Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Poliisi eyingidde mu nkayaana z’ettaka

Oluvanyuma lw’abatuuze abasoba mu 1500 okuva mu byalo 5 okwekubira enduulu ku kibba ttaka mu disitulikiti ye Kalungu, ekitongole kya poliisi eky’ebyettaka kibiyingiddemu.   Ebyalo ebikukuluma kuliko  Kikonda, Natitta, Kawule, Lwenswera ne  Kawembero . Kino kiddiridde nanyini ttaka  Samuel Kasule okugaana okutwala obusuulu bw’abali ku ttaka lino n’ekigendererwa eky’okubagoba ku ttaka lino. Mu nsisinkano gyebabaddemu ne poliisi, abakulembeze b’amagombolola…

Read More

Temutunda kalulu- Sekaggya

Eyali akulira akakiiko akalwanirira edembe ly’obuntu Margret Ssekajja asabye bannayuganda okwewala okutunda obululu bwabwe wamu n’okulonda bannabyabufuzi ababagulirira n’obutole bwa Sabuni. Ssekajja agambye nti okulonda okuzze kubeerawo mu ggwanga kujuddemu kugulirira abalonzi, ekiviiramu okulonda abantu abatalina mugaso eri eggwanga. Ssekajja asabye abantu okubuuza bannabyabufuzi kyebabakoledde mu myaka 5 emabega nga tebanaba kuddamu kubalonda. Ono era alaze obwenyamivu olwebikolwa…

Read More

NRM efe ku bakyala- Kabanda

Abakulembeze mu kibiina kya NRM basabiddwa okulaba nga bannakibiina bakiikirirwa kyenkanyi naddala ku lukiiko olw’okuntiko mu kibiina. Omubaka wa pulezidenti mu Kampala era nga yesimbyewo ku bu myuka bwa Ssentebe w’ekibiina kya NRM mu Buganda Aisha Kabanda agambye nti abakyala tebafunye kukiikirirwa kumala naddala ku lukiiko olufuzi olw’ekibiina kya NRM. Kabanda agambye nti kivuddeko ensonga z’abakyala obutakolwako…

Read More

Besigye asimattuse akabenje

Eyali Ssenkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye asumattuse akabenje bw’abadde agenda e Hoima okuwenja obululu okuva mu bannakibiina kya FDC. Akabenje kano akafunidde Kyankwanzi omupiira gw’emmotoka ye negusiriira. Besigye abadde atambulira mu motoka ekika kya Land cruiser namba UAN 661V era agamba nti akabenja kano kandiba nga kavudde ku biragala poliisi byeyafuyira emupiira g’emotoka ye bweyali emukwata…

Read More

Museveni aweze- Tujjja Kuwangula

File Photo: Mbabazi nga buza Museveni Pulezidenti Museveni ajjeeyo foomu okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga olunaku lwaleero n’asuubiza okutwala eggwanga mu maaso. Pulezidenti abadde awerekeddwaako ba minisita, ababaka mu palamenti kko ne bannakibiina abatali bamu agambye nti ekimu ku bituukiddwaako kwekutuusa emirembe mu bitundu byonna. Museveni agambye nti musanyufu nti era eggwanga lyongedde okulwanyisa enguzi era nga liri mu…

Read More

Abasoba mu 2000 bajjeeyo foomu

File Photo: Aba NRM Ekyankwanzi Bannakibiina kya NRM abasoba mu 2000 beebakajjayo foomu okwesimbawo ku bifo ebitali bimu Ku bano 1550 besimbyeewo  okukiika mu palamenti , 410 bagaala bifo bya bakyala ate ng aba ssentebe bali 169. Ssentebe w’akakiiko ka NRM akalondesa Dr Tanga Odoi agambye nti obuwumbi busatu n’ekitundu bwebukunganyiziddwa era nga zakuyamba ekibiina mu kalulu k’omwaka…

Read More

Ensigo z’embala tezikugirwa

File Photo: Abalimi boleseeza Waliwo ekibinja ky’abalimi abaddukidde mu kkooti nga bawakanya ebbago ly’etteeka erisaawo abantu ssekinoomu abagenda okukuuma ensigo z’embala. Abalimi bano bawagiddwa ebibiina by’obwanakyeewa ebigambi nti ensigo z’embala tezirina kussibwaako lukomera lwonna. Omukungu okuva mu kibiina kya Food Rights Alliance Gonzanga Mbalangu agamba nti kino kikyaamu kubanga kijja kusiba abalimi bangi n’okubalemezaako ensigo ezitavaamu makungula gawera Mbalangu…

Read More

Ab’omukago batandise okutabaganya abatalima kambugu

File Photo: Aba Democratic Party Ab’omukago gwa The Democratic Alliance batonzeewo akakiiko akagenda okutabaganya ba memba abatalima kambugu mu bibiina ebiri mu mukago guno. Kino kiddiridde ekibiina kya DP okuyulikamu nga kati waliwo ekibinja kya Loodimeeya Erias Lukwago ekyagala okwesogga omukago n’ekya Norbert Mao nga nakyo kyetaaga okubeera mu mukago. Akulira omukago guno ssabakenkufu Fredrick Ssempebwa agambye nti…

Read More

Byandala bamukutte bubi- Minisita

File Photo: Minister we bye mirimu ne nguudo Minisita w’eby’enguudo  n’entambula Eng John Byabagambi kyaddaaki avuddemu omwaasi ku kukwatibwa kwa munne gweyaddira mu bigere Abraham Byandala. Byabagambi agambye nti yadde nga Byandaala ayinza okuba ng’alina omusango, kyabadde kikyaamu okumala gamukwata nga sipiika wa palamenti tategezeddwa yadde omukulembeze w’eggwanga amulinako obuvunaanyizibwa nga minisita Byabagambi agamba nti Byandala ayinza okuba…

Read More

Endwadde ezitasigiibwa zeyongedde

File Photo: Omwana ayina ekilwadde Minisitule y’ebyobulamu eraze obwenyamivu olw’endwadde ezitasiigibwa ezeeyongera buli lukya Atwala ekiwayi ekirwanyisa endwadde z’ekika kino mu minisitule y’ebyobulamu Gerald Mutungi agambye nti mu kunonyereza kwebaakoze baakizudde omuntu omu ku bana abakulu omu abeera ne puleesa kyokka nga kubuli bantu abakuliridde kkumi basatu babeera ne sukaali. Dr. Mutungi agambye nti abantu abasinga bagenda okutuuka…

Read More