File Photo: Omwogeezi wa kakiiko ke byokulonda
Akakiiko akalondesa kayisizzaamu emikono egyatwalibwa abantu bana okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Mu bayise ku mutendera guno kuliko pulezidenti Yoweri Museveni, Dr. Kiiza Besigye, Amama Mbabzi ne Dr. Abed Bwanika .
Omwogezi w’akakiiko akalondesa Jotham Taremwa agambye nti bamaze owkekebejja emikono gya bano nga tegiriimu birumira.
Taremwa agambye nti bakyekebejja emikono emirala okulaba…
File Photo: Ababudabunda mu gwanga lya Syria
Eggwanga lya Turkey lirabudde nti omuwendo gw’ababundabunda okuva mu ggwanga lya Syria gwandyeyongera okulinnya olw’olutalo okweyongera mu ggwanga luno
Bino byogeddwa ab’omukago gwa bulaaya abagamba nti okuva Russia ne Iran lwebayingira mu nsonag z’eno, omukulembeze ali mu ntebe Bashar al-Assad yeeyongedde amaanyi era n’okusindikiriza abantu bwekityo.
Abantu abali mu bukadde 13…
File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono
Ng’eggwanga lyesunga okukyaaza papa, ba ssabasumba b’abakatolika bafulumizza olukalala okuli ebyetaaga okussaako essira mu kaseera kano
Ekiwandiiko ekivudde mu Lukiiko lw’abesikoopi olukulembewa ssabasumba John Baptist Odama kiraze nti ebizibu ebisaanye okussibwaako essira kuliko abantu abali mu bufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa, obufumbo obujjudde entalo, obulogo, okusaddaaka abantu n’ebirala.
Odama agambye…
File Photo: Police nga eteeka omuntu kukabangaali
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Bukulula Kalungu omusajja ow’emyaka 35 bw’afiiridde mu nyumba ng’agezaako okuliimisa muganzi we.
Monday Luguguza afiiridde mu kadirisa mw’abadde akukutira okutuuka ku muganzi we ategerekese nga Scovia Nakalyango.
Okunonyereza okwakakolebwaako kulaga nti abagalana bano basoose kugendako mu kaliyoki era bweyamutuusizza ewaka n’ayita mu dirisa okuketta kyokka n’aziyirira mu…
File Photo: Mbabazi ngali ku kiteebe y kya NRM
Ab’ekibiina kya NRM balubudde abagenda okwesimbawo ku kukozesa emotoka za gavumenti okuwenja obululu.
Ekibiina kino kifulumizza enteekateeka zaakyo nga ttabamiruka wakukwatibwa nga 30th omwezi guno ate ng’akamyufu ku bifo bya wansi nako ka guno omwezi.
Akulira akakiiko akalondesa Dr Tanga Odoi agambye nti okuva olunaku lw’enkya , teri minisita…
File Photo: Nantaba ngali ne Museveni
Ekibiina kya NRM kikoze enkyukakyuka mu nteekateeka zaakyo ez’okwetegekera akalulu ka 2016 nga kati ttabamiruka wakubeerawo nga 30 October
Ttabamiruka Ono wakugendera ddala okutuusa nga 2 November nga era omuntu waabwe agenda okubakwatira bendera ku bwa pulezidenti wakusunsulibwa nga 3 November.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kino Tanga Odoi ategezezza nti okulonda kwabassenebe…
File Photo: Kabaka nga lambula ku bantu be
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asabye abantu be okwagazisa abaana abato enkola ya bulungi bwansi.
Beene bino abyogedde atongoza omugga ogugatta e gombolola ye Katabi ku ye ssisa mu kulambulakwe okw’e ssaza ly’e Busiro wakati mu kukuza olunaku lwa Bulungibwansi wamu n'emefuga ga Buganda..
Kabaka agambye nti…
File Photo: Omugenzi Dr Mutende
Alipoota ekoleddwa abasawo ebekebezze omulambo gw’abadde minisita w’amakolero Dr. James Mutende eraga nti ono yafudde bulwadde bwa kibumba na mawuggwe
Alipoota eno esomeddwa ssabaminisita w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda mu kusabira omwoyo gw’omugenzi ku kkanisa ya batukiirivu e Nakasero.
Dr Mutende yafiira mu maka ge e Lukuli oluvanyuma lw’okufuna obulumi mu lubuto
Yye Namwandu Lydia…
File Photo: Ekijukizo kya mefuuga
Nga eggwanga lyetegekera okukuza amefuga g’omulundi ogwa 53, gavumenti yakugenda mu maaso n’okubaga enteekateeka n’amateeka agagenda okutwala eggwanga mu maaso okulaba nga bannayuganda bava bangi bava mu ssa lyabamufuna mpola.
Nga ayogerako nebannamawulire , omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ategezezza nga kino bwekijja okuletawo enkulakulana eri bannayuganda abasinga sso ssi bamunabamu.
Opndo agambye…
Kkooti enkulu eragidde gavumenti n’abasawo b’eddwaliro ly’e Mulago 2 okusasula obukadde asatumumunaana n’ekitundu eri abafumbo olwobulagajavu nebabasubya essanyu ly’okuzaala ku mwana.
Omulamuzi Elizabeth Musoke akakasizza nti omukyala Kate Namakula okuyulika nabaana n’azaala omwana omufu kyava ku bulagajavu bwa Dr. Nsubuga ne Dr. Mbulangira Peace Mary.
Kanyamugule Siras ne mukyalawe Namakula abokukyalo Lugeye mu tawuni kanso ye Kakiri…