Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abagwira basusse mu Uganda

File Photo: Aba China mu kampala Minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga eraze obweralikirivu olwabagwiira abayongera okwesogga Uganda mu bumenyi bw’amateeka.   Omwaka oguyise gwokka abagwiira abasoba mu 1000 okusinga okuva e china, Pakistan ne India besogga eggwanga mu bukyamu nga era abamu baasobola okukwatibwa  nebabazza ewaabwe.   Amyuka omwogezi wa minisitule eno  Benjamin Katana agamba ebyenfuna by’eggwanga ebyeyongera okutereera byebisikiriza abagwiira…

Read More

Prof Bukenya avudde mu NRM

File Photo :Museveni nga aliko byagamba Bukenya Eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga  Prof Gilbert Bukenya kyaddaaki alagiridde mu butongole nga bw’avudde mu kibiina kya NRM. Bukenya agamba nti kati wakutandikawo ekibiina kye ekya Party for national union. Bukenya okuvaayo bw’ati abadde ayogerako nebannamawulire oluvanyuma lw’olukungaana lw’abavuganya gavumenti olutudde wali e Ntinda. Bukenya agamba yayabulidde NRM okuwa ekibiina kye ekipya obudde…

Read More

Akamyu kawangudde omusota

Abazigera baabiraba nti ekyekango tekimanya muzira Wabaddewo ekigwo ekisudde n’emiti, akamyu bwekagwiridde omusota negagufuuwa lwakulumba baana baako Omusota guno gusoose kwezinga bumyu obuto nga gumaliridde okubutta. Wabula akamyu akakulu kabuuse eri nekalumba omusota era omusota negwebulula mpola negudduka

Read More

Abafa ebbugumu basusse mu 800- emirambo tewali wegissibwa

File Photo Omusajja yeyila amazzi   Abantu abakondoka nebafa olw’ebbugumu erisusse mu Pakistan bayise mu 800 Bbyo ebifo omussibwa emirambo gino biweddewo na n’eggwanika ly’eggwanga lijjudde Embeera y’ebbugumu erisusse eri mu bukiikaddyo bw’ekibuga Sindh. Mu kibuga Karachi wokka, abantu 780 beebakafa Olwaleero lwalangiriddwa ng’olw’okuwummula okusobozesa abantu okusigala mu mayumba gaabwe nga gavumenti bw’ekola kyonna ekisobka okuyambako

Read More

Kkolera mu Adjumani

  Waliwo omuntu atwaliddwa mu ddwaliro erya Nyumanzi health center 11 mu disitulikiti ye Adjumani ng’alina obubonero bw’obulwadde obwefananyirizaako obwa kkolera Ono ategerekese Dau Arok munnansi wa South Sudan ng’abadde mu nkambi ye Nyumanzi  oluvanyuma lw’embeera ye okwongera okwonooneka mu ddwaliro gyeyatwaliddwa Atwala ebyobulamu mu disitulikiti ye Adjumani Ann Adunia agambye nti omusajja ono ajjiddwaako omusaayi okwongera okwekebejjebwa Omuntu…

Read More

Katunguluccumu talina katale e kayunga- bakugu

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kuwabula abalimi ekya National Agricultural Advisory Organisation , kirabudde abalimu mu disitulikiti ye Kayunga ku bantu  abatandise okubalimbalimba nti babasomesa okulima katunguluccumu ow’ettunzi. Omukugu okuva mu kitongole kino e Kawanda Dr. Andrew Kiggundu agambye nti okunonyereza kwebakoze kulaga nti  katungulucumu ono tadda, ate nga talina n’akatale, kyokka ng’abantu babasaba emitwalo 2 okubasomesa okumulima. Kiggundu…

Read More

Abagwiira babayodde

File Photo: Aronda nga ayogera Waliwo abagwira 35 abakwatiddwa lwakubeera muno mu bumenyi bw’amateeka Ku bano 33 babadde ba china ate 2 bannansi ba Thailand nga babadde bapangisa kalina Entebbe bonna mwebabadde babeera. Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Benjamin Katana agambye nti bano emirimu gyabwe babadde bagiddukanyiza ku kompyuta nga kati bakunonyereza ku ngeri…

Read More

Mukome ku ba bodaboda- ssabaminisita

Ssabaminisita w’eggwanga Dr Ruhakana Rugunda asabye poliisi mu bwangu okukola ku ba bodaboda olw’obubenje obususse Kiddiridde okufa kw’omwana Jude Mukisa owa Buganda road primary eyafudde oluvanyuma boda kweyabadde okukoonwa owa kiroole n’afiirawo. Rugunda agambye nti aba boda basusse obusamaavu nga tebagoberera mateeka ga ku nguudo ate nga ne poliisi terina ky’ekola etunula Bw’abuuziddwa omubaka we Nyabushozi Fred Mugyenyi…

Read More

Abasomesa gubasse mu vvi

Abasomesa ababiri ab’essomero lya Acorn international school Bukoto basingisiddwa omusango gw’okulagajjalira omwana era gyebyakkira ng’agudde mu kidiba ekiwugirwaamu n’afa Omwana ayogerwaako wa myaka ebiri n’ekitundu Sunshine Baraza era nga yafa ku lunaku lwe olw’okuna ng’asoma Bino byagwaawo nga 3 omwezi gw’omwenda mu mwaka 2012 Omulamuzi wa kkooti ya Cityhall Moses Nabende  agambye nti abasomesa bano okuli Deborah Akado…

Read More