Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Byandala bamukunyizza- ayanukudde

File Photo: Minister we bye mirimu ne nguudo Eyali minisita w’ebyenguudo  Abraham Byandaala akakiiko akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’ebyenguudo kamukunyizza ku luguudo olwazimbibwa okuva e Tororo okuyita e Mbale okutukira ddala e Soroti. Minisita akunyiziddwa lwaki y’alagira obugazi bw’oluguudo luno bukendezebwe okuva ku mita 9 okudda ku mita 6 zokka. Byandala era bamulumiriza okusuula muguluka kampuni…

Read More

Aba NRM batabuse- balumbye ekitebe

File photo: Owe byokulonda mu NRM Waliwo ekibinja ky’abawagizi b’ekibiina kya NRM okuva mu massekati ga Kampala abalumbye ekitebe ky’ekibiina nga baagala okulonda kw’akamyufu kusazibweemu olw’emivuyo egyetobese mu kulonda. Bano bawagizi ba kansala womu Kisenyi Salim Uhuru nga balumiriza Ahmed Kibedi eyesimbye ku Muntu waabwe okuvuluga okulonda. Bano kati baagala  akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kyabwe kasazemu ebivudde mu kulonda…

Read More

Omubaka Kafeero aleese obujulizi nti yasoma

Omubaka wa Nakifuma steven Kafeero olunaku olwalero akwanze akakiiko akavunanyizibwa ku kulonda mu kibiina kya NRM empapula ze  ez’obuyigirize  endala. Ssekitoleko yagobwa mu kamyufu ka NRM ngalangibwa obutaba n’ampapula za siniya 4 ne siniya 6, wabula oluvanyuma kooti enkulu e Jinja, neragira addizibwe mulwokaano. Kafeero agambye nti akakiiko kamulagira agende mu kitongole ekivunanyizibwa ku byenjigiriza ebyawaggulu okukakasa…

Read More

Ba kifeesi babakubye amasasi

Abateberezebwa okuba nti beebatigomya abantu be makindye bakubiddwa amasasi agabalese nga bapookya. Musa Katumba ow’emyaka 29 ne Akiramu Kazibwe owe myaka 19 nga bagambibwa okubeera ku kibinja kya bakifeesi ekitigomya Bannakampala naddala abatuuze be Nabisalu mu divizoni ye Makindye Bano okkubwa amasasi basangiddwa baliko amaka g’omutuuze gebanyagulula bwatyo omukuumi nababakuba amasaasi mu magulu ne mikono. Mu kanyolagaano kano…

Read More

Temutwala byabufuzi mu masomero- Minisita alabudde

Minisita omubeezi owebyenjigiriza nemizannyo John Creztom Muyingo alabudde ku byobufuzi obutatwalibwa mu masomero nokwawula mu bantu, kuba kyakutataganya ensoma yabaana. Agambye abagala obululu mu basomesa babalinde wabweru gyebasula so ssi kuzungira mu masomero. Asinzidde ku Mukono Boarding P/S omukolo aba USAID kwebatongolezza engombo ya ‘Safer Schools, Better Reading’ egendereddwamu okutekawo embeera ennungi abaana okuyiga okusoma nga bakyali…

Read More

Omusomesa asse omuyizi

Poliisi mu disitulikiti ye Luuka eriko omusomesa wa myaka 23 gw’ekutte ng’ono ogumulangibwa kutta muyizi gw’asomesa Patrick Kyakuline ng’asomesa ku ssomero lya St Paul Nakabale primary school kigambibwa okuba  nga yatulugunyizza omuyizi w’ekibiina ky’omusanvu okukkakkana ng’amusse Atwala okunonyereza ku misango ku poliisi ye Luuka David Agii agambye nti omuyizi attiddwa ye as Stuart Matende wa myaka 15…

Read More

Abakyala bakwekalakaasa

Abalwanirizi b’eddembe ly’abakyala balangiridde nga bwebagenda okutambula mu kibuga mu kwekalakaasa nga bavumirira eky’okwambula omukyala. Fatuma Naigaga nga y’akola ku by’obutonde bw’ensi mu FDC yayambuddwa poliisi bweyabadde emukwata ng’ali wamu nebannakibiina ababadde bagenda e Rukungiri ku lukungaana lwa FDC. Ab’ebibiina ebirwanirizi by’eddembe ly’abakyala okuli UWONET, FIDA, FOWADE n’ebirala bigamba nti keekadde pulezidenti Museveni agamba nti alumirirwa abakyala…

Read More

Prof Bukenya alumbye abamuvuma- mulina ennugu

Eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga  Gilbert Bukenya kyaddaaki avuddemu omwasi ku ky’okudda mu kibiina kya NRM. Ng’ayogerako nebannamawulire e Namayumba Kakiri, Bukenya ategezezza nga ab’oludda oluvuganya bwebatalina kigendererwa kale nga kwali kumala budde okubegattako okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga. Akudaalidde akwatidde ekibiina kya FDC bendera  Kiiza Besigye n’eyali ssabaminisita w’eggwanga  Amama Mbabazi nti yayogeramu nabo naye ng’alaba teri alina…

Read More

Lukwago akomawo ku bwa loodimeeya

Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago kyadaaki alangiridde nga bw’agenda okuddamu okuvuganya ku bya loodi meeya bw’ekibuga Kampala. Bw’abadde asisinkanye abakulembeze b’ekisinde kya Truth for Justice nadala abagenda okwesimbawo ku bifo by’obulembeze mu Buganda ku  Kelezia ya St Matia Mulumba mu Kampala, Lukwago agambye nti tasobola kulekera bukulembeze bwa Kampala ekibiina kya NRM. Lukwago mu maaso g’ababaka …

Read More

Akamyufu ka NRM, omu alumiziddwa, akavuyo, e Mbale bisaziddwaamu

File Photo:Abekibiina kya Nrm nga balonda Omuntu omu alumiziddwa mu kavuyo akabadde mu kulonda kw’akamyufu k’ekibiina kya NRM mu disitulikiti ye Nakaseke. Kigambibwa nti Lauben Wokulirao mutuuze we  Kalege atemeddwa ejjambiya  nga abawagizi b’abesimbyewo ku bwa ssentebe bw’egombolola ye Semuto balwanagana. Okuvuganya kuli wakati wa ssentebe aliko  Henry Nswemu n’amuvuganya Ismail Kasozi. Wokulira abadde ku kibinja ekibadde kilondoola Henry…

Read More