File Photo: Agamu ku malwarilo mu uganda
Abantu mu gombolola ye Kasawo n’ebyalo ebyetoloddewo bagamba tebafuna bujjanjabi bwetaagibwa okuva mu ddwaliro lya gavumenti erya Kiyagi Health Centre 2.
Bagamba eddwaliro lino libali wala nnyo atenga bwebatindigga eggendo okutuukayo babagamba teri eddagala ssonga n’abasawo balagajjavu.
Bino abatuuze babitegeezezza bannakyeewa aba Health Service Derivery abatalaaga nga bafuna endowooza z’abantu ku…
File Photo :Bana kibiina kya Dp
Ab’ekibiina kya DP baweze obutakyusa mu ngeri gyebalondamu abakulembeze baabwe.
Abamu ku bannakibiina baaweze okuzira ttabamiruka w’ekibiina kino singa enonda y’abakulembeze tekyukamu.
Omwogezi w’ekibiina kino Paul Kenneth Kakande agamba enkola eyayitibwamu okulonda bassenkagale b’ekibiina kino abaaliko okuli Joseph Kasolo ,Mugwanya ,Ben Kiwanuka, Paul semwogerere ne John Sebaana Kizito y’emu gyabagenda okukozesa okulonda…
File Photo : Ensalo ya uganda ne Congo
Uganda kyaddaaki etegereganye ne Congo okuggulawo ensala ye Vura emaze ssabbiiti nnya nga nzigale
Mu Lukiiko olutudde mu kibuga Vura, enjuuyi zombie zitegereganye nti emirimu giddemu okutambula nga n’abantu abaali bakwata ebiso bajjiddwa ku nsalo poliisi n’eddamu okukuuma ekifo
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti ensalo eno…
File Photo: Mbabazi nga buuza Presidenti Museveni
Kino kiddiridde poliisi okumulabula obutatawaana kwebuuza ku bantu kubanga aba NRM tebamumanyi
Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okudda ku butaka, Mbabazi agambye nti tajja kukkiriza kutiisibwatiisibwa nga wakugenda mu maaso n’enteekateeka ze
Ono agambye nti ssemateeka amugamba emikono gya bantu 100 nga tannaba kwesimbawo okuva mu buli disitulikiti…
File Photo: Mbabazi nga awandiika ku T-shirt yo mu ku bawagizi be
Poliisi ekutte abavubuka abawagira ba eyali ssabaminisita Amama Mbabazi amangu ddala nga bakamala okwogerako eri bannamawulire.
Bano babakwatiddwa Kawempe ku country inn gyebabadde baayise bannamawulire.
Bano bagenze okumaliriza okwogera nga poliisi yebulunguludde ekizimbe mwebabadde era nebayoolebwa nebakasukibwa ku kabangali esimbudde ku misinde gy’ekizungirizi
Abamu ku bano basobodde…
File Phot :Besigye nga yogeerako eri abawagizi be
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye aggyeeyo foomu z’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga mu mwaka 2016
Empappula zino ziggyiddwaayo banna FDC Wilberforce Kyambadde ne Francis Mwijukye.
Besigye yegasse ku Gen Mugisha Muntu ne Moses Byamugisha abajjeeyo edda foomu.
Amyuka akulira akakiiko akalondesa Michael Kabaziguruka agambye nti okuwandiisa abagaala okwesimbawo kwakubaawo…
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza obuganda ng’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bw’agenda okuddiza obwakabaka bwa Buganda ebyapa 80 nga bwekyakkiriganyizibwako mu ndagaano eyatuukibwako mu mwaka gwa 2013.
Kinajjukirwa nti gavumenti yakakomyawo ebyapa 213 eri obwakabaka bwa buganda.
Mayiga era agambye nti Ssabawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi yamaze dda okuwandiikira minisitule y’eby’okwerinda, minisitule ekola ku nsonga…
File Photo : Stacia ne bba Mu kadaali
Ba wa Stecia Mayanja nga ye Abbas Mubiru azzeemu okukwatibwa mu ttuntu lyaleero.
Mubiru akwatiddwa ku kkooti ya Buganda Road gyawerenemba n’emisango emirala egy’okuwuwuttanya obukadde bw’ensimbi obusukka mu makumi ana
Mubiru akwatiddwa ba wanyondo ba kkooti ababadde bakulembeddwamu Ismail Magumba wamu ne poliisi.
Mubiru abanjibwa obukadde kumi na busatu nga bunno …
Ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority bazzeemu ebikwekweto ku bepena emisolo mu kibuga
Nga bakulembeddwaamu Kibanja wa URA Abdul Salam Waiswa,bano baggadde amaduuka 10 kamukamu plaza ku luguudo oludda Entebbe.
Mu gaggaddwa mwemubadde erya Bin-It abayoola kasasiro e Kamwokya ne Abu Jihad Construction Company e Makindye nga bano bakola gwabuzimbi
Waiswa agambye nti tebajja kussa mukono kukwata batawa…
Okunonyereza okukoleddwa ku ttaka ly’oku lusozi Elgon kulaga nti enjatika zikyatambula
Bano abasinze okutunuulira disitulikiti ye Buduuda agambye nti bakizudde nti ettaka, ensozi byonna byetoloola nga mu biseera bitono wajja kubaawo okubumbulukuka kw’ensozi
Mu march wa 2010, ettaka lyabumbulukuka abantu 350 nebabikkibwa ng’abasigalawo abasinga basengulwa okutwalibwa e Kiryandongo
Mu mwaka 2011, era ettaka lyaddamu okubumbulukuka neribikka abantu 28…