Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ebifo ebirala mu palamenti byaaki- Bukenya

File Photo : Bukenya nga bamusitudde Akakiiko k’ebyokulonda kasabiddwa okukulemberamu omulimu gw’okusaba ebifo ebipya omulonderwa mu kifo ky’okutambulira ku by’obufuzi okutondawo ebipya Kino kizze nga palamenti yakayisa ekiteeso ekitondawo ebifo ebipya 65 ebigenda okuvaamu ababaka ba palamenti. Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof. Gilbert Bukenya agamba nti ebifo ebisusse abantu abangi nga byetaaga kwawulwaamu tebifiiriddwaako kyokka nebanoonya ebifo ebitaliimu…

Read More

Ensimbi z’abasomesa ziyimiriziddwa

File Photo: Ababaka ba Palamenti mu lutuura Akakiiko ka palamenti akabalirira ensimbi y’omuwi w’omusolo kayimirizza ensimbi eziweza obuwumbi 25 ezibadde zirina okuweebwa abasomesa. Ensimbi zino pulezidenti Museveni yalagira nti ziweebwe abasomesa okwekulakulanya nga ziyita mu kibiina kya UNATU nga kino kyekigatta abasomesa. Abasomesa ku ntandikwa ya taamu eno bassa wansi ebikola nga bagaala kuweebwa nsimbi zaabwe zebagamba nti…

Read More

Eddwaliro lye Jinja teririna musaayi

File Photo: Abalwadde mu dwaliro e Jinja Eddwaliro lye Jinja, kati wiiki bbiri nga teririna musaayi Kino kibikkuddwa omubaka we Jjinja mu buvanjuba Paul Mwiru . Bw’abadde ayogerako eri palamenti, Mwiru agambye nti abalwadde bangi abeetaga omusaayi basindikibwa mu malwaliro ga bwannanyini. Ayagala wabeewo okunyonyola okuva mu minisitule y’ebyobulamu ku lwaki guno bweguli kubanga abantu bangi abafa olwa kino. Nampala…

Read More

Aba Mbabazi bekozeemu ekibinja

File Photo: Mbabazi ngali nabawagizibe Abawagizi b’eyali ssabaminista Amama Mbabazi e Soroti batonzeewo ekibinja kya bantu 64 abagenda okumuyiggira akalulu mu bannakibiina kya NRM. George Okoit nga y’abakulembeddemu bw’abadde ayogerako eri bannamawulire agambye nti kino kikoleddwa okwetoloola eggwanga lyonna okulaba nti yadde Mbabazi teyesimbyeewo mu NRM, agijjamu abawagizi. Ono agamba nti bannakibiina kya NRM bangi tebawagira pulezidenti Museveni…

Read More

Mobilo mane wakutereezebwa

File Photo: Omukyala akola mobilo manne Banka y’eggwanga etandise okubaga ku mateeka aganafuga entambuza ya mobayilo mane mu ggwanga. Kino kiddiridde abantu okwemulugunya ku bafere abayingidde enkola eno nga bamaze okunyagulula abawera Omukungu mu Banka y’eggwanga Charles Owinyi Okello agambye nti waliwo amateeka agaliwo agabayamba kyokka nga tegamala Okello agamba nti kyebaagala kunyweeza mateeka gatwala baddukanya mobayilo mane kubanga…

Read More

Omuyindi bamukutte lwa buzigu

File Photo:Aba Police nga balawuna Poliisi mu disitulikiti ye Nakasongola ekutte omuyindi lwa buzigu. Kiddiridde okulumbibwa kwa faamu ya Smart Uganda ku kyaalo Wakasambya nebatta abadde alabirira faamu eno n’okubba ensimbi enkalu Kigambibwa nti akwatiddwa ye Sigh Ravindha yeeyakulemberamu abazigu abaalumba faamu eno nga bano beebanasula amasasi agatta Sanjey Ramidah eyali agirabirira Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah…

Read More

Mufe ku bannayuganda abakuab ekyeyo- Lukyamuzi

Gavumenti erumbiddwa olw’obutakola kimala kukuuma bannayuganda abali emitala w’amayanja. Omubaka we Lubaga mu bukiikaddyo John Ken Lukyamuzi agamba nti bannayuganda bangi bavundira mu makomera ebweru naddala mu mawanga ga Buwarabu kyokka nga tewali ayamba. Lukyamuzi agamba nti ate waliwo n’abalala abatulugunyizibwa mu mawanga gyebali era ng’abakikola beyinula nti tewali ajja kubakwata Wabula minisita akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga…

Read More

Omuliro gusse basatu

Abantu basatu okuva mu maka gamu basirikkidde mu muliro ogukutte akasiisira mwebabadde beebase Ekikangabwa kino kigudde ku kyaalo Katwaki , e Butebo mu disitulikiti ye Pallisa. Abafudde kuliko Margret Kayendeke ow’emyaka 35, Doreen Mudondo ow’emyaka 10 ne Jude Oyemeti omwana ow’omwaka ogumu gwokka Yye ssemaka Opakasi Yokayakidi ow’emyaka ana addusiddwa mu ddwaliro e kkulu e Mbale nga tasule…

Read More

Omwalo gususse obujama

File Photo : Omukazi nga sala omugga Abavubi n’abakulembeze ku mwalo gwe Diimo benyamivu olw’omwalo gwabwe okuggalwa olw’obukyafu. Omwezi oguwedde abatwala eby’obuvubi mu disitulikiti ye Masaka baggala omwalo guno oluvanyuma lw’okukizuula nti obukyafu bwali bususse nga buyinza n’okuvaako endwadde. Omwalo guno kuwangalirako abantu abasoba mu 600 wabula nga kaabuyonjo 3 zokka ekyennaku nga zonna zajula dda sso nga…

Read More

Akeediimo kakyaliko- abakozi mu matendekero balemeddeko

Abakulembeze b’abakola emirimu egitali gyabusomesa mu matendekero ga gavumenti bakusisinkanamu ku ttendekero ly’e Makerere okulaba eky’okuzzaako oluvanyuma lw’okulangirira akeediimo. Akeediimo kaabwe katandika ku mande ssabbiiti eno nga era kasanyalazza emirimu mu matendekero gonna . Abakozi bano baagala obuwumbi 31 bongezebwe emisaala. Ssentebe w’ekibiina ekigatta abakozi bano Jackson Betihama agamba bbo betegefu okuteesa ne gavumenti wabula…

Read More