Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Mwekebeze nga muli mbuto- basawo

File Photo: Omusawo nga kebeera omukyala Abakyala bakubiriziddwa okweyuna amalwaliro nga bamaze okuzaala okukeberebwa.   Akulira ekitongole ky’abazaalisa mu ddwaliro ekkulu e Mulago Dr. Josephat Byamugisha agamba kino kijja kuyamba okukendeeza ku baana abafa nga bakyali abato nebamaama abakazaala.   Agamba kino kiyamba abakyala okufuna amagezi ku ngeri gyebasobola okwetegekeramu oluzaala oluddako.   Wabula agamba gavumenti esaanye okutunula mu ngeri gyeyinza okusikiriza…

Read More

Obubbi bw’emmotoka bususse

File Photo: Omusilikale wa Police nga lambula emotoka Ab’obuyinza mu bitundu bye Busia beralikirivu ku bubbi bw’emmotoka okweyongera nga era nyingi enzibe zitundibwa mu kitundu kino.   Alipoota ya poliisi ekola ku busukka nsalo kumpi n’eggwanga lya Congo y’alaze nga emmotoka ezibibwa mu Uganda bwezitundibwa munda mu Congo nga zzo ezibibwa mu Kenya zitundibwa wano mu Uganda.   Omubaka wa…

Read More

Bba wa Stecia wakudda mu kkooti leero

File Photo : Stacia ne bba Mu kadaali Bba w’omuyimbi  Stecia Mayanja asuubirwa okudda mu kkooti olwaleero bamusomere omusango gwe ogw’obufere.   Abbas Mubiru mu kiseera kino yeyimirirwa asuubirwa okulabikako mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Lillian Bucyana okumanya wa okunonyereza wekutuuse ku musango gwe.   Mubiru avunanibwa kufera  Ronald Ddanze obukadde  45 bweyamuguza ettaka ly’empewo.

Read More

Waliwo abatandise okubba akalulu- Lumumba

File Photo:Bana NRM mulukunywana Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM  Justine Lumumba Kasule alumirizza abamu ku baagala ebifo by’obukulembeze mu kibiina kino okukunga abantu okwewandiisa emiundi egisukka mu gumu mu kwewandiisa okugenda mu maaso. Lumumba agamba bamanyi ekigenda mu maaso nga era bakukangavvula abakola kino. Wabaddewo okwemulugunya ku kwewandiisa okugenda mu maaso nga kigambibwa n’abamu abatali bannakibiina bawanmdiikibwa. Mungeri yeemu olukiiko…

Read More

Ba kiwagi ba NRM bakusisinkana pulezidenti Museveni

File Photo:Bakiwagi ba NRM nga bali mu kooti Ababaka ba kabondo k’ekibiina kya NRM bayitiddwa ssentebe w’ekibiina mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Entebbe okuteesa ku nsonga ya Mbabazi.   Ensonga endala eyokutunulwamu y’eyababaka b’ekibiina kino abaagobwa mu kibiina okulaba nga basobola okubazza.   wabula omukugu mu by’obufuzi bw’eggwanga okuva ku ttendekero ekkulu e Makerere Mwambusya Ndebesa agamba kano kazanyo akagendereddwamu okulaba…

Read More

Olukiiko lwakutuula

Olukiiko lwa Buganda lwakutuula olunaku olwalero okusomerwa embalirira y'omwaka gwebyensimbi oyomwaka gwa  2015/2016. Omwaka gwebyensimbi oguwedde obuganda bwatambulira ku mbalirira ya buwumbi 7 era nge ensimbi zino zasinga kuva mu kitongole kya Buganda eky’ebyettaka ekya Buganda land board,ekitongole kya nkuluze wamu nokutunda satifikeeti . Omukubiriza wolukiiko lwa buganda owekitibwa Nelson Kawalya agambye embalirira yomwaka ogujja yakuteeka essira…

Read More

abatujju baakulumba- poliisi

  File Photo : Abalwani ba Alshabab Poliisi ezzeemu okulabula nti abatujju bakulumba eggwanga Mu bbaluwa essiddwaako omukono gwa ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura, poliisi etegeezeza nga bw’efunye amawulire agesigika nti abatujju balina enteekateeka ezirumba Uganda olunaku lw’enkya nga batunuulidde Kampala n’ebitundu by’omuliraano Kaihura agambye nti era bafunye amawulire nti waliwo abavubuka abagaala okukola akavuyo mu kibuga olunaku…

Read More

Ssabassajja akunze ku bitone

Ssabasajja  Kabaka akkatirizza obukulu bw’okutumbula ebitone mu baana nada okuyimba, amazina n’emizanyo nadala mu masomero. Omutanda agambye nti mu bitonde omuli n’emizanyo abaana basobola okufuna ensimbi wamu n’okutumbula embeera zabwe. Nyinimu era yebaziza amasomero agakwatiddeko abayizi mu kutumbula ebitone byabwe nadala ngagabawa zi basale. Ssabasajja okwongera bino abadde ku somero lya St Lawrence SS e Ssonde mu Kyaggwe…

Read More

Abayizi bakubye omusomesa

Abayizi ku ssomero lya St.Peters SS Namawojjolo mu disitulikiti ye Mukono bavudde mu mbeera nebakkakkana ku musomesa nebamukuba emiggo nebamuleka nga apooca. Siraje Nsubuga nga y’akulira eby’ensoma mu ssomero lino, abayizi bamulumbye mu kiro ekikeseza olunaku olwaleero nga bamulumiriza okubakuba ng’emiggo awatali musango. Ono bamukubye n’asigala kikuba Mukono, era poliisi okuva e Mbalala y’emutaasizza. Poliisi esobodde okukwata omuyizi…

Read More

Aba China 3 bakwatiddwa

Poliisi ye Masaka eriko banansi ba china 3 b’ekutte lwakutandika bibanda bya zaala mu kitundu kino nga tebalina layisensi. Bano bakwatiddwa okuva ku wooteri ya Maria Flo mwebabadde basula, era nga bakwatiddwa ku biragiro bya RDC we Masaka Lenos Ngopek. Ngopek agambye nti bano babadde banyaga ensimbi okuva mu bantu, ekireseewo okwemulugunya. Ye Omwogezi wa poliisi e Masaka…

Read More