Omu ku bagambibwa okutega bbomu ezatta abantu abasoba mu 70 akubye omulanga mu kkooti ng’anyonyola okutulugunya okwamutusibwaako.
Hassan Haruna Luyima agambye nti bamutulugunya nebatuuka n’okumuliisa embizzi nga bagaala akkirize nti yeeyatega bbomu ze Kabalagala.
Omusajja ono agambye nti batuuka n’okumwambula nga bamukanga okulya embisiyaga kyokka nga yyo embizzi bagimuliisa ku mpaka.
Luyima abadde yenyonyolako ku sitatimenti gyeyakola ng’akkiriza…
Ababaka ba palamenti balaze obwenyamivu olw’ebbeeyi y’amafuta ekalaamuse
Mu kadde kano amafuta gatuuse ku shs 3900 ku masundiro amanene nga Total ate ng’amasundiro amatonotono gatunda 3500 petulooli
Omubaka Micheal Mawanda agamba nti waliwo obwetaavu bwa gavumenti okuyingira mu nsonga zino mu bwangu ddala okutaasa bannayuganda.
Ono wabula agamba nti ne siringi okunaabuka kikosezza nga byonna byetaaga okukolako yadde…
File Photo: bamalaya
Ekibiina ekirwanirira eddembe lya bamalaaya kisimbidde ekkuuli ekirowooza kya minisita w’ebyempisa Fr. Simon Lokodo okuwera obupiira bugalimpitawo okuva mu kabuyonjo za palamenti
Omwezi oguwedde Father Lokodo yategeeza nga palamenti bw’ejjudde abantu abafumbo abalina abagaalwa baabwe nga tewali nsonga lwaki ate babawa obupiira
Banakyaala bagamba nti ekirowoozo kya minisita ssinga kiyita kiyinza okwongera ku bulwadde bwa…
Ssenkaggale wa DP Norbert Mao aweze nga bw’azze n’enkuba empya egenda okutwala ekibiina mu maaso.
Norbert Mao abadde taliiwo okumala emyezi ebiri agamba nti wakutandikira ku kugolola ba memba ttumba abasiiwuuse empisa w’atabadde
Ono alayidde nti k’abe lubaale oba katonda , ttabamiruka w’ekibiina wakugenda mu maaso era nga tebajja kumwongezaayo
Yye eyesimbye ku Dr Lulume Bayiga asabye Mao…
File Photo: police nga esomesa abantu
Poliisi etenderezza abantu ba bulijjo olw’okubeera obulindaala mu by’okwerinda
Kiddiridde okuzuula akamundu ka baana bazannye abantu kebabadde bayita emmundu ya ddala era poliisi erwanyisa obutujju y’ekajjeewo.
Ng’ayogerako eri bannamawulire ,akulira poliisi ekuuma abakungu Chris Besigye agambye nti kino kiwa essuubi nti abantu bagoberera ebibali okumpi.
File Photo :Bana kibiina kya Dp
Olukiiko lw’abakulembeze b’ekibiina kya Democratic Party okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo lwakutuula olunaku olwenkya okutunula mu kwemulugunya kwonna okwabadde mu kulonda kw’obukulembeze bw’ekibiina obw’emitendera egyawansi.
Nga ayogerako eri bannamawulire ku kiteba kya DP , omwogezi w’ekibiina kino Kenneth Paul Kakanda ategezezza nga ensisinkano eno bw;egenda okubeera wali ku Pope Paul Memorial…
File Photo: Akulira bank enkuulu
Ssenkulu wa banka enkulu Emmanuel Tumusiime Mutebile ategezezza nga Banka enkulu bweyimirizza okugula zi doola kubanga mpaawo kyekitaasizza ku kunaabuka kwa siringi.
Mu kiwandiiko ky’afulumizza olwaleero Mutebile ategezezza nga bwebakoze ekisoboka okutaasa siringi okwongera okunabuuka nga bagula doola zino naye mpaawo kikyuuse kubanga bannayuganda batono mu kiseera kino abayingiza doola mu ggwanga.
Banka…
Essuubi lyabannayuganda abaagala TV zaabwe zidizibwe ku nkola ya analog etali yakussulira ligenda lisebengerera.
Omulamuzi wa kkooti ye Mengo omukulu Jane Natukunda asazizzamu ekiragiro kya kkooti eno ekyasooka okuzzako Tv z’abantu ezagyibwako ezitaali ku nkola ya Digito.
Natukunda ategezezza nga kkooti ye Mengo bweri ento etalina buyinza kusalawo ku nsonga eno n’agisindika mu kkooti enkulu era n’awa…
Abazadde abagenze ku lubalama lw’enyanja n’omwana bamwelabidde n’asengejjera ku mazzi.
Omwana ono ow’emyezi 10 abadde mu kibaya nga kino kyekirengeddwa abantu nga kisengejjera ku mazzi nebakigoberera okusanga nga mulimu omwana.
Abazadde mu kubanoonya babasanze bali mu mukwano omuzibu ku lubalama lw’enyanja nga bweboota musana
Bino bibadde mu ggwanga lya Turkey
Abamu ku basubuuzi ku kibangirizi ky’ekisaawe kye Nakivubo abagobeddwa ekitongole kya KCCA basabye baweebweyo akabanga okutuuka ku nkomerero y’omwaka guno basobole okufuna gyebagenda.
Bano abasangiddwa nga bakyalemedde mu buyumba obugambibwa okusengulwa essaawa yonna bagamba KCCA esooke ebaddizze sente za layisinsi zebazze basasula.
Bano okugobwa kyaddiridde akakiiko ka palamenti akateekebwawo okunonyereza ku kibba ttaka mu Kampala…