File Photo: cissy Kagaba
Ab’ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga ekya Anti-Corruption Coalition in Uganda kitenderezza nyo akulira ekitongole ky’ebyenguudo mu ggwanga Allen Kagina olwokuyiwa abakozi bonna okutereezza empeereza y’emirimu.
Olunaku lweggulo abakozi abasoba mu 800 bagobeddwa nga kigendereddwamu kulwanyisa buli bwanguzi mu kitongole.
Akulira ekibiina kino Cissy Kagaba ategezezza nti kyaddaaki gavumenti yawulidde omulanga gwabwe okulwanyisa obulyake…
File Photo: Abasawo abatendekedwa
Minisitule y’ebyobulamu esindise ekibinja ky’abasawo mu disitulikiti ye Buliisa okunonyereza ku kirwadde ekitanategerekeka ekyakatta abantu kati bataano.
Abasawo bagamba nti abagenzi baabadde n’omusujja ogwamanyi nga basesema musaayi wamu n’okuddukana omusaayi .
Akulira eddwaliro lye Buliisa Hannington Tibaijuka ategezezza nga abakwatiddwa ekirwadde kino bwebagiddwako omusaayi nga era gwakwekebejebwa mu ddwaliro lya gavumenti erinonyereza ku ndwadde…
File Photo: Abakoozi ba Dembe fm nga bakyalideeko edwaliro lye Nagulu
KKampuni ya Monitor Publications Limited ng’eno y’etwaala Dembe FM ekwataganye ne bannakyeewa okutongoza kawefube w’okulwanyisa kokoolo asinga okutawaanya abakyala
Abantu bajja kukeberebwa kokoolo w’amabeera n’owa nabaana ku bwereere kko n’okusomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu kokoolo.
Kino kiwagiddwa ebibiina nga Uganda HealthCare Federation ne National Cancer Awareness Association.
Okukebera…
File Photo: Seya nga jjeyo foomu okwesimbawo mu 2016
Akulira ekibiina kya Liberal Democratic Transparency Party Al-haji Nasser Ntege Ssebaggala azzeemu okuwangula entebe y’ekibiina kino wakati mu kuwakanyizibwa okuva eri ekibinja ekisimbira ekkuli obukulembeze bwe.
Sebaggala ayiseewo nga tavuganyiziddwa oluvanyuma lw’abadde amwesimbyeeko Mansoor Nera okuvaamu n’amulekera
Ssebaggala akozesezza akakisa kano okukyuusa akabonero k’ekibiina nga kati Mpungu era ng’engombo…
File Photo: Besigye Ekanya ne Muntu nga begeyamju
Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi agamba nti abamulumiriza okugula ebibiina okumuwagira bamusibako matu ga mbuzi okumuliisa engo.
Kiddiridde ebibadde biyitingana nti Mbabazi yagulirira aba DP, aba Uganda Federal Alliance ne SDP okumuwagira ku ky’okukwata bendera y’omukago gw’abavuganya.
Mbabazi ng’awayaamu ne bannamawulire agambye nti aboogera bino beewussa era nga…
Ab’ekibiina kya NRM bazizzaayo foomu z’omuntu waabwe okusunsulwa okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga omwaka ogujja
Bano foomu bazitadde mu bi failo olwo nebabissa mu bikuleeti okulaga nti gibadde mingi ddala.
Omuwanika w’ekibiina kya NRM Rose Namayanja agamba nti bawaddeyo emikono egisoba mu mitwalo 60 okuva mu disitulikiti 112 ezikola Uganda.
Namayanja wano era w’asinzidde n’akakasa nti tewali kubuusabuusa ekibiina…
Omuntu omu afiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde wali e Mukono ku luguudo oludda e Jjinja
Akabenje kano kavudde ku wa Taxi namba UAT 696W abadde adda e Mbarara emotoka okumulerera ng’ayisa olwo n’alumba owa bodaboda abadde e bbali.
Omugenzi ategerekese nga Bosco Musaabi omusabaaze mu Taxi ng’alabye emotoka etagala n’abukaamu kyokka ng’ate taxi eno ezze n’emulinnyalinnya.
Afudde abadde…
File Photo: Aba Democratic Party
Ab’ekibiina kya Democratic Party bagasse ku ekeleziya okusonda ensimbi ezigenda okukola ku kukyala kwa papa wano mu ggwanga.
Omwogezi w’ekibiina kino Kenneth Paul Kakande ategezezza nga bwebasoose okuwaayo obukadde 5 n’oluvanyuma baweyo endala.
Agamba okusonda ensimbi zino kwakukolebwa mu matabi g’ebibiina byonna.
Paapa Francis asuubirwa mu ggwanga okuva nga 27 okutuuka nga 29 November …
File Photo: Ebisero aba NRM mwebaretedde foom zabwe ku kiteebe kye byokulonda
Ab’ekibiina kya NRM bazizzayo empapula z’okusunsula anabakwatira bendera ku bwapulezidenti era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.
Abakungu b’ekibiina bakulembeddwamu amyuka ssentebe w’ekibiina Moses kigongo wamu n’omuwanika Rose namayanja .
Bano era bazze n’emikono gy’abasembye omuntu waabwe okuva mu disitulikiti ez’enjawulo.
File Photo:Munyagwa nga tambula
Meeya we Kawempe Mubarak Munyaggwa akwatiddwa.
Munyagwa bamukwatidde ku luguudo lwa Parliamentary avenue nga akulembeddemu ekibinja ky’abavubuka nga boolekera palamenti okuwaayo ebiteeso byabwe ku nongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
Abavubuka bano babadde bawogganira waggulu nti awatali nongosereza teri kulonda.
Poliisi ebazindukkirizza abasinga nebabuna emiwabo.