Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Agambibwa okuba omutujju alozze abamutulugunya

Okuwulira omusango oguvunaanibwa abagambibwa okutega bbomu ezatta abantu mu kibuga kukyagenda mu maaso Omusajja agambibwa okutegeka olukwe lwonna olw’atta abantu Issa Luyima alabiseeko mu kkooti neyegaana ebimu ku biri mu kiwandiiko kyeyasooka okukola ng’akkiriza okuzza emisango. Luyima ategeezezza kkooti nti yakakakib aafande gw’ayise Namara okukkiriza emisango nti era bweyali ku kitebe ky’ekitongole ekirwanyisa obutujju, bamusikayo olulimi nebatandika…

Read More

Poliisi yekiise mu Mbabazi

File Photo: Kaihura nga yogera Poliisi eyimirizza enteekateeka z’eyali ssabaminisita Amama Mbabazi okutuuka enkiiko ezebuuza ku bantu ku nteekateeka ze ez’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti Mbabazi teyalaze oba ayagala kwesimbawo ku lwa NRM oba ku lulwe Kaihura era akubye ebituli mu bbaluwa ya ssabawolereza wa gavumenti kko n’akakiiko akalondesa Ono agambye nti…

Read More

Abawagizi ba Mbabazi bayimbuddwa

  File Photo: Mbabazi ngali nabawagizi Libadde ssanyu gyerere ku kkooti e Masaka okuva eri abawagizi b’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amaama Mbabazi oluvanyuma lwabanaabwe 3 okuyimbulwa.   Moses Kasozi, 32, Charles Ssebadawo, 27,ne Charles Higiro, 37, baakwatibwa nga 8th June ku bigambibwa nti baali bagaba ebipande bya Mbabazi nga bakuba kampeyini nga obudde obugere tebunatuuka .   Abasatu bano baasindikibwa ku alimanda…

Read More

Asse mukwano gwe lwa shs 5000

File Photo: Sente za uganda Poliisi ye  Masaka eri ku muyiggo gw’omukazi agambibwa okusindikira munne  laddu n’emukuba n’emutta nga agenze  okumubanja 5000. Gertrude Nanyanzi omutuuze ku kyalo  Nakitokoro  mu gombolola ye  Bukakkata y’awenjezebwa ku bigambibwa nti y’asse munne Zaina Kantaro 23, lwa 5000. Poliisi egamba nti ebiriwo biraga nga  Kantaro bweyafiiridde mu maka ga  Nanyanzi gyeyabadde agenze okukima…

Read More

Mbabazi asooke ateese ne NRM – kakiiko akalondesa

  Enteekateeka z’eyali ssabaminisita w’eggwanga  Amama Mbabazi okutandika okwebuuza ku balonzi nga yetegekera okwesimbawo ku bwa pulezidenti kuli mu lusuubo. Akakiiko k’ebyokulonda kamusabye enteekateekaye agikwasaganye n’eyekibiina kye nga tanatandika kutalaaga ggwanga okwebuuza. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda  Eng Badru Kiggundu agamba baafunye ebbaluwa okuva eri ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM nga besamula enteekateeka za Mbabazi nge bwezitali za kibiina kyabwe. Mu bbaluwa…

Read More

Abayizi be Makerere basasulwa

    Ab’ettendekero ly’emakerere bakakasizza nga abayizi bonna ababanja ensimbi zabwe ez’okwegezaamu ezimanyiddwa nga Internship fees bwebagenda okuzifuna olwaleero nga terunaggwako. Wiiki ewedde ebikumin’ebikumi by’abayizi b’emakerere bekalakaasa lwakulwawo kubawa ssente zabwe. Omwogezi w’ettendekero lino  Ritah Namisango agamba basigazzaayo abayizi nga 100 bokka abalina obuzibu ku akawunti zaabwe wabula nga nabo babakolako basasulwe. Buli muyizi alina okufuna 380, 000

Read More

KCCA yegaanye obutasasula basomesa

  File Photo: Abasomesa bekalakasa Kampala Capital City Authority kyaddaaki evuddeyo ku byokulwawo okusasula omusaala gw’abasomesa n’etegeeza nga bbo bwebatalina buvunanayizibwa kusasula musaala gwonna wabula okwongera ku nsako y’abasomesa. Amyuka omwogezi wa KCCA  Robert Kalumba agamba emisaala gisasulibwa minisitule ekwatibwako. Kalumba agamba nti bbo aba KCCA buli nga 20 buli mwezi basindika ssewnte ku akawunti z’abasomesa bano nga era…

Read More

DP etuula lwa kutaano ku nkayaana mu kibiina

  File Photo : Mao ngali mulukumwana Kino kiddiridde ekiwayi kyabamamemba abamu nga bakulembeddwamu omubaka wa Bukoto East Florence Namayanja okutiisa okuzira ttabamiruka w’ekibiina okugyako nga emivuyo mu kulonda kw’e masaka gitunuliddwamu. Ssabawandiisi w’ekibiina kino  Matthias Nsubuga agamba baagala kugonjoola nsonga eno nga ttabamiruka tanatuuka. Olunaku olweggulo waliwo ekibinja kyabanakiina abaalumbye ekitebe ky’ekibiina enguumi n’enyooka nga era abamu baatonye…

Read More

BMK yewozezzaako ku kibba ttaka

File Photo : Omugagga Bmk Omusuubuzi mu kibuga Bulayimu Muwanga Kibirige awakanyizza ebigambibwa nti yanyaga ettaka eryaali ery’essomero lya Buganda road primary school. Ng’alabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku kibba ttaka mu kampala, BMK agambye nti ettaka eryogerwaako  ku kibanja namba 19 ku luguudo lwa Buganda road nga lijja okuva mu Kampala district land board kyokka nebamuwaamu ettaka…

Read More

Ebbugumu lyakatta 700 mu Pakistan

File Photo Omusajja yeyila amazzi Omuwendo gw’abantu abakaafa ebbugumu mu ggwanga lya Pakistan gutuuse ku 700. SSabaminisita wa Pakistan katia sabye amawanga gonna okusitukiramu babakwatizeeko kubanga embeera mu kitundu kye southern Sindh ebasusseeko Ekitongole ky’eggwanga lino ekikola ku bigwa bitalaze kitegeezezza nga bwekimaze okufuna ebiragiro bya katikkiro Nawaz Sharif okuddukirira abantu kyokka ng’omulimu munene Amaggye gassiddwa mu bitundu ebiwera…

Read More