File Photo: Ekibangirize kye Ttaka
Omulamuzi wa kkooti ejulirwaamu Remmy Kasule asabye bannamateeka okukubiriza abantu okulamba ensalo zaabwe emisango gy’ettaka bwegiba nga gyakukengeera.
Ng’ayogerako eri bannamateeka abayamba abantu ku bwereere, omulamuzi Kasule agambye nti kino kiyinza okukolebwa ng’abantu basimba ebirime ku nsalo oba emiti omuli empaanyi okwewala entalo.
Omulamuzi agambye nt emisango gyebatudde nagyo egisinga gya ttaka nga…
File Photo: Owa Nrm ngalaga enkalala zekibiina
Kyaddaaki poliisi ye Kalungu ezudde enkalala z’ekibiina kya NRM ezigambibwa okuba nti zabibwa kuva mu ofiisi ya NRM.
Enkalala zino 3 zisangiddwa mu maka ga Daniel Sejjoba’ ku kyalo Kiwesa mu disitulikiti ye Kalungu.
Enkalala ezizuliddwa zibadde za kyalo kye Kansamba, Muwomya ne Kasenyi.Ku mande poliisi yakutte Kristopher Mulindwa nga ono…
File Photo: Omukazi nga tadde sente mu kaleega
Mu ggwanga lya Australia , waliwo ekifo ekirirwaamu ekiweze ensimbi eziterekebwa mu kalega ne mu mpale z’omunda
Abaddukanya ekifo kino bagamba nti bwebanyuka babadde babala ensimbi naye ng’ezisinga ziwunya entuuyo era nga batebereza nti zino baba bazikulidde
File Photo: Banansi ba Kenya nga badda eka
Abantu abasoba mu 700 beebazze ku butaka mu Kenya oluvanyuma lw’okusuulawo ebibiina ebirwanyi mu ggwanga lya Somalia.
Wabula waliwo okutya nti abantu bano bandifuuka ekizibu singa tebayambibwa mu ngeri y’okubudabuudibwa
Kigambibwa okuba nti aba Alshabab bali mu kuwandiisa bantu mu ggwanga lya Kenya nga kiyinza okuba nga kyekitengudde bano okuleka…
File photo: polisi nga eyogeerako eri abantu
Abasirikaale ababadde bagoba ababbi bakubye omwana e saasi mubutanwa.
David Ssimbwa owemyaka 16 nga mutuuze we Wakiso ku kyalo Kyoga yakubidwa esaasi mukugulu abasirikaale bwebabadde bagoba ababbi wabula wabalabye nadduka.
Ono aweredwa ekitanda e Mulago nga taliko amuliko olwensonga nti ewaka teli yategedde nga bwalumizidwa nga talina siimu yonna mutwe.
Twogedeko naye…
File Photo: Mackansi nga eriko omusaayi
Omuyizi wa siniya ey’okuna ayolekedde okusubwa ebibuuzo bye oluvanyuma lw’okufumitibwa makansi ku mutwe abagaalana ababadde balwana.
Sowedi Waiswa omuyizi mu Iganga Parents nga aweza egyobukulu 18 mutuuze we Iganga ku kyaalo Nakavule y’alumiziddwa mu kulwanagana kwa balirwana omwami ategerekeseeko erya Isa bwakanyuze Makansi okukuba mukyala we wabula n’ekwatamu Waiswa abadde ku…
File Photo: Omusajja nga lwana no mukazi
Ssezaala afunye obutakkaanya ne mukamwana okukkakkana ng’amufumise effumu
Bino bibadde ku kyalo Kamuli ekisangibwa mu disitulikiti ye Mityana.
Lameka Ssemalola atemera mu gy’obukulu 90 asangirizza mukamwana Florence Ndagire nga anoga emwaanyi ‘zagamba nti yazisimba ne bba wabula kyokka nga sezaala we azikaayanira.
Ndagire agamba ono yabadde ayagala kumutta nga ayambibwako balamu be.
File Photo:Besigye nga mubawagizi be
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti Dr. Kiiza Besigye asabye gavumenti okukoma okwonoona ensimbi z’omuwi mu kulondoola abavuganya
Kiddiridde Besigye okugumba ku maka ga Besigye okumulemesa okugenda e Bugiri kko n’okugumba mu bitundu ebitali bimu e Bugiri okulemesa.
Wabula ono asobodde okukuba poliisi akawunika okutuuka e Bugiri gyebamulabudde nti ssiwakukkiriza kukuba nkungaana…
File Photo: Mbabazi ngali ku kiteebe y kya NRM
Abakulembera ekibiina kya NRM bakyalemeddeko nga eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi bwakyali memba w’ekibiina okuva bwekiri nti ali mu palamenti ku tikiti y’ekibiina kya NRM kale nga alina n’okwetaba mu ttabamiruka owa nga 30 October.
Nga ayogerako eri bannamawulire ku ku kitebe ky’ekibiina wali ku luguudo lwe Kyaddondo,…
File Photo: Besigye nga wubiirako ku bawagizi be
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti Dr. Kiiza Besigye atuuse e Bugiri wakati mu bukuumi obw’ekitalo.
Awerekeddwako ababaka okuli Nathan Nandala Mafaabi , Peter Mugema Panadol n’akulira oludda oluvuganya gavumenti Wafula Oguttu.
Poliisi eyiriddwa okwetolola ofiisi z’ekibiina nga bbo abawagizi bakyakyankya nga balinda ofiisi zaabwe okugulibwawo mu butongole.
Abaserikale ba…