Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abawagizi ba Lukwago bakubiddwa

File Photo: Lukwago ngali mulukumwana Abantu basatu beebalumiziddwa mu kavuvungano akabaddewo nga poliisi esattulula olukungaana olukubiddwa loodimeeya Erias Lukwago. Olukiiko luno lukubiddwa ab’ekisinde kya Truth and Justice e Buwama. Luno lubadde lwetabiddwaako ababaka okubadde Moses Kasibante ne Muwanga Kivumbi Wabula bano poliisi tebaganyizza kwogerako eri abantu omukka ogubalagala negulamula

Read More

Okusunsula abalamuzi kwa mande

File Photo: Palamenti nga eli mulutuula Akakiiko ka palamenti akasunsula abalondeddwa, kakutuula ku bbalaza okusunsula abalamuzi abaalondebwa mu kooti ensukkulumu n’eyo ejulirwaamu. Akakiiko kano era kakusunsula abakungu abatuula ku lukiiko lw’amafuta, n’ekitongole kirondoola ensimbi. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa omuwandiisi wa palamenti, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde abantu bano basunsulwe mangu ddala. Abalamuzi abagenda okusunsulwa kuliko  Augustine Nshimye, Faith Mwondha,…

Read More

Abawala banunuddwa

File Photo: Abawala abakwakibwa nga bakukusibwa Abawala abasoba mu 20 beebanunuddwa okuva ku bantu ababadde babatwala okukola e Dubai ng’abakozi b’awaka Bano babakwatidde mu distulikiti ye Kumi. Abawala bano bataasiddwa poliisi nga nakati bakyaali ku poliisi ye Kumi. Aduumira eggye ezzibizi mu bitundu bye Teso Maj. Robert Opolot agambye nti abawala bano babadde basuubuziddwa omusaala gwa mitwalo 25 buli…

Read More

Besigye ssi wakuzira kulonda

File Photo: Besigye nga ayogeera Agenda okukwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa pulezidenti omwaka ogujja Dr Kiiza Besigye ategezezza nga bwebatagenda kuzira kulonda kwa 2016. Wabula Besigye ategezezza nga bwebagenda okugenda mu maaso n’okubanja ennongosereza mu mateeka g’ebyokulonda Ekibiina kya FDC kibadde kyetemyemu ku nsonga y’enongosereza zino ng’eyali ssenkaggale w’ekibiina Dr Kiiza Besigye ayagala basooke kukola…

Read More

Nakiwala awangudde akamyufu ka DP

File Photo:Nakiwala Kiyingi ngali ne kabaka Ab’ekibiina kya DP bamalirizza kamyufu k’omubaka omukyala owa distulikiti ye Kampala . Eyali minisita wa ssabasajja akola ku nsonga z’abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi y’agenda okukwata bendera ya DP mu mwaka 2016 Bino bituukiddwaako mu ttabamiruka w’abanna DP mu Kampala. Nakiwala afunye obululu 41, nekuddako Stella Kiryowa Mukama afunye obululu 17 ate Shifra Lukwago…

Read More

Ebya Mbabazi biranda

File Photo: Mbabazi nga awandiika ku T-shirt yo mu ku bawagizi be Eyali ssabaminisita amama Mbabazi alina lwaleero lwokka okuzzaayo foomu z’okwesimbawo okuvuganya mu mukago gw’abavuganya obwa the Democratic Alliance Nsalessale yabadde wa jjo kyokka olw’okuba nti Mbabazi yabadde mu ntalo e jjinja kale obudde nebuyita Mbabazi ne Dr Kiiza Besigye basoose mu kafubo wali ku wofiisi z’omukago…

Read More

Abasawo balonde lwaabwe

Akakiiko akalondesa kagaala abakozi baako baweebwe akakisa okulonda ng’okulonda kwa wamu tekunnatuuka. Akulira akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu agamba nti mu ngeri yeemu n’abasawo balina okuweebwa omukisa okulonda kubanga ddembe lyaabwe Kiggundu agamba nti bakola dda okusaba kwaabwe mu mwaka gwa 2005 kyokka nga tebaddibwangamu. Ono abadde atongoze ekibinja ky’abantu abagenda okulondoola okulonda ng’abasinga bannakyewa  

Read More

Kamyuka asindikiddwa mu kkooti enkulu

File Photo : Omugenzi Johhn Omuvubuka Ivan Kamyuka agambibwa okutta munne Johnnie Ahimbisibwe mu baala ya Guvna omusango gwe gusindikiddwa mu kkooti enkulu. Empapula ezongerayo Kamyuka zileteddwa omuwabi wa gavumenti  Joyce Anyango n’aziwa  omulamuzi w’eddaala erisooka  Christine Nantege . Obujulizi obwakaletebwa ku musango guno bulaga nga mukyala wa Kamyuka Nina Nyaraka n’omugenzi Johnnie  bwebalina omwana . Ku lunaku Johnie…

Read More

Bataano bafudde enjala

File Photo: Abaana nga bagabana emere Abantu 5 bebakafa  enjala omwezi oguwedde mu disitulikiti ye Moroto. Kino kibikuddwa  ssentebe w’ekyalo  Kambisi  Haji Pamita. Abagenzi abamenye nga  Mary Loumo, Alemus, Paul Lote, Anna Nakoroi, Tereza Akolong ne  John Lomuria. Pamita agamba abalala bangi banatera okutondoka mu mayumba gaabwe mwebefunyidde.   Ye ssentebe w’ekitundu kye Campshwaili chini Haji Akida Lokure ategezezza nga abatuuze…

Read More

Mbabazi bagaala kumutta- kiwandiiko

File Photo: Akulira baloya ba Mbabazi Ab’enkambi y’eyali ssabaminisita w’eggwanga  Amama Mbabazi bafulumizza ekiwandiiko ekiraga nga bwewaliwo olukwe lw’okutta omuntu waabwe. Ekiwandiiko kino kifulumiziddwa munnamateeka wa Mbabazi  Fred Muwema n’akulira ebyamawulire Josephine Nkangi era bategeezezza nga bwewaliwo abayaaye abefudde abaziyiza emisango ba crime preventers abaliwo okugotanya enkungaana za Mbabazi n’okumutusaako obulabe. Kati bano basabye poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe…

Read More