File Photo:Omusajja nga kebelwa mukyuma
Bannasayansi bazudde ebika ebipya bitaano ebya kokoolo akwata abasajja.
Bano bekebezze abasajja 250 okuzuula bino era ebika byonna kibadde kiraga nti bisikire busikizi.
Abasawo bagamba nti kati kijja kubayamba okumanya ebika bya kokoolo gwebalwanyisa n’eddagala ettuufu ery’okukozesa
Wabula bannasayansi bano okuva mu Bungereza bagamba nti bakwongera okunonyereza nga batunuulira abantu abalala okulaba oba ddala…
File Photo: Omutujju mu India
Mu ggwanga lya Buyindi omusajja eyatega bbomu mu kibuga Mumbai nezitta abawerako awanikiddwa ku kalabba.
Yakub Memon omusango gw’okutega bbomu mu 1993 gwamukka mu vvi olw’abantu 257 abafiira mu bulumbaganyi buno.
Eggwanga lya Buyindi lirwawo okuwanika abantu ku kalabba nga abantu 3 bokka bebakawanikibwa ku kalabba okuva mu 2004.
Poliisi ye Malongo mu disitulikiti ye Lwengo eriko abantu 3 bekutte ku by’okutibwa kw’omusajja ow’emyaka 24.
Abakwate bategerekese nga Mathias Nsubuga , Robert Kalanda ne Flavia Namuddu oluvanyuma lw’omugenzi ategerekese nga Bukenya okutibwa.
Okunonyereza okusoose kulaze nga bano bwebasemba okulabibwako n’omugenzi nga omulambo gwe tegunasangibwa nga gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bw’eggwanga Noah…
Ab’omukago gw’abebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic alliance bategezezza nga bwebatalubirira kutwala buyinza kyokka, wabula n’okukulembera eggwanga oluvanyuma lw’okulonda kwa 2016.
Kino kibikuddwa ssentebe w’omukago guno Prof. Fredrick Ssempebwa mu kutongoza ofiisi z’omukago wamu n’okutondawo obukiiko obugenda okutambuza omukago guno.
Obumu ku bukiiko buno kuliko akateesiteesi w’amu n’akagenda okubalungamya ku nsonga ez’enjawulo.
Akakiiko akateesiteesi kakulemberwa ssenkulu w’ekibiina kya Jeema…
File Photo: Abakoozi nga bali ku gyabwe
Abakozi b’ekkolero lya sukaali erya Kinyara sugar Works Ltd abasoba mu 600 bekalakaasizza lwambeera mbi mwebakolera.
Abatema ebikajjo n’abakozi abalala bategezezza nga abakulira ekkolero lino bwebatafa ku byabulamu byabwe, omusaala mutono ddala sso nga n’amabaluwa agabakakasa ku mirimu tegakolebwangako.
Aduumira poliisi mu bitundu bino Charles Ssebambulidde ategezezza nga poliisi bw’eyiriddwa okulaba…
Akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga katandikiddewo okwetegekera okulonda kwa 2016.
Akulira akakiiko kano e Gulu Rose Atim ategezezza nga bwebataddewo ekifo ewali abantu abatendeke abagenda okulondoola okulonda kwonna okwetolola eggwanga
Bano batendekeddwa ettendekero erisomea ku dembe ly’obuntu okuva e Kenya oluvanyuma lw’obuvuyo obwali e kenya nga okulonda kuwedde emyaka egiyise.
Amyuka ssentebe w’ekibiina kya NRM mu ggwanga Alhajji
Moses Kigongo ategezezza nga bwali omwetegefu okuvuganya n’omuntu yenna ayagala okumwesimbako.
Kigongo ategezezza nga bw’akyalina embavu ku kifo kino nga era wakugenda mu maaso n’okuwereza.
Ye sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga yagyeyo foomu z’okwesimbawo ku bw’amyuka ssentebe owokubiri.
Abantu ab’enjawulo basuubirwa okugyayo foomu nga nsalesale w’enkya tanaggwako nga n’omukulembeze w’eggwanga asuubirwa…
File Photo: Nambooze nga yekandagira ku police
Akakiiko ka palamenti aka gavumenti ez’ebitundu kakwanja alipoota yaako ku ky’okutondawo amasaza amapya 39.
Nga ayogerako ne bannamawulire nga betegekera okwanja ebbago ku bifo bino , minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu gavumenti y’ekisikirize Betty Nambooze ategezezza nga bw’agenda okuwakanya engeri enteekateeka yonna gyekwatiddwamu kubanga teyafunye mukisa kwetegereza alipoota ku masaza…
File Photo: Ekizimbe kya Kalungi Towers mu Kampala
Ekizimbe kino kyaggaddwa olunaku lwajjo oluvanyuma lw’ekitongole kya KCCA ekikola ku byobulamu okukakasa nti kibadde kibulamu mu byobulamu.
Amaduuka mangi gassiddwaako ebipande ebyetondera bakasitoma nebabasaba okubeera abagumikiriza.
Ekizimbe ekyogerwaako kirina kabuyonjo enjama ennyo, ebisenge byaaguba kko ne wansi wonna awazze wameguka
Abasuubuzi aboogeddeko naffe kyokka nga tebagaala kubaatula manya bategeezezza nti…
File Photo: Camisona wa Police Moses Binoga nga yogeera
Bannayuganda abagaala okukuba ekyeeyo ebweru basabiddwa okusooka okwebuuza ku poliisi ku bibiina ebibatwala nga tebannaba kusimbula kuva wano.
Amagezi gano gavudde eri kamisona wa poliisi akola ku nsonga z’okukusa abantu Moses Binoga ng’eggwanga lyetegeka okukuza olunaku lw’okulwanyisa okukusa abantu olunaku lwajjo.
Binoga agambye bannayuganda bangi bakukusiddwa okutuuka mu mawanga…