File Photo: Nabagereka nga li no mwana
Akakiiko akatekeddwaawo Obwakabaka bwa Buganda okukola ku kuziika omutaka Nelson Ssebugwawo kafulumiza enteekateeka.
Okusinzira ku mwogezi wa Buganda, omubiri gw’omugenzi gwakujjibwa mu ddwaliro e Mulago ku lw’okuna luno gutwalibwa mu kkanisa ya St Lukka e Nkumba gusabirwe n’oluvanyuma gutwalibwa mu maka ge.
Ku lunaku lw’okutaano omugenzi wakuddamu okusabirwa mu maka ge…
File Photo: Ababaka ba palimenti mu lutuura
Akakiiko ka palamenti akalondoola ensasanya y’omuwi w’omusolo kakunyizza abakungu okuva mu ttendekero ly’e Kyambogo ku by’okuwandiisa abayizi mungeri eyamwankwetu.
Okusinziira ku alipoota ya ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti eya 2014, abayizi 14,086 bayita mu kamooli okwegatta ku ttendekero lino.
Kino kyafiiriza ettendekero obukadde 532 ezaali zirina okuva mu misoso gy’okuwandiisa abayizi bano…
File Photo:Bana NRM mulukunywana
Abaagala okwesimbawo ku tikiti y’ekibiina kya NRM batandise okuzzayo foomu z’okwesimbawo mu kamyufu wali ku kitebe ky’ekibiina e Kyadondo.
Abamu ku bazizzaayo empapula z’okwesimbawo kuliko amyuka ssabaminisita w’eggwanga owokubiri Moses Ali, minisita omubeezi ow’ebyensimbi nebamusiga nsimbi Gabriel Ajedra ssaako n’ayagala obwassentebe bw’ekibiina kya NRM mu bugwanjuba bw’eggwanga Odrek Rwabwogo nga ono mukoddomi wa…
File Photo: Minister we bye mirimu ne nguudo
Okunonyereza ku musango gwa minisita atalina mulimu gwankalakalira Abraham Byandala ku luguudo lw’e Katosi tekunaggwa.
Kkooti ewozesa abakenuzi ewadde kaliisoliiso wa gavumenti omwezi omulala gumu gwokka okumaliriza okunonyereza kuno ne banne abalala bataano abaali abakozi mu kitongole ky’ebyenguudo.
Emisango egyagulwa ku bano kuliko okukozesa bubi ofiisi zaabwe ssaako n’okufiriza gavumenti…
File Photo: Abalongosa mudwaliro mulago
Abakulira eddwaliro ly’e Mulago baliko alongoosa gwebakutte lwakubba bikosesebwa mu ddwaliro lino ebibalirirwamu obukadde bwa siringi butaano.
Akulira abalondoola eby’obulamu okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Moses Talemwa akakasizza okukwatibwa kw’omusajja ono.
Omukwate ategerekese nga Paul Kitanda omukozi mu kampuni erongoosa eya Norema cleaning services.
Ebintu by’abadde abba kuliko gilaavu, empiso n’ebirala nga kitegerekese nga…
File Photo: Presidenti wa DP Nobert Mao
Ab’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic Alliance baganye okuwandiisa ekisinde kya loodi meeya Erias Lukwago ekya plaform for truth and Justice nga kino kyekutula ku kibiina kya DP.
Ssenkaggale w’ekibiina kya DP nga naye memba mu mukago guno agamba ebibiina by’obufuzi musanvu byonna wamu n’ebisinde 2 ebyaliwo okusooka nga…
Poliisi ye Pajure mu disitulikiti ye Pader ekubye omukka ogubalagala mu bawagizi b’eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye.
Bino byonna okubaawo nga Besigye ayolekera mu kifo w’abadde alina okukuba olukungaana ekitasobose.
Akulira abakyala mu FDC Ingrid Turinawe ategeezezza nga Besigye bweyategezezza poliisi ku ntekateka ze era bewunyizza poliisi okubatataganya.
Besigye ali mu kutalaaga bukiika kkono bw’eggwanga…
File Photo: Abantu nga basimbye lini okulonda
Nga ebula ssaawa mbale okutimba enkalala z’abalonzi kukomekkerezebwe, akakiiko k’ebyokulonda kalabudde nti teri kwongezayo nsalesale waleero.
Okuva nga July 22nd akakiiko kano kabadde katimba enkalala zino nga abalonzi bekebera amanya gaabwe okusobola okulongoosa enkalala zino.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Taremwa agamba bakoze okulanga okumala kale nga teri kwongezaawo nsalesale.
Taremwa agamba kati…
File Photo: Museveni nga kutte map
Pulezidenti Yoweri Museveni ategezezza nga bwatayinza kwetonda eri mukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barak Obama oba eri omuntu omulala yenna olw’okulwa mu buyinza.
Museveni agamba ensonga y’ekkomo ku bisanja yagonjolwa dda oluvanyuma lw’abannayuganda okusalawo okugisimbira ekkuuli.
Museveni okwogera bino kiddiridde pulezidenti wa Amerika Barak Obama okukolokota abakulembeze ba Africa abalemedde mu buyinza.
Wabula Museveni…
File Photo: Museveni Ngali mubilowoozo
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ategezezza nga Uganda bwetasobola kukwata pulezidenti wa Sudan Omar El Bashir.
Bashir yayitiddwa okwetaba mu lukungaana lw’ebyenkulakulana wansi w’omukago gwa IGAD.
Museveni agamba bbo bakukuuma Bashir era yewunya eggwanga lya South Africa abaali baagala okumuwayo akwatibwe .
Bashir yetagibwa kkooti y’ensi yonna ku misango gy’okutyobola eddembe ly’obuntu
Bino Museveni y’abyogeredde mu…