Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Egy’abatujju tegigenze mu maaso

Okuwulira emisango egivunaanibwa abagambibwa okutega bbomu mu mwaka 2010 kugudde butaka nga kwakuddamu olunaku lw’enkya Kiddiridde ab’oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta omujulizi gwebabadde basuubira Munnamateeka wa gavumenti omukulu Susan Okalany ategeezezza omulamuzi agubadde mu mitambo Alfonse Owiny Dollo nti omulamuzi w’eddaala erisooka owa kkooti ya Buganda road Francis Kobusheshe abadde n’ebizibu n’atasobola kulabikako mu kkooti. Omulamuzi ono yeeyaliwo ng’omu…

Read More

Ebya TV za digito bituuse mu palamenti

File Photo : Palamenti ya Uganda Ensonga y’okujjako TV ezitali za digito ku mpewo etuuse mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Ensonga eno ereeteddwa omubaka wa kawempe mu bukiikakkono Latif Ssebaggala agambye nti afunye okwemulugunya okuva eri abantu be nti tebakyalaba bigenda mu maaso mu ggwanga. Omubaka ono agambye nti era abantu abamu balowooza nti kyakolebwa ku lunaku eyali ssabaminisita…

Read More

Aba USAFi bakaaba lwakukwata bakulembeze baabwe

File Photo: Akataale Abasubuuzi b’omu katale ka Usafi abeegattiira mu kibiina kyabwe ekya Usafi Vendors association bavumiridde ekikolwa kye Kitongole kya KCCA ky’okusiba abakulembeze baabwe ku nsonga zebayise ezekijweteke. Banno nga bakulembeddwamu ow’ebyokwerinda mu Katale kano Sulaiman Male balumirizza abakozi ba KCCA okuleeta bu Kiosk mu Katale kyokka nga akatale ka midaala. Abasibiddwa kuliko Ssentebe Joseph Kagolo n’omwogezi…

Read More

Abaayira omusuubuzi asidi bakkirizza- bba yeeyatutuma

File Photo: Gashumba no no mukyala eyayilwa acid Abasajja abaayira omusuubuzi asidi n’afa bakkirizza emisango era nebasalirwa emyaka 25 mu kkomera. Ivan Namanya ne Farouq Walusimbi bakkirizza nga bwebatta Josephine Namanda  bwebabadde mu maaso g’omulamuzi Elizabeth Nahamya. Ababiri bano wabula bagambye nti baatumwa bba w’omugenzi Kassim Kakaire yadde nga yye omulamuzi bw’amubuuzizza emisango agyegaanye. Abasajja…

Read More

Omusawo omufere ayimbuddwa

Omulamuzi omukulu mu kkooti e Soroti ayimbudde omusawo w’ekikwangala eyakuba omukyala empiso y’omusujja n’asanyalala. Justine Elangot alagiddwa okusasula emitwaoa 50 egy’obuliwo ate abamweyimiridde nebalagirwa okusasula obukadde butaano ebitali za buliwo Elangot abadde mu kkomera e Soroti nga yakwatibwa omwezi oguwedde oluvanyuma lw’okukuba Janet Aiano empiso nakati gy’alojja Omukyala ono empiso gyebaamukuba yasanyalaza ebinywa byonna mu mukono gwe era…

Read More

Obujiini obutippa abakyala bwabulabe

Abasawo bakizudde nti obujiini butippa abakyala  busiba ebinywa, n’emisuwa nebuvaako omuntu okusanyalalira ddala. Mu ggwanga lya Bungereza, waliwo omukyala amaze okukituukako ng’ono akapale kamusaliddwaako busalwa olw’ebinywa ebibadde byesibye Omukyala ono okukituukako abadde amaze akabanga ng’asitamye okulongoosa enju ye mu ggwanga lya Australia. Omukyala ono agambye okuddamu okusituka nga takyasobola era akapale bakamusazeeko busazi Ono bwebamwekebezze , kizuuliddwa nti akapale…

Read More

Kujjukira abaafira mu Japan

File Photo: Abajjasi ba Japan   Mu ggwanga lya Japan  abaayo bali mu kujjukira  nga bwegiweze emyaka 70 bukyanga lutalo lwa Okinawa luggwa omwafiira emitwalo n’emitwalo gy’abantu. Enkumi n’enkumi z’abakungubazai bakunganidde ku kijjukizo mu kibuga kye Itoman nga wano abasinga webattibwa. Katikiro w’eggwanga lino  Shinzo Abe naye talutumidde mwana. Abajaasi b’eggwanga lya Japan abali eyo mu 80.000 bafiira mu lutalo…

Read More

Abalimi ba taaba baddukidde mu palamenti

  File Photo: Omukazi akutte taaba   Abalimi ba taaba okuva  Bugangaizi mu disitulikiti ye Kibale bakwanze omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga  ekiwandiiko nga bemulugunya ku kulwawo okusasulwa. Abalimi bano wansi w’ekibiina kyabwe ekya  Kakumiro farmers Association balumiriza kampuni ya continental tobacco Uganda Ltd okubakandaliriza okubasasula nga bajiwadde taaba waabwe nga tebafunanga yadde ennusu okuva mu mwezi  gwa August omwaka oguwedde. Nga…

Read More

Omwana ataafuna ddagala agenze mu kkooti

  File Photo: Abasawo mu dwaliro lye Entebbe Waliwo omuwala ow’emyaka 8 akubye eddwaliro lya Entebbe mu kkooti lwakulemererwa kumuwa ddagala lijanjaba obulwadde obuva kukulumwa embwa Manuela Azoyo nga ayita mu kibiina ekirafubanira abantu okufuna eby’obulamu obweyagaza ekya center for Health Human Rights and Development agamba nti teyaweebwa bujanjabi ng’alumiddwa embwa kubanga yali talina mitwalo abiri mwetaano. Okusinziira ku …

Read More