Munansi w’eggwanga lya Bungereza eyattidwa mu bulumbaganyi obwakoleddwa mu ggwanga lya Kenya, kizuuliddwa nti abadde namba 2, mu bakulira ekimu ki bibinja bya banalukalala na Al –shabab mu ggwanga lya Somalia.
Thomas Evans, 25, okuva Buckinghamshire yattiddwa mu bulumbaganyi obwakolebwa nga 14 omwezi guno omwafiira n’abasirkale ba KENYA 2.
Mu bulumbaganyi buno banalukalala 11 beebattibwa nga bagezzako…
Minisitule y’ebyenjigiriza ewereddwa amagezi okwongera amaanyi mu kitongole ekirambula amasomero.
Mu kiseera kino minisitule eteeka ensimbi obuwumbi obusoba 2 mu kulambula amasomero kyoka abamu bagamba nti ensimbi zino ntono nyo.
Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya Uganda National Teachers Union James Tweheyo agambye nti olw’ensimbi entono ministry z’eteeka mu kulambula amasomero, district ezimu ezirina amasomero agakola obubi, tezifuna…
Gavumenti yenyamidde olw’omuwendo gw’ababundabunda ogweyongera buli lunaku
Kamisona atwala ensonga z’ababundabunda muu ofiisi ya ssabaminista David Kazungu agambye nti abasinga ku bano bava mu ggwanga lya South Sudan ne Democratic Republic eya Congo.
Kazungu agambye nti South Sudan wokka abantu 170,000 beebali mu Uganda n’asaba abagabirizi b’obuyambi okukwasizaako Uganda mu kulabirira abantu bano
Bino bizze nga Uganda yegatta…
Waliwo abawagizi ba NRM okuva mu bitundu bye Bukedi abasanyalazze emirimu mu kibuga kye Tororo nga bagenda mu maaso n’okwekalakaasa
Bano babadde bavumirira eky’eyali ssabaminista Amama Mbabazi okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Bano ababadde bambadde emijoozi gya kyenvu nga baduumira amyuka akulira NRM abakyala Phibby Otaala bagambye nti Mbabazi tasaana kukulembera ggwanga nga pulezidenti Museveni y’alina okwesimbawo ate…
Ekitebe ekikulu ky’obukatoliki mu kibuga Vatican mu ggwanga lya Italy kikakasizza nga Papa Francis bw’agenda okukyala mu Uganda ne Central African Republic wakati wa 27- 29 omwezi gw’ekkumi n’ogumu.
Kino kizze nga wakayita wiiki emu bukya Papa akakasa nga bw’agenda okukyala wano mu Uganda bweyali mu lukungaana ly’abasumba okwetoloola ensi yona, olw’omulundi ogw’okusatu.
Pope Francis ajja okujaguza…
y’abakyala ababiri abakubiddwa mu kwegugunga kw’abasuubuzi ba Energy centre yeeralikiriza.
Abakoseddwa kuliko Carol Nagawa omutuuze we Kitintale Zone 1 nga ono yakubidwa essasi ly’ekipiira mu kugulu, ate yye Yudaya Nabulime nga mutunzi wa airtime wansi w’ekizimbe yajjiddwaamu eriiso nga asiiba mu maziga olw’okufuna obulemu nga teyenyigidde mu buvuyo.
Twogedeko n’aboluganda lw’abantu bano nga basaba bafune obujanjabi okuva…
Kkooti e Masaka ekkirizza abawagizi b’eyali ssabaminista Amama Mbabazi Masaka okweyimirirwa
Omulamuzi w’eddaala erisooka Ann Komuhangi agambye nti abasatu bano baakubye olukungaana olumenya amateeka
Abavunaanibwa kuliko Moses Kasozi, Charles Ssebadawo ne Charles Higiro nga bonna batuuze mu Nyendo,
Bano ogubavunaanibwa kutimba bifananyi bya Mbabazi omusnago gwebegaanye
Balagiddwa okusasula emitwalo 25 buli omu ate ababaeyimiridde nebalagirwa okuwa obukadde 2 ezitali…
Eyali akulira ekitongole kya gavumenti ekikessi Gen David Sejusa kyaddaaki ayimbuddwa
Sejusa akwatiddwa enkya ya leero bw’abadde awuubira ku bagoba ba bodaboda ababadde bamwetolodde era n’atwalibwa ku poliisi y’oku luguudo oludda e Jjinja.
Ono akwatiddwa okumala essaawa nya n’oluvanyuma nebamuyimbula oluvanyuma lw’okukola sitatimenti
Omuduumizi wa poliisi mu kampala n’emiraano Haruna Isabirye agamba nti ono bamulabudde…
Ssabawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi agamba eyali ssabaminisita Amama Mbabazi waddembe okwebuuza ku bantu kubanga ssemateeka akikkiriza Kino kizze mga Mbabazi yakafulumya enteekateeka ze ez’okutambula eggwanga lyonna nga yebuuza ku bantu ku nteekateeka ye ey’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Ono era yawandiikidde n’akakiiko akalondesa kko ne poliisi ku nteekateeka ze Wabula Ruhindi agamba nti Mbabazi alina…
Waliwo ekibinja kya bannamateeka ekisabye poliisi okwewala okukwata abantu abatalina musango.
Bano babadde baanukula ku kukwatibwa kw’abawagizi ba Amama Mbabazi.
Omu ku bannamateeka bano Severino Twinobusingye agamba nti poliisi esaanye okusooka okwetegereza amateeka nga tennakwata bantu
Ono agamba nti abakwatiddwa tebalina musango gwebazizza era tewali nsonga lwaki abakwatiddwa
Wabula yyo poliisi egamba nti abakwatibwa baali bamenye amateeka agakwata ku…