File Photo : Ebentu nga biretedwa ku buko
Enkola y’okusasula ebintu ebitwalibwa ku buko ssiyakuwerebwa.
Kkooti ensukulumu esazewo nti tewali nsonga lwaki bawera enkola eno nga era abalamuzi ba kkooti eno 6 ku 7 nga bakulembeddwamu Bart Katureebe bakkiriziganyizza bukuyege n’ekyasooka okusalibwawo kkooti etaputa ssemateeka.
Bano bategezezza nga bwekitali kwabuwaze omugole omusajja okuwaayo ebirabo eri oludda lw’omugole omukyala.
Wabula…
File Photo: Omukazi nga teyekozeeko
Omusajja alabye mukyala we nga teyekozeeko asazeewo bawukane.
Omusajja ono takomye awo , omukazi ono agenda na kumuwaabira mu kkooti lw’okumubuzabuuza nti mulungi kyokka nga mubi.
Bino biri mu ggwanga lya Australia, omusajja gy’abadde yakakuba mukyala we empeta kyokka mu kuzuuka ku makya , eriiso alikubye ku mukyala we nga tanekuba copagaalo n’akyankalana
File Photo: Abantu nga bali mu kooti
Kkooti enkulu e Masaka eriko omusajja ow’emyaka 32 gw’esibye emyaka 12 lwakusobya ku mwana ow’emyaka 12.
Robert Twesigye omutuuze ku kyaalo Kisinda e Rakai omwana gweyasobyaako kizibwe we.
Kkooti ekubirizibwa omulamuzi John Keitirima ekitegeddeko nti Twesigye omusango yaguzza mu mwaka gwa 2012 nga yakozesa akakisa nga maama w’omwana ono agenze kuziika.
Oludda…
File Photo:Mutabaani wa Gadaffi
Waliwo akatambi akafulumiiziddwa nga kalaga abakuumi mu kkomera nga batulugunya mutabani w’omugenzi Col Mummar Gaddafi n’abasibe abalala era nga kati kanonyerezebwaako
Akatambi kano kalaga Saadi Gaddafi ng’akaaba mu bulumi wakati mu kukubwa abakuumi obwedda abamulinnyako.
Ssabawaabi mu ggwanga lya Libya ategeezezza nti bakunonyereza okuzuula abakuumi abaakikoze era babonerezebwe
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu…
File Photo: Sekandi nga kuba mungalo
Eyali sipiika wa palamenti nga kati n’amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi agamba nti emirimu gya palamenti girina okukolebwaako mu bwangu ng’ebibiina tebinnaba kutandika kuwandiisa banesimbawo, ababaka bwebaba nga bakwetaba mu kuteesa
Kino kijjidde mu kaseera nga palamenti etubidde n’enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda olw’ebbula ly’ababaka mu Lukiiko nga bangi kati basiiba…
File Photo : Joseph Ssewungu nga yogeera
Nampala w’ekibiina kya DP omuggya Joseph Ssewungu agamba nti omulimu gwe omukulu kugenda kubeera kugatta ba memba ba kibiina.
Olunaku lwajjo akulira ekibiina kya DP Nobert Mao yagobye Ssebuliba Mutumba ne Ssewungu oluvanyuma lw’ekisanja kye okuggwaako.
Ng’awayaamu naffe, Sewungu agambye nti mu kadde kano, entalo mpitirivu mu kibiina…
File Photo: Ekorelo lyo mwenge
Omusolo ogwalinyisibwa mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka guno erabise ng’etandise okukosa abasuubuzi b’omwenge.
Bino bibadde mu musomo ogubadde guwaniriddwa ekitongole kya Nile Breweries e Mubende okubangula abasuubuzi engeri gyebalina okuyisaamu bakasitoma baabwe
Avunaanyizibwa ku by’ettunzi n’enkulaakulana ya Nile Breweries Ronald Mayanja agambye nti omwenge gwaabwe gavumenti yagussaako omusolo gwa bitundu 30%, nga guno gulina…
File Photo: Museveni nga kutte map
Bannakibiina kya NRM e Mukono balayidde nti bbo ssi bakuwa eyali Ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi buwagizi mu kitundu kino.
Bano abakulembeddwamu Ssentebbe wa disitulikiti ye Mukono Francis Lukooya Mukoome balangiridde kawefube w’okutalaaga amagombolola gonna nga balaga obubi bwa Mbabazi eri abantu era tebagala abeeko yadde olukungaana lwakuba e…
File Photo:Aba Police nga balawuna
Poliisi ye Fort Portal eriko omusumba w’abalokole gw’ekutte ku bigambibwa nti yafeze bannamwandu nebamulekwa obukadde bw’ensimbi.
Paasita ono ataatuddwa mannya yasuubizza okuyamba bamulekwa ne bannamwandu nga era abadde ava kyalo ku kyalo nga awandiisa abantu bano nga buli omu alina okusasula 25,000.
Omufere ono yabasuubizza okubagulira ettaka abazimbireko amayumba wamu n’okubagulira ebisolo nga…
Poliisi ye Mbale eriko basajja baayo 2 bekutte wamu n’okuwummuza 13 lwakwebulankanya ku mirimu.
Ku bakwatiddwa kuliko n’akulira poliisi ye Nakaloke Collin Ahasibwe.
Kino kiddiridde abatemu okugezaako okulumba amaka ga Sheikh Asadi Mujansi nga ono muganda wa seeka Rashid Wafula nebagezaako okumukuba amasasi.
Aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Haruna Isabirye ategezezza nga abo abakwatiddwa n’okuwummuzibwa emirimu bwegibalemye.
Ababiri…