Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Bbomu zisse abasoba mu 40

File photo:Ewakubwa bomu jebuwudeko mu Nigeria Mu ggwanga lya Nigeria abantu abasoba mu 44 bafiiridde mu bulumbaganyi bwa bbomu ez’emirundi 2 mu kibuga kya Jos . Bbomu zino zikubye omuzikiti n’ekiriiro ky’emmere. Tewaali yavuddeyo kwewana mabega wabulumbaganyi buno yadde nga abasinga olukongoolo balusonga ku bakambwe ba Boko Haram. Mu nnaku ntono ezakayita abantu nga 200 bebakafiira mu bulumbaganyi…

Read More

Eddogo terikola mu byabufuzi- Bannaddiini

File photo: Sejusa na boluda oluvuganya Waliwo omusumba w’abalokole mu bukiika kkono bw’eggwanga awadde bannabyabufuzi bonna abagenda okwesimbawo amagezi okwewalira ddala okukozesa eddogo okusendasenda abalonzi okubawagira kubanga obukulembeze buva eri mukama Katonda. Paasita  James Ochan agamba nga okulonda kwa 2016 kukubye kkoodi bannabyabufuzi bangi beyuna eddogo okubawanguza neberabira Katonda eyabatonda. Agamba abo bonna abakozesa eddogo tebasobola kubeera bakulembeze…

Read More

Gwebasanze ne ttiyagaasi gamumyuse

  Poliisi ye Matete  eriko omusajja ow’emyaka 30 gwekutte lwakusangibwa nakakebe ka tiya gaasi. Edward Kawawa y’akwatiddwa ne tiya gaasi ono wamu n’engatto za poliisi . Kawawa okukwatibwa kyaddiridde okuteega abantu abaabadde badda ewaabwe nga bava ku mwleso n’ababba obutabalekera kantu. Muliraanwa wa Kawawa yeyatemezza ku poliisi oluvanyuma lw’okulaba ebimu ku bintu bye ebyamubibwako mu maka ga Kawawa. Kigambibwa nti…

Read More

Basuulidde poliisi Omulambo

  Wabaddewo katembe ku kitebe kya poliisi e Soroti oluvanyuma lw’abenganda z’omuvubuka  eyakubiddwa poliisi amasasi n’afa okusitula omulambo gwe nebagusulira poliisi. Bano becwacwanye nga balumiriza poliisi okubattira  omwana waabwe Wabula olutuuse ku poliisi bano era basoose kukaayana ku wa webalina okusuula omulambo guno nga abamu baagala kuguteeka ku mmeza ewatuukira abantu wabula abamu nga baagala gutwalibwe mu ggwanika…

Read More

Nkomyeewo ate na maanyi- Besigye

File Besigye nga alwanagana ne police Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC  Dr. Kiiza Besigye asoomozezza omuntu yenna alina obujulizi nti y’asuubiza obutaddamu kwesimbawo ku bwapulezidenti yesowoleyo. Nga ayogerako nebannamawulire amakya galeero wali ku ofiisi za Katonga, Besigye ategezezza nga bulijjo bwakinoganya nti enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda zisooka kukolebwako nga tanesimbawo. Besigye ategezezza nga amanyi agawamu bwegetagisa okumegga gavumenti…

Read More

Teri kudda Mabega, ngenda mu bantu -Mbabazi

File Photo: Mbabazi ngali ne Museveni Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi   ategezezza nga poliisi bwetalina buyinza kugaana lukungana lwabufuzi lwonna okugyako okuwa abalurimu obukuumi. Bino Mbabazi abyogedde  ayogerako nebannamawulire amakya galeero, . Bw’atuuse ku tteeka erilungamya enkungaana, Mbabazi ategezezza nti abantu abasinga bamunenya nti yeyali emabega w’okuleeta etteeka lino wabula nga era tekikyusa nti poliisi terina…

Read More

Sigambangako nti sijja kwesimbawo- Besigye

File Phot :Besigye nga yogeerako eri abawagizi be Dr Kiiza Besigye asabye omuntu yenna alina obujulizi nti yagamba nti tajja kuddamu kwesimbawo okubuleeta. Ono agamba nti azze akinogaanya nti ssiwakwesimbawo ng'enongosereza mu mateeka tezinnayita kyokka ng'atandise okufuna essuubi kubanga zino ziri kati mu palamenti Guno gujja kuba gwakuna nga Besigye yesimbawo ku bukulembeze bw'eggwanga ssinga awangula Gen Mugisha…

Read More

Nze sivuganya Museveni- Mbabazi

Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi agamba nti ye tavuganya pulezidenti Museveni. Mbabazi agamba nti yye yalangirira nteekateeka ya kwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga nga tewali ngeri gy’ayinza kuba ng’avuganya pulezidenti Museveni atalangirirangako nti wakwesimbawo. Ono era agambye nti ky’ayagala kwekutuukiriza ebikyagaanye okutuukirira kyokka ng’atenderezza pulezidenti Museveni olw’okutwala eggwanga mu maaso. Ono agambye nti tewali kubuusabuusa wakubeera mu lwokaano lwa…

Read More

25 bafiiridde mu bulumbaganyi

Abantu 25 bafiridde mu bulumbanganyi obukoleddwa ku muzikiti mu ggwanga lya Syria. Ekitongole kya Bungereza ekirwanirira edembe ly’obuntu mu ggwanga lya Syria kitegeezezza nti waliwo abantu abalala abawerako abalumiziddwa mu bulumbaganyi buno. Obulumbaganyi buno bukoleddwa ng’abasiramu bagenze mu muzikiti guno okusibulukuka. Wabula negyebuli kati abakoze obulumbaganyi buno tebanategerekeka.

Read More