File Photo : Palamenti ya Uganda
Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku kibba ttaka lya masomero mu kibuga Kampala kayise bukubirire bannyini wooteri ezimbibwa awaali essomero kya Shimoni
Akulira akakiiko kano Robert Migadde Ndugwa agamba nti wooteri eno emanyiddwa nga Kingdom Hotel ey’omulangira we Saudi Alwaleed Bin Talal abagiddukanya balina okunyonyola engeri gyebaafunamu ettaka lino
Ndugwa agamba nti batandise…
File Photo:Kajula nga ayogera
Minisitule ekola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti egamba nti ssiyakuttira Muntu yenna ku liiso ayagala okwegatta ku bannabyabufuzi ate n’alemera mu kifo ky’alimu
Etteeka ku bakozi ba gavumenti likirambika bulungi nti okuleka ba RDC abalondebwa pulezidenti,abasigaddem balina okulekulira emirimu gyaabwe emyezi mukaaga nga tebannewandiisa kwegatta ku byabufuzi
Atwala abakozi ba gavumenti Alex Mitala agamba…
Akakiiko k’ebyekikugu kakutuula olunaku lw’enkya okwetegekera omupiira gw’okuddingana wakati wa Uganda Cranes ey’abazanyira ewaka ne Tanzania.
File Photo: Uganda craines team
Uganda yakubye Tanzania goolo 3 ku bwereere mu mupiira ogwazannyiddwa ku lw’omukaaga ekiro
Omutendesi wa tiimu MIcho agamba nti tewali budde bwakutuula nga bakutandikirawo okwetegeka
Bano bakuzannya ogw’okuddingana nga nya omwezi ogujja
File Photo: enyoonyi ya Qater
Ng’abantu basimbula okutandika olugendo basooka kwekebera kulaba oba balina buli kyebetaaga
Kakati omugoba w’enyonyi abadde yakasimbula n’alengera omuntu alina amagulu ana, kati enyonyi egikube ekigwo bw’atandise okukankana
Wakati mu kwetegereza Muntu kika ki ono, bakizudde nti kkapa ebadde yalinnye enyonyi
Waliwo omusajja eyeyambudde engoye neyeyiira amata olwo n’ayita mu supamaketi ekikumi nga yenna ajjolobadde
Ono adduse awogganira waggulu nti omuliro gukutte.
Akatambi kano akatwatiddwa mu Bungereza nga kalaga omusajja ono mu kikolwa katunda nga keeki eyokya ku yintaneeti
Ebyobulamu bikyalumira nga waliwo ebitundu ebirina omuzaalisa omu yekka
Ekimu ku bino lye gombolola ye Kaliita esangibwa mu disitulikiti ye Amudat mu Karamoja ng’eno , waliwo omukyala omu azaalisa ku ddwaliro lya Karita health centre III.
Eddwaliro lino likola ku bantu abawerera ddala 8,257 nga ku bano 60 bakyala abazaala buli mwezi.
Omukyala ono amanyiddwa nga Paulina Chepkumun…
Abayisiraamu basabiddwa okutwala okusaala Tarawuya ng’ekikulu
Abayisiraamu bangi olumala okusiibulukuka nga kiwedde era bangi nga beebaka
Imam w’omuzikiti gwa kampala mukadde Sheikh Imran Ssali agamba nti tarawuya erimu ebyengera bingi era abantu tebasaanye kugisubwa.
Anyonyodde nti yadde okusaala kuno kutera okubeera mu mizikiti, omuntu yenna asobola okusaalira ewaka
Tarawuya esaalibwa ng’okusaala Isha kuwedde era nga ya laaka 11.
Poliisi mu disitulikiti ye Dokolo eriko omukyala gw’ekutte, ng’ono emulanga kuwutula mwami we n’amutta
Omukwate ategerekese nga Agnes Awor omutuuze we Abanyo, nga ono yakkakkanye ku bba Davis Ogwal n’amutta era olwamaze n’amuwanika ku mulabba okulowoozesa abantu nti yabadde yeetuze
Ayogerera poliisi mu Uganda Fred Enanga atubuulide nti oluvanyuma lw’okwekengera enfa y’omusajja ono omukyala bamukutte, era nga…
Tewali bwetaavu bwakukyusa bukulembeze mu kibiina kya NRM.
Atwala abavubuka mu kibiina kino Denis Namara agamba nti okukyuusa okuva ku pulezidenti Museveni okudda ku Mbabazi tekikola makulu kubanga bonna bakadde nga n’eneeyisa yeemu
Namara ategeezezza nmga bwemaze okuwandiikira akakiiko akakwasisa empisa okunonyereza ku neeyisa ya Mbabazi ennaku zino ng’atuuse n’okukuta n’abavuganya.
Alabudde abavubuka okwewala okukozesebwa abeenonyeza ebyaabwe mbu…
Abatujju balabudde nga bwebagenda okulumba Uganda mu biseera bino eby’ekisiibo.
Kiddiridde abatujju ba Alshabaab okulumba Somalia nga nate nga kati Uganda erabye teyeteekere n’enyweeza eby’okwerinda ku mizikiti n’ebitundu ebirala.
Aba Alshabaab bano era bayisizza ekiragiro nga balabula ne Kenya kko ne Somalia nti bakubaddamu
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti bafunye amawulire nti mu butuufu…