Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Bakubye ababbi nebattako omu

Abatuuze mu kibuga  kye Wobulenzi mu disitulikiti ye Luweero bavudde mu mbeera nebakkakkana ku bavubuka 4 bebabakuba emiggo nga babatebereza okubba ebyuuma bya sola. Omu ku bavubuka bano ategerekese nga Kisutu ye attiddwa abatuuze, ate abalala 3 okuli John Wasswa Ivan Ssekyanda ne Joseph Jingo  basobodde okutaasibwa poliisi. Abatuuze tebakomye ku kino, bakkidde n’enyumba abavubuka bano mwebabadde…

Read More

Kampala wakugaziyibwa

Ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority bakutongoza enkola ekwata ku byobuzimbi nemirimu mu kibuga. Minisita wa kampala Frank Tumwebaze agamba nti baluddewo okuleeta enkola eno olw’ensimbi kyokka nga omwezi ogujja ebintu bijja kuba mulaala Tumwebazei agambye nti ng’enkola eno ewedde, kampala ajja kuba agaziyizibwa okutwaliramu ebibuga ebimuliraanye

Read More

Omulabirizi we Lugazi atandise okulambula

File Photo : Kakooza ngali ne bukenya Omulabirizi we ssaza lye Lugazi omugya Bishop Christopher Kakooza owaleero atandise okulambula essaza n’emirimu egy’enjawulo egikolebwa. Atandikidde ku ddwaliro lya gavumenti erya Mukono Health Centre 4 ng’ali wamu n’abawereza ba ekereziya, atuuseeko ku kitebe kya Munisipaali ye Mukono, ku disitulikiti n’awalala. Ku mbuga ye ssaza lye Kyaggwe yeetabye mu lukiiko lw’essaza…

Read More

Abatta omutunzi wa Waragi basibiddwa emyaka 25

Kkooti ejulirwaamu eremezzaawo ekibonerezo ky’emyaka 25 egyaweebwa abasajja 2 abatta omutunzi wa Waragi mu mwaka gwa 2009. Abalamuzi ba kkooti ejulirwamaua basatu nga bakulembeddwamu Remmy Kasule bagambye nti tebajja kusazaamu nsala y’omulamuzi Andrew Bashaija eyabasiba emyaka 25 Bagambye nti bazzeemu nebekeneenya obujuliz obwaleetebwa nga mu butuufu abasajja bano batta omutunzi wa waragi Bano era bagambye…

Read More

Abakyala bafiira ku mazzi

    Abakyala ku bizinga bye Koome benyamidde olw’omuwendo gw’abakyala abafiira ku mazzi nga baddusibwa mu malwaliro okuzaala Kansala w’abakyala ku bizinga bino Olivia Nabasirye agambye nti olw’embeera y’amalwaliro agatalimu bikola ku bizinga, bangi baddusibwa mu malwaliro g’oku lukalu ate nga gali wala ddala. Ekizinga kino kiri Mukono kyokka nga’abakibeerako abasinga bwebaba abalwadde bagenda Entebbe…

Read More

Abe Mulago bafunye kamera

Eddwaliro lye Mulago lifunye kamera ezimanyiddwa nga CCTV 11 nga zakussibwa mu waadi y’abakyala abazadde Kino kyakuyamba okukendeeza omuze gw’okubba abaana ogweyongedde mu ddwaliro lino. Kkampuni y’aba china eta ZTE y’egenda okussamu kkamera zino Kamera zino ziwereddwaayo sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga agambye nti essanyu ly’omukyala kuzaala ng’ababbibbwaako abaana baba bajjiddwaako essanyu lyaabwe. Akulira eddwaliro lino Dr. Baterana…

Read More

Akakiiko akalondesa keefulidde Mbabazi- tetukuwanga ku lukusa

Buli lukya okusika omuguwa kweyongera ku ky'eyali ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi okwesimbawo ku bukulembeze w’eggwanga. Kati akulira akakiiko k’eby'okulonda Eng. Badru Kiggundu agambye nti tawangaka lukusa Mbabazi okugenda okwebuuza ku bantu. Bw'abadde ayogerera mu lukiiko lw’ebibiina by’ebyobufuzi ebyenjawulo e Hoima, Kiggundu agambye nti ebbaluwa Mbabazi gyeyawandikira akakiiko ky’ebyokulonda yalimu ebirumira bingi kale nga yali tasobola kukirizibwa. Kiggundu…

Read More

Top TV ne Leediyo biggaddwa

Ekitongole ky’emisolo ekya Uganda Revenue Authority  kigadde Top Radio ne Top TV lwabutasasula misolo. Bano bagaddwa oluvanyuma lw’okulemererwa okusasula ensimbi  obukadde 200. Akulira okukunganya amabanja mu kitongole kino Abdul Salam Waiswa agambye nti bamaze ebbanga ng'alabula abakulira TV ne leediyo  okusasula emisolo gino naye nga butereere. Bano bwebatasasula baakukubibwa mu mbuga z’amateeka era balangirirwe mu balunkupe

Read More

Bbomu zisse basatu mu Somalia

File Photo: Akubidwa bomu Mu ggwanga lya Somalia abantu abali eyo mu 30 bebafudde oluvanyuma lwabamukwata mmundu okulumba ekitebe ky;amagye g’omukago gwa Africa mu bukiika ddyo bw’eggwanga lino. Lumira mwoyo avuze emmotoka n’agiyingiza ku wankaaki w’ekitebe kino mu kitundu kye Leego mu kibuga ekikulu ekya Mogadishu.   Abakwambwe ba Al shabab bategezezza nga bwebedizza ekitebe kino wabula nga…

Read More