibinja ky’abafumbi b’emmere abakubye ekibiina kya NRM mu mbuga z’amateeka lwabutasasulwa.
Bano babanja obukadde 61 olw’okubawa emmere nebabatabasasula
Mu musango oguwaabiddwa mu kkooti ekola ku gy’obusuubuzi, abafumbi b’emmere bano bagamba nti mu mwaka gwa 2014 mu December, baweebwa emirimu okugabula bannakibiina kya NRM 3000 abaali bakungaanidde e Kololo.
Bano beebamu bagamba…
File Photo: Police nga eteeka omuntu kukabangaali
Poliisi eriko omusajja gw’ekutte lwakutta mwana we.
Omusajja ono atabudde asidi mu ddagala n’aliwa omwana we ow’emyaka omusanvu era n’afa.
Omwana ono ategerekese nga Yanik Hirwa attiddwa kitaawe enzaalwa ye Rwanda ategerekese nga Masapo Maliseri.
Okunonyereza kwa poliisi kulaze ng’omwami ono abadde yayawukana ne mukyala we era ng’abadde amuleka ewaka n’agenda okukola.
Kigambibwa…
File Photo: Omwana nga ywera ku myanto
Gavumenti y’eggwanga lya Mexico eweze amata g’abaana abawere agatundibwa mu malwaliro okusobola okutumbula enkola y’abamaama okuyonsa abaana baabwe.
Kati okufuna amata gano agaba gatabuddwamu ebirungo by’abaana omusawo alina kusooka kukakasa nti ddala tolina mabeere okugagula mu maduuka.
Abakyala mu ggwanga lino batono abaagala okuyonsa abaana baabwe nga omukyala omu ku musanvu…
Poliisi ye Kyanamukaka mu disitulikiti ye Masaka eriko omusajja ow’emyaka lwakusobya ku muwalawe ow’emyaka 12.
Richard Ntale omutuuze ku kyalo Buyaga y’akwatiddwa oluvanyuma lw’abatuuze okutemya ku poliisi ku bigambibwa nti abaddenga agagambula muwalawe obumuli.
Ntale abadde asula mu nyumbaye yekka bukyanga mukyalawe Robinah Namugera anoba emyezi musanvu egiyise nga okukkakana ku muwalawe y’abadde akomyewo okuva e Masaka…