Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abayizi bayidde omuliro

File Photo: Esomera lya YMCA Omuliro gukutte ekisulo kya bayizi ne gwookya babiri e Mukono. Truddy Namuswe ow’emyaka 19 ne Racheal Ntamanyire 20 nga bombi bayizi kutendekero lya YMCA e Mukono bebalimukunyiga ebiwundu oluvanyuma lwa bulb okwabika omuliro negwokya ekisulo kya Media hostel obutasigala kantu konna. Nanyini kisulo kino aganye okumuteka kumpewo Janet Namusoke agamba ekizibu kyandiba nga…

Read More

Gavumenti ya kukuuma ensimbi z’abalwadde

    Ssabaminista w’eggwanga Dr. Rukahana Rugunda agamba nti bavuddeyo n’enkola empya ey’okukuumamu ensimbi okuva mu Global Fund obutabbibwa Ng’ayogerera ku mukolo gw’okussa emikono ku ndagaano egaba ensimbi zino eziweza obuwumbi 1300, Dr. Ruhakana Rugunda agambye nti tebagenda kukkiriza Muntu yenna kwesembereza nsimbi zino nga zakujjiranga mu ddagala oba ebyuuma ebyetaagisa Yye minisita w’ebyobulamu Dr. Elioda Tumwesigye agambye nti…

Read More

Akafuba keyongedde mu bavubuka

Waliwo obweralikirivu ebiro bino mu basawo olw’ekirwadde ky’akafuba okubanga kyeyongera buli kadde naddala mu baana abali wansi w’emyaka 15 olw’obujanjabi obwegasa obutatuuka mu byalo. Abasawo abakugu mu kitongole kya International Union Against Tuberculosis and Lung Diseases abaludde nga bakola okunonyereza ku birwadde ebisinze okutta abaana mu byalo, beebalaze obweralikirivu buno bwebabadde basisinkanyeemu  ekitongole ky’ebyobulamu awamu n’abakiise…

Read More

Amyuka omukulembeze w’eggwanga adduse

File Photo : Omukulembeze wa Burundi No mumyuka We Omu ku bamyuka b’omukulembeze w’eggwanga lya Burundi adduse mu ggwanga oluvanyuma lw’okutegeeza nga bw’atawagira pulezidenti Pierre Nkurunziza kwesimbawo kisanja kyakusatu. Eggwanga lya Burundi lyagwamu akasambattuka emyezi egiyise oluvanyuma lwa Nkurunziza okulangirira nga bw’agenda okwesimbawo ku kisanja eky’okusatu. Gervais Rufyikiri ategezezza nga bw’atayinza kubeera kubamu kwabo abagenda okumenya ssemateeka w’eggwanga. Abantu…

Read More

KKooti egobwe okusaba kw’agambibwa okutega bbomu

KKooti esazeewo nti omu ku bagambibwa okutega bbomu mu mwaka 2010 yakkiriza emisango gino nga tewali amukase Omulamuzi wa kkooti enkulu eri mu mitambo gy’omusango guno Alfonse Owiny Dollo era alagidde nti sitatimenti eno essibweeyo ng’obujulizi obwaleteddwa ab’oludda oluwaabi Sitatimenti eyogerwako yakolebwa Issa Luyima  kyokka nga jjo yasabye kkooti okugisazaamu kubanga bamukaka okwogera ebigambo byeyayogera Luyima yagambye nti…

Read More

Okulonda kw’ebyaalo kwakusimba mu mugongo

File Photo : Adolf Mwesigye Gavumenti etegezezza nga ekya palamenti okuyisa enongosereza mu bbago ly’etteeka lya gavumenti ez’ebitundu bwekwabadde okusalawo okutuufu. Akawungeezi akayise palamenti y’ayisizza etteeka lino nga kati abantu bakusimba mu migongo gy’abanatu bebawagira mu kulonda kwabassentebe b’ebyalo, abakulira abakyala, n’ababalema ku byalo. Minisita wa gavumenti ez’ebitundu  Adolf Mwesigye agamba enkola eno tetwala ssente nyingi okusinga okulinda…

Read More

Abasomesa basibiddwa emyaka 2

Abasomesa abasingisiddwa omusango gw’okulagajalira omwana n’agwa mu kidiba ky’essomero n’afa basibiddwa emyaka 2. Deborah Akado ne  Florence Awori nga bano baali basomesa ku ssomero lya  Acorn international school e Bukoto olunaku olweggulo omusango gw’okulagajalira Sunshine Baraza n’abbira mu kidiba ekimanyiddwa nga swimming pool nga  3rd September 2012 bwabasse mu vvi . Omulamuzi wa kkooti ya…

Read More

Bannakyeewa bavuddeyo ku Mbabazi

File Photo : Mbabazi ngali ne Kaihura File Photo : Mbabazi ngali ne Kaihura Oluvanyuma lwa poliisi okugaana eyali ssabaminista Amama Mbabazi okwebuuza ku bantu nga bweyasaba n’akakiiko k’ebyokulonda nako nekamugamba asooke kukwatagana na kibiina kye ekya NRM,  bannakyeewa  bakitadde ku mateeka manafu. Olunaku lweggulo poliisi y’aweze obutakkiriza Mbabazi kugenda eri bantu kubanga ekibiina kya ekya NRM…

Read More

Abadde atoloka akwatiddwa

Poliisi ye Kamuli eriko omusajja ali ku gwokusobya ku muwala gwezzemu okukwata nga agezaako okutoloka. Collins Banaabe nga muyizi wa sinita eyokutaano ku ssomero lya  St John Kagoma akwatiddwa bw’abadde egezaako okubombo nga abakwate batwalibwa okunaaba. Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Kamuli Pamela Agiro ategezezza nga ababodaboda bwebabayambyeko okugoba omusajja ono abadde amazemu omusubi. Ono kati…

Read More