File Photo: Besigye nga ayogeera
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera Dr. Kiiza Besigye alabudde nga okukwatibwa kw’aboludda oluvuganya gavumenti bwekyeraga lwatu nti obuyinza tebasobola kubuwanguilira ku kakeeka.
Nga ayogerako nebannamawulire mu makage e Kasangati, Dr. Besigye ategezezza nga gavumenti bwekola buli kisoboka okulemesa ab’oludda oluvuganya gavumenti kale nga ye ssaawa bannayuganda okusitukiramu babanje obwenkanya.
Wabula aweze nga ekibiina…
File Photo: Abalimi boleseeza
Gavumenti esabiddwa okwongera ku nsimbi zeteeka mu by’obulimi nga Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’emmere,
Ekitongole ekivunanyizibwa ku by’emmere mu nsi yonna kyatekawo olunaku lwa nga October 16, 2015 okumanyisa abantu mu nsi yonna ekivuddeko enjala n’obwavu.
Omubaka wa Igara East Mp Michal Mawanda agamba ebyobulimi bisaana okwongeramu amaanyi okutaasa bannayuganda enjala…
File Photo:Omwogezi wa FDC Ssemujju
Omubaka wa Kyaddondo East Ibrahim Semuju Nganda akwatiddwa.
Nganda akwatiddwa nga ava mu makage e Kirinya Bukasa okugenda okuggulawo ofiisi z’ekibiina kya FDC e Kireka.
Ssentebe w’ekibiina kya FDC mu gombolola ye Kiira Hussein Lubega ategezezza nga Nganda bw’akwatiddwa ne munnamawulire abadde akwata ekigenda mu maaso ku kamera.
Tukitegeddeko nti Nganda atwaliddwa ku poliisi…
File Photo:Abakoozi ba Bidco nga bakoola ogwabwe
Kkooti enkulu eragidde kampuni enkozi ya Butto eya BIDCO obutaddamu kulima binazi mu disitulikiti ye Kalangala okutuusa nga emaze okuwulira omusango ogwawaabwa abatuuze nga bemulugunya okubagobaganya ku ttaka lyabwe nga tebasasuddwa.
Amaka agasoba mu 100 gakuba kampuni eno mu kkooti nga bagilumiriza okubasindikiriza ku ttaka lyabwe.
Omulamuzi John Keitirima awadde ekiragiro…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Nakawere atanaweza mwezi awonedde watono okuttibwa bwasangiddwa lubona ngabba ewa Landlord we.
Nambuya Sylvia omutuuze ku kyalo Katuba mu gombolola ye Nakisunga, abadde yakazaala asangiddwa ngabuuse akasolya ke nnyumba ya Landlord we Kisolo John ppaka mu dduuka lye ngabba ssente.
Bano babadde bagenze mu nnimiro wabula omukazi nakomawo okukima eddagala lyokufuyira namusanga munda mu dduuka…
File Photo:Enyumba nga ekutte omuliro
Bakalittima abatanategerekeka balumbye amaka ga Ssentebe w’ekibiina kya NRM mu disitulikiti ye Luweero Ronald Ndawula nebagatekera omuliro.
Obulumbaganyi buno bukoleddwa ku ssaaw 10 nga bukya olwaleero.
Omuliro guno gusanyizzawo ebintu byomunyumba ssaako nebyabadde agenda okukozesa okukuba kampeyini.
Ndawula atabereza abawagizi begweyawangula mu kamyufu k;obwa ssenetebe bwa LC3 okuba emabega w’obulumbaganyi buno.
Omwogezi wa poliisi mu…
File Photo: Laddu esse abantu
Ekikangabwa kibutikidde abatuuze ku kyalo Kisolo-Naluwondwa mu gomboloola ye Madudu e Mubende Laddu bwekubye ab'oluganda 3 babiri ne bafirawo.
Abagenzi mu kiseera kino tebanaba kutegerekeka manya gabwe wabula nga batabani ba Kiberu Eria nga bano Laddu okubakuba ebasanze wabweru mu nkuba ebadde etonya nga ntonotono ate nga munabwe ye adusidwa mu kalwaliro…
File Besigye nga alwanagana ne police
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwa pulezidenti Dr. Kiiza Besigye akwatiddwa.
Besigye akwatiddwa nga ava mu maka ge wali e Kasangati okugenda okukuba enkungaana mu bitundu ebyenjawulo.
Atwaliddwa ku poliisi ye Naggalama
Nga tannakwatibwa Besigye yemulugunyizza nga eddembe lye nga munnayuganda bweririnyiriddwa
File Photo:Capt. Amon Byarugaba eyasonyiyidwa
Omu ku baasingisibwa omusango gw’okubeera omuyeekera wa PRA Capt. Amon Byarugaba kyaddaaki eyimbuddwa.
Byarugaba amazeeyo ekibonerezo ekyamuweebwa eky’emyezi omukaaga oluvanyuma lw’okusingisibwa omusango gw’obutujju n’okwetaba mu kuyekeera gavumenti ya NRM.
Ayimbuddwa okuva mu kkomera lye Kigo okudda ewaka ng’awerekeddwaako munnamateeka we Radislaus Rwakafuuzi.
Byarugaba yali avunaanibwa wamu n’abantu 22 okwaali ne Dr Kiiza Besigye.
Ono bamukwatira…
File Photo: Omulwadde wa kolera
Ekirwadde kya cholera kyakatta abantu 6 mu gombolola ye Kabwooya mu disitulikiti ye Hoima .
Ekirwadde kino kati kisasanidde ne mu gombolola ye Buseruka nga eno 89 bali ku ndiri.
Okusinga Cholera alumbye babeera kumpi n’embalama z’enyanja Albert.
Alondoola eby’obulamu mu disitulikiti eno Fred Kugonza ategezezza nga abasatu bwebabadde ku mwalo gwe Nkondo sso…