Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omwoleso gutandise

File Photo: Abalimi boleseeza Omwoleso gw’ebyobulimi ogwomulundi 23 guggulawo olunaku olwaleero wali e Jinja. Akuliddemu enteekateeka eno  Peter Kisambira agamba ebyokwerinda binywezeddwa buli kimu okutambula obulungi. Mungeri yeemu abagenda okwetaba mu mwoleso guno bategezezza nga guno bweguli omukisa omunene okwolesa ebirime byabwe abantu bongere okubimanya n’okubigula.

Read More

Atomeddwa motoka n’afiirawo

Mu disitulikiti ye sembabule waliwo omusajja ow’emyaka 35 atomeddwa mmotoka emutiddewo yo n’ebulawo. Isaac Matovu  omutuuze ku kyalo Lugusulu v y’atomeddwa mmotoka etategerekese namba ebadde eva e Lugusuulu nga edda Kyabi. Okusinziira ku berabiddeko n’agaabwe, Matovu atomeddwa nga asala oluguudo bw’abadde ava ku dduuka . Atwala poliisi y’ebidduka mu kitundu kino  James Tebaijuka agamba poliisi ekyali ku muyiggo…

Read More

Katikkiro ali mu Buddu

File Photo: Mayiga nga bamulambuza Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba ssabasajja okulekerawo okukaaba ebizibu wabula bakole okusobola okwekulakulanya. Bino Katikkiro abyogeredde mu ssaza lye Buddu gy’abadde akunganya ettoffaali ng'eno yakunganyizza obukadde obusoba mu 50. Mungeri yeemu Katikiro atabukidde bannabyabufuzi abafuuse kyesirikidde ku nsonga za Buganda sso nga bandibadde bazisosowaza okuzza Buganda ku ntikko. Katikkiro wakugenda…

Read More

Amerika erumbiddwa ku bisiyaga

File Photo: Obama nga ayogeera Ssabalabirizi w’e kanisa ya Uganda  Stanley Ntagali avumiridde ekya kkooti ya Amerika eyokuntikko okuzza ensonga y’obufumbo mu kugikubako akalulu nebatuuka n’okukkiriza abasiyazi okwetaaya. Mukiwandiiko kye , Ntagali ategezezza nga obufumbo bwebwagerekebwa okuva eri mukama Katonda kale nga kikyamu ate abantu okukuba akalulu ku nsonga eno emanyiddwa obulungi nti omusajja awasa mukyala sso…

Read More

Mbabazi asisinkanye Museveni ku by’enkiiko ze

File Photo: Mbabazi nga buza Museveni Tukitegeddeko nti pulezidenti Museveni akkakkanye n'asisinkana n'eyali Ssabaminisita Amama Mbabazi. Museveni yeeyayise Mbabazi ku nsonga z'okulemera ku nsonga z'okwebuuza ku bantu ku ky'okwesimbawo mu mwaka ogujja. Kigambibwa okuba nti pulezidenti Museveni kyaddaaki yakkirizza enkiiko za Mbabazi zigende mu maaso. Munnamateeka wa Mbabazi Fred Muwema akkirizza nti olukiiko lwabaddeyo kyokka nga tayogedde bisingawo

Read More

Temukkiriza kubagattika- Amelia Kyambadde

File Photo: Minisita Amelia Kyambadde Minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde asabye abakyala okuvumirira ensonga ebibaluma mu kifo ky’okusirika Ng’ayogerako eri abakyala ba palamenti, Kyambadde agambye nti abakyala balina okuvumirira ebintu omuli eky’okubagattika kko n’okusobya ku baana. Agambye nti abakyala bangi tebakkiririza mu basajja kuwasa bakyala balala kyokka nga basirika gyebigweera nga bafunyeemu endwadde oluusi n’okufa Ono agamba nti keekadde abakyala…

Read More

Tolina gy’olaga- poliisi eri Mbabazi

Police spokesman Fred Enaga during the weekly press briefing at the Uganda Police Headquarters Naguru on December 29, 2014. Photo by Tony Rujuta. Poliisi ezzeemu okukinogaanya nti tejja kukkiriza eyali ssabaminisita Amama Mbabazi okwebuuza ku bantu ku by’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Olwaleero bannamateeka ba Mbabazi nga bakulembeddwaamu Fred Muwema basiibye mu kafubo ne poliisi okubanyonyola tteeka ki…

Read More

Basibiddwa myaka 2 lwakwegadanga

File Photo: Abagalana nga be nywegera Omusajja akaligiddwa emyaka ebiri mu kkomera lwakunyumiza kaboozi mu maaso g’omwana ow’emyaka 3 Jose Caballero ow’emyaka 40, Elissa Alvarez, 21, omukwano gwabalinnye okukkakkana nga bazze mu bigwo mu maaso g’ebbujje Bano baabadde ku lubalama lw’enyanja era ng’abakutte akatambi nebakawa poliisi beebavuddeko omusajja ono ne muganzi we okukwatibwa

Read More

Abasajja bakuwasa asukka mu omu mu kenya

Omukulembeze w’eggwanga lya Kenya assizza omukono ku tteeka erikkiriza okuwasa omukyala asukka mw’omu Etteeka lino likkiriza enkola y’ennono ekkiriza abasajja okusajjalaata Mu kusooka etteeka lino lyawakanyizibwa nnyo ababaka abakyala abaali bakiwakanya kyokka nga bbo abasajja bagamba nti kirungi era kijja kukendeeza ku bwenzi Mu tteeka lino, omusajja asobola okuwasa omukazi w’okubiri nga teyebuuzizza kw’asooka Mu…

Read More

Aba BatValley bewozezzaako

File Photo: Abayizi ba Batvalley Abaddukanya essomero lya Batvalley Primary school bawakanyizza ebigambibwa nti okusabira mu kifo kino kukosa ebyenjigiriza Ng’alabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku kibbattaka ly’amasomero mu kibuga, akulira essomero lino Dr Rajni Tailor agambye nti bapangisa ekizimbe omukubwa enkungaana eri omusumba Aloysius Bugingo okusobola okufuna ku nsimbi Tailor agambye nti okusaba kubaawo ku malya g’ekyemisana gokka…

Read More