File Photo: Ebisowani bya Tv
Minisita omubeezi avunanyizibwa ku by’empuliziganya ne tekinologiya Nyombi Tembo asabye abantu babulijjo obutagendera ku kiragiro kya kkooti okuyimiriza enkola ya Digito.
Olunaku lw’eggulo omulamuzi w’eddaala erisooka e mengo yayisiza ekiragiro ekiyimiriza akakiko akavunanyizibwa ku byempuliziganya, okujjako TV ezitali ku Digito.
Nyombi agambye nti bannamateeka okuva mu kakiiko k’ebyembuliziganya bamaaze dda okutwala okwemulugunya ku…
Waliwo olukalala oluggya olufulumiziddwa nga lulaga amannya g’abayisiraamu abalindiridde okuttibwa akadde kano
Olukalala luno lwanjuddwa minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga mu gavumenti erinze obuyinza Mohammed Muwanga Kivumbi.
Ku bali ku lukalala luno kwekuli Jjajja w’obuyisiraamu Omulangira Kassim Nakibinge, Sheikh Obedi Kamulegeya, Haruna Jjemba, Sheikh Mohmood Kibaate ne Loodimeeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago.
Kivumbi asabye gavumenti…
Ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu awandiisiddwa okuvuganya kw’ani anakwatira ekibiina kya FDC bendera mu kalulu ka 2016.
Muntu agenda kuvuganya ne Dr Kiiza Besigye eyasusuddwa olw'eggulo.
Muntu asembeddwa ababaka okuli Angelina Osege, Abdul Katuntu, ne Steven Ochola kko nabalala .
Amangu ddala nga yakawandiisibwa, Muntu asabye banakibina kya FDC okumulonda asobole okumalawo ebizibu by’eggwanga omuli,…
Minisitule y’ebyobulamu eyisizza ekiragiro ekikwata abasawo bonna abaguza abakyala b’embuto maama kit
Minisita omubeezi akola ku byobulamu Dr. Chris Baryomunsi agamba nti bu maama kiiti buno bwabwereere era omukyala yenna agenda mu ddwaliro lya gavumenti nebabumuguza asaanye okuwaaba
Baryomunsi bino ebyogedde alabiseeko mu kakiiko akakola ku bya mukenenya ategeezezza nga bwebalina maama kiiti ezimalako omwaka guno gwonna…
Emirimo ku ddwaliro lye Kasana mu Luweero gisanyaladde ,nga kino kiddiridde ekibinja ky’abantu okulumba eddwaliro lino, nga baagala okutta abavubuka ababadde batwaliddwaayo nga bateberezebwa okubeera abanyazi.
Agavaayo galaga ng’abavubuka 2 okuli Farouk Kafeero ne Musa Kayondo bwebaakwatiddwa ku kyalo Kattambwa mu gombolola ye kikyusa nga bakuulita n’ente enzibe okukkakkana nga bakubiddwa, nga kw’ogasse n’okwokyebwa.
Ayogerera poliisi mu…
Akakiiko akagatta enzikiriza ezenjawulo kaweze emikolo gy’okusonderako ensimbi mu masinzizo gonna ekiseera ekigere nga eggwanga lyetegekera akalulu ka 2016.
Nga ayogerako nebannamawulire olwaleero ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Stanley Ntagali ategezezza nga okusonda ensimbi kuno bwekuteeka akabuuza ku kitiibwa ky’e kanisa.
Ntagali era alangiridde nga bwebategese okusaba okwenjawulo okwetolola eggwanga lyonna nga okulonda kw’omwaka ogujja bwekusembera.
Mu kwogerakwe, Ntagali…
Minisita w’emirimu n’ebyenguudo John Byabagambi asuubizza okuwagira akakiiko akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’ebyenguudo.
Nga atongoza emirimu gy’akakiiko kano , Byabagambi asabye abatuula ku kakiiko kano okwetongola mu mirimu gyabwe era bagikole mu bwerufu.
Akakiiko kano ak’abantu 5 katandise leero egyako nga katandikidde ku ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti akawadde byeyazuula ku mivuyo ku luguudo lwe Katosi.
Kati…
Ab’ekibiina kya JEEMA basabye ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura alekulire kubanga alemereddwa okuzuula abatta abakulembeze b’abayisiraamu.
Olunaku lw’eggulo seeka omulala Ibrahim Hassan Kirya nga y’abadde omwogezi w’obukulembeze bw’ekibuli naye y’atiddwa abantu abatanategerekeka wali e Bweyogerer kumpi n’ettaawo.
Omwogezi w’ekibiina kino Swaib Kaggwa Nsereko ategezezza nga poliisi okunonyereza bwekigiremye kale nga ye ssaawa Kayihura akkirize nti emirimu gimulemye…
Obwakyabazinga bwa Busoga buyisizza ekiwandiiko ekirabula bannabyabufuzi okwewala eby’obufuzi ebitematema mu bantu.
Omwogezi w’obwakuabazinga Andrew Inkange y’ayisizza ekiwandiiko kino oluvanyuma lw’okwekalakaasa okwategekeddwa abawagizi bab pulezidenti Museveni.
Bano balabudde eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi obutageza kulinya kigere kyonna ku ttaka ly’obwaKyabazinga nti anoonya kalulu.
Inkange agambye nti bbo tebalina kwebagoba nga buli muntu wa ddembe okubatuukirira olwo abantu nebasalawo
Ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj General Mugisha Muntu avumiridde ekyapoliisi okumala gakubanga masasi mu bantu.
Kiddiridde ebigambibwa nti poliisi yeyakubye omu ku bawagizi b’ekibiina amasasi agamutuusizza nekukitanda.
Omuvubuka ono eyategerekese nga Geoffrey Bbaale kigambibwa nti y’akubiddwa essasi mu kavuvungano ne poliisi bweyabadde okubatangira okukubira mu kkubo nga boolekera ekitebe ky’ekibiina e Najjanankubi mu kusunsulibwa kw’eyali ssenkagale w’ekibiina…