File Photo: Abawagizi ba NRM
Ba memba b’ekibiina kya NRM ku byalo okuli Nakahuka, Mukitoma, Butanda ne Kanyinya mu disitulikiti ye Kyenjojo batabukidde omuwandiisi we gombolola lwa manya gaabwe kubula ku nkalala n’obutawebwa bululu.
Bano balumiriza omuwandiisi ono okusangula amanya gaabwe mu bugenderevu wabula omuwandiisi Clovis Birungi byonna abyeganye.
Ategezezza nga abatuuze bwebavudde mu mbeera lwakutuuka ewalonderwa ku…
File Photo: Abo luuda oluvugamya nga batudde
Ab’omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa The Democratic Alliance bakutuula olwaleero bateese ku nteekateeka egenda okugobererwa mu kalulu ka 2016.
Okusinziira ku nsonda ezesigika olusirika luno lwakwetabwamu ba ssenkaggale b’ebibiina, abakulembeze b’ebisinde ebyenjawulo ssaako n’abakulembeze abalala okwongera okuteesa ku nsonga y’enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
Omukago mu kiseera kino gwetemyemu nga abamu nga…
File Photo: Mbabazi ngali nabawagizibe
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi olwaleero wakugenda mu maaso n’enteekateekaze ez’okwebuuza ku balonzi ng'ayolekedde Kapchorwa
Olunaku olw’eggulo Mbabazi yayuugumizza Mbale era yakubye olukungaana gaggadde ku kisaawe kya Cricket ewabadde namungi w’omuntu.
Omwogezi wa Mbabazi Josephine Nkangi ategeezezza nga mukama we bw’agenda okukuba olukungaana ku kisaawe kye Booma e Kapchorwa.
Nkangi agamba obuwagizi obwalagiddwa Mbabazi…
File Photo: Abali bobulamu ku beach
Mu ggwanga lya Hong Kong, abakyala bakeera kwekalirira ku musana okusobola okusala amasavu n’obuzito.
Bano nno omusana bagutunulamu butereevu nti gubayambe okusala obuzito
Abakugu balabudde dda nti bano boolese okufa amaaso ssinga tebakikomya
File Photo :Museveni ngayogerako eli abantu
Pulezidenti Museveni kyadaaki alonze abalamazi mu kooti ey’okuntikko n’eyo ejulirwaamu
Abalamuzi abasindikiddwa mu kkooti ey’okuntikko kuliko e Augustine Nshimye, Faith Mwondha, Hon. Opio Aweri, Eldad Mwangusya ne Prof. Lillian Tibatemwa nga bano bonna bajjiddwa mu kkooti ey’okuntikko.
Omulamuzi Alphose Owiny Dollo abadde akola ku misango gy’abatujju abagambibwa okutega bbomu mu mwaka 2010…
File Photo: Omubaka eyakwatidwa Gilbert Olanya nga yogeera
Poliisi mu disitulikiti ye Amuru ekutte omubaka we Kilak Gilbert Olanya ku bigambibwa nti akumye mu bantu omuliro okwekalakaasa olw’ettaka erisangibwa mu kitundu kye Apaa.
Olanya bamukwatidde mu muluka gwe Parabongo ng’ayolekera ekitundu kye Apaa.
Ono webamukwatidde abadde wano n’omubaka omukyala owe Amuru Lucy Akello n’akulira disitulikiti eno Michael Lakony.
Olanya…
Abaana b’eyali omusuubuzi omukuukuutivu mu Kampala Eria Bugembe Kasiwukira bagenze mu kkooti enkulu nga bagaala bafune olukusa okuddukanya ebintu bya kitaabwe.
Bano nga bakulembeddwamu Eron Mpoza ne Claire Naggayi beegatiddwako ne kitaabwe omuto John Ggayi Bugembe.
Ebintu byebasaba bibalirirwamu ensimbi eziwerera ddala obukadde bitaano nga bayise mu bannamateeka baabwe aba Ssekabanja and Company Advocates.
Omusango guli mu maaso …
Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi aweze okuwereeza bannayuganda n’omutima gumu ssinga anassibwaamu bannayuganda obwesige
Ng’ayogerako eri nasiisi w’omuntu akungaanidde ku kisaawe kya Cricket e Mbale, Mbabazi agambye nti wakusookera kusaba nti Mbale afuulibwe ekibuga kubanga kigisaana
Ono alumbye poliisi n’ategeeza nti bw’eba eyagala abantu okugissaamu ekitiibwa erina okuwereeza abantu nga teriimu kyekubiira
Bw’atuuse ku byobulamu agambye…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi ye Buwama mu disitulikiti ye Mpigi eri ku muyiggo gw’ababbi abeeyambisizza emmundu nebateega ba kitunzi ba kampuni y’omwenge eya Blue Nile Distillers mu ttuntu lya leero.
Bano babanyagululidde wali ku Equator e Kayabwe nebakuuliita n’ensimbi eziri mu bukadde amakumi asatu wamu n’amasimu n’ebisumuluzo by’emmotoka bano mwebabadde batambulira.
Okusinziira ku aduumira poliisi…
File Photo: Abayisiramu e'Mecca
Abayisiraamu abasoba mu 70 beebasuubirwa okusitula okwolekera mecca akawungeezi ka leero.
Akulira kkampuni esabaaza abantu bano eya Firdausi Tours and Travel Ahmed Lubega agamba nti bakereeyeemu olw’entambula z’enyonyi
Lubega agambye nti enkola empya eyaleetebwa gavumenti ya Saudi Arabia ekalubizza ekkubo ly’okufuna visa
Ono agambye nti olw’enkyukakyuka zino, abamu bayinza n’obutagenda yadde Uganda yaweebwa ebifo 750.