File Photo: Oluguudo lwe Katoosi
Ebipya byongedde okuzuuka ku mivuyo egyetobose mu kuzimba enguudo za Uganda.
Olwaleero akakiiko akanonyereza ku mivuyo gino kakizudde nti ensimbi eziweza obuwumbi 18 zeezaweebwa kkampuni y’ekikwangala okutwala ettaka eryaali mu ntobazi.
Kkampuni eyogerwaako emanyiddwa nga Excellent Assorted Manufacturers ng’eno nyini yyo ye Moses Magala.
nga yategeeza nti ye nanyini lutobazi lwe Nakigalala kyokka ng’olutobazi…
File Photo:Abeyawuude ku Dp
Loodimeeya wa kampala Ssalongo Erias Lukwago atongozezza ekibiina ekituumiddwa Platform for Truth and Justice.
Mu Lukiiko lwa bannamawulire lw’ayise, Lukwago agambye nti ekibiina kino akitonzeewo ng’ekisinde ekinalwanirira amazima mu DP kubanga obukulembeze bwaava dda ku mulamwa
Lukwago agambye nti abakulembeze mu DP abakulembeddwaamu Norbert Mao balemereddwa okuwuliriza enjuuyi ezitali zimu nga bakola byaabwe kale…
File Photo: Omuyimbi Ragga Dee ngava okujayo form
Omuyimbi Daniel Kazibwe amanyiddwa enyo nga Raggae Dee ajjeeyo empapula okwesimbawo mu kamyufu ka NRM ku bya Lord Mayor bwa Kampala.
Raggae ye muyimbi ow’okubiri okuyingira eby’obufuzi mu NRM ng’eyasooka ye Judith Babirye ayagala okukiikirira disitulikiti ye Buikwe mu palamenti.
Bw’abadde yakamala okujjayo empapula Raggae Dee aweze okukolera ekibiina kya…
Akakiiko akalondesa mu ggwanga kalangiridde nti abantu okulonda ssi bakukozesa ndagamuntu nga bwekibadde kitegekeddwa
Kiddiridde okukizuula nti abantu bangi tebeewandiisa kufuna kaadi zino ate nga n’abalala tebazifunanga.
Kati abagenda okulonda bakubakebera ku lukalala olukadde okulaba oba alonda yooyo nga bakozesa ekifananyi ekiriko.
Kino kirangiriddwa omwogezi w’akakiiko akalondesa Jotham Taremwa
File Photo: Omusajja ngali mukoolera
Omusajja omu afudde bw’abadde nebanne ababundabunda abali eyo mu 1500 nga bagezaako okusalinkiriza bayite mu mudumu ogutwala amazzi okwesogga eggwanga lya Bungereza.
Bano babadde bakyali mu ggwanga lya Bufaransa nga poliisi egezaako okubatangira okusala.
Kino kizze nga ssabaminisita w’eggwanga lya Bungereza David Cameron ky'ajje asuubize nga bw’agenda okukwasaganya embeera y’abantu bano abagezaako okusalinkiriza.
Ono…
File Photo:Edongosezo lyamafuuta
Uganda eteekateeka kuzimba ssengejjero ly’amafuta mu myaka 3 nga eggwanga lyetegekera okutandika okufulumya amafuta mu 2018.
Minisitule y’ebyamasanyalaze n’obugagga obukusike era yakuteeka omukono ku ndagaano ne kampuni y’amafuta eya Total okuva e Bufaransa ne Tullow Oil eya Bungereza nga betegekera okutandika okutunda ku mafuta gano mu 2018.
Kino kibikuddwa mu nsisinkano ebaddewo wakati w’omukulembeze w’eggwanga…
File Photo: Abawagizi ba NRM
Abantu abasoba mu 600 abaasala eddiiro nebegatta ku kibiina kya NRM batiisizza okuddayo mu bibiina byabwe .
Bano baagala abakulira ekibiina kya NRM babasisinkane mu butongole nga bamemba b’ekibiina.
Nga bakulembeddwamu Apollo Jaramogi, bategezezza nga bwebasalawo okuva mu bibiina byabwe omwaka oguwedde wabula tebabalabawo.
Wabula ssentebe w’ekibiina kya NRM e Tororo Yeri Apollo Ofwono…
File Photo: Akambe nga kaliko omusaayi
Poliisi mu disitulikiti ye Lwengo eri ku muyiggo gw’omukazi asazeeko bba engalo ng'amulanga bwenzi.
Flavia Namale , omutuuze ku kyalo Kawuniro y'ayiggibwa bw’akakkanye ku bba Paul Mugerwa n’amutemako engalo 3.
Namale yasabye bba amuyambe amunalizeeko muwala waabwe kyeyagaanye n’ayingira mu nyumba n’agyayo ejjambiya n’amutemako engalo.
Okusinziira ku baliraanwa Namale abadde nga anenya bba…
File Photo : Palamenti ya Uganda
Eyali akulira eby’embalirira ya Palamenti Samuel Wanyaka asindikiddwa e Luzira yebakeyo emyaka 10 lwakukumpanya bukadde bwa siringi 822.
Kkooti ewozesa abakenuzi era eragidde Wanyaka ono okuzza ensimbi zino.
Nga awa ensalaye, omulamuzi Paul Mugamba ategezezza nga bw’akalize Wanyaka emyaka gino gyonna afuuke eky’okulabirako eri abalala.
Wanyaka era siwakudda mu ofiisi ya gavumenti yonna…
File Photo: Omukungu wa Makerere Kagonyera kudyo
Obadde okimanyi nti emikwano gy’obeera nagyo giyinza okukuyamba okuwangaalira ku nsi.
Kati bannasayansi bazuddenti omuntu gyakoma okubeera n’emikwano emisanyufu awangaala kubanga taba na budde bwewunika.
Kyokka era bano bagamba nti ate emikwano bwegisisinkana mu bibinja gisanyuka era abantu abo bawangaala