Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Teri babaka kuwummula

File photo: Ababaka ba Palimenti Ababaka ba palamenti tebasubira oluwummula mu kiseera kino. Amyuka sipiika wa palamenti Jacob Oulanya agamba nti yadde nga yandiyagadde nyo palamenti okugenda mu luwummula olunaku lw’enkya emirimu gikyali mingi egyetagisa okumalirizibwa.   Oulanya asabye ababaka bonna obutebulankanya baggye mu bungi nga bwegwabadde olunaku lw’eggulo nga bayisa enongosereza mu ssemateeka basobole okuteesa ku nsonga ez’enjawulo…

Read More

Gavumenti enoonya mirmu bweru

File Photo: Abakoozi nga bali ku gyabwe Gavumenti yakwongera okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu bavubuka okwetoloola eggwanga. Nga ayogerera ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abavubuka olugenda mu maaso wali e Katakwi, omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule y’ekikula ky’abantu Pius Bigirimaana ategezezza nga gavumenti kati bwetunulidde emirimu ne mu mawanga amalala. Bigirimaana agamba baakizudde nga emirmu mingi bwegifa otula mu mawanga amalala…

Read More

Akabenje kasse 3

File Photo: Police nga eteeka omuntu kukabangaali   Abantu basatu beebafiiridde mu kabenje akagudde ku kibira kye Mpanga mu disitulikiti ye Mpigi Taxi namba UAW 975Q ebadde egenda e Bushenyi ekonaganye ne Kanta namba UAT 230Z ebadde edda e Kampala. Abafudde babadde mu taxi ate ng’abalala 11 baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka

Read More

Enongosereza mu mateeka- ababaka bekandazze

File Photo: Ababaka ba palimenti nga bavudde mu mbeera Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bekandazze nebafuluma palamenti nga bawakanya eky’okulonda ku nongosereza mu ssemateeka. Kiddiridde amyuka sipiika Jacob Olanya okugaana abavuganya abakulembeddwaamu omubaka Muwanga Kivumbi okwanja alipoota gyebakoze ku nongosereza mu mateeka Ababaka bagambye nti kino kikyaamu kubanga tebakkiririza mu nongosereza gavumenti zeyaleese okuli n’ezikwata ku kulonda. Ababaka…

Read More

Okuwanika enkalala kuwedde

File Photo: Abantu nga balonda eluwero Okuwanika enkalala z’abalonzi kukomekkerezeddwa. Abamu ku bajjibwa mu nkalala beebatali bannayuganda, abaafa, abataweza myaka 18 kko n’abo abali ku nkalala omulundi ogusukka mu gumu. Kati amannya gonna aganaaba gasongeddwaako gakuwanikibwa ku nkalala okumala ennaku 11 okwongera okwetegerezebwa olwo gasangulwe mu butongole. Omwogezi w’akakiiko akalondesa Jotham Taremwa agambye nti kino kyakutandika okukolebwa nga 14…

Read More

Pulezidenti ayimirizza omusolo eri aba Taxi

File Photo: Taxi ngaziri mu park Pulezidenti Museveni ayimirizza ekya bagoba ba taxi okusasula omusolo buli mwezi. Pulezidenti bino abirangiridde mu lukiiko n’abagoba ba taxi mu Kampala abasoba mu 2000 ng’agamba nti kuno kunyunyunta ba taxi bano. Ssentebe w’abagoba ba taxi mu Kampala Mustapha Mayambala agambye nti pulezidenti era abawadde amagezi okusigala nga bakungaanya ensimbi zino okusobola okugulamu…

Read More

Bafunye ebyuuma by’amannyo

File Photo: Ekyuma mu kujanjaba amanyo Eddwaliro lye Masaka lifunye ebyuma ebiyamba mu kujjanjaba amannyo okuva mu yunivasite ye Lahore esangibwa mu Pakistan SSenkulu w’ettendekero lino Prof. Awais Raoof agambye nti bakyalako mu ddwaliro lino emyezi esatu emabega nebalaba nti teryalina byuuma bituufu. Eyakulembeddemu enteekateeka y’okuleeta ebyuma bino Dr Muhamad Mpeza agambye nti balina essuubi nti bajja kusobola…

Read More

Eyasuula omwana mu tooyi esibiddwa myezi etaano

  File Photo: Abantu nga bali mu kooti Omukyala eyasuula omwana gweyali azadde mu kabuyonjo asibiddwa emyaka etaano. Scovia Atai  ow’emyaka 20 alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Joan Aciro era n’akkiriza emisango. Atai eyali abeera ku kkanisa e Masanafu kigambibwa okuba olubuto bwerwamuluma yekweeka emabega wa kabuyonjo olwo neyezaaza omwana gweyasuula mu kabuyonjo. Abantu abali bagenze…

Read More

Abayisiraamu balwanidde ku kkooti

File Photo: Police Nga ekuba teyagasi Poliisi ekkakkanya obujagalalo ekubye amasasi mu bbanga ne ttiygaasi okugugumbulula abayisiraamu ababadde batandise okulwanira ku kkooti e Jjinja. Abayisiraamu ababadde balwana beeba tabuliiki n’aba Shia era nga bino okubaawo ng’abagambibwa okubeera abayekeera ba ADF balabiseeko mu kkooti Bano babadde bakulembeddwaamu akulira abayekeera bano Jamil Mukulu. Bavunaanibwa misango gyekuusa ku kuttibwa kw aba maseeka…

Read More

Abanyala bagaanye okuwandiisibwa

File Photo: Kimeze ngali ne Museveni Abakulembeze b’abanyala mu disitulikiti ye Kayunga basimbudde ekkuuli enteekateeka ya Buganda okuwandiisa abo bonna abali ku bibanja Ssabanyala Baker Kimeze agambye nti kino kimenya mateeka era kigendereddwaamu kukamula bantu be kyataggya kukkiriza Ekitongole kya Buganda eky’ettaka ekya Buganda Land Board kyabadde kitandise okusomesa abantu ku kalungi akali mu kwewandiisa eri abo bonna…

Read More