Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Aba Tullow Bagonze ku misolo

Kampuni ensimi y’amafuta eya Tullow Oil Group epondoose n’ekkiriza okusasula ssente zonna ezamagoba ku migabo gyabaguza kampuni ya CNOOC mu 2012. Aba Tullow Oil bajja kuno okusima amafuta wabula oluvanyuma amigabo gyabwe nebagiguza ana CNOOC ab’ekitongole ekiwooza ky’omusolo kuno nebasaba obukakadde bwa ddoola 473 ku magoba gano aba Tullow kyebawakanya nebaddukira mu kkooti. Bano baawakanya okuwozesebwa mu…

Read More

Amannya g’ababazi b’ebitabo agamu mafu

Ab’ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya  Anti-corruption Coalition Uganda baagala olukalala lw’ababazi b’ebitabo olwawereddwayo gavumenti eri palamenti okukakasibwa lusazibwemu. Nga ayogerako ne bannamawulire amakya galeero, akulira ekibiina kino Cissy Kagaba ategezezza nga olukalala luno bwekuliko amanya g’ababazi b’ebitabo abanokolwayo ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti nti betaba mu kubulankanya ensimbi. Okusinziira ku tteeka erikwata ku ngeri ssente gyazirina okukwatibwamu mu…

Read More

Poliisi erabudde Amama Mbabazi- olina okusaba olukusa

Poliisi egamba nti eyali ssabaminisita Amama Mbabazi alina okusooka okusaba olukusa okuva eri abakulembeze b'ebitundu gy'agenda okwebuuza ku baayo ku by'okwesimbawo ku bukulembeze bw'eggwanga Kiddiridde Mbabazi okuwandiikira akakiiko akalondesa ng'abategeeza nti amateeka gamuwa ebbeetu okwebuuza ku bantu nga tannaba kuwandiisibwa era nga kino wakutandika okukikola nga 9 omwezi ogujja ng'asookera e Mbale, Soroti ne Moroto Wabula omwogezi…

Read More

Waragi ayokeddwa

Waliwo liita za waragi eziri eyo mu 1300 bangi gwebakazaako erya  Dete mu disitulikiti ya Agago gwebakumyeko omuliro. Waragi ayiisibwa abatuuze n'owomubuveera yawerebwa mu kitundu kino kubanga wabulabe. Waragi ono akwatiddwa mu katawuni ke Patongo nga era omubaka wa pulezidenti mu kitundu kino  Charles Ray Okwir agamba bakoze kino okuteeka mu nkola eyasalibwawo olukiiko lwa disitulikiti okuwera…

Read More

Teri ffujjo mu kulonda- Minisita

Minisita w’ensonga z’omunda w’eggwanga alabudde abantu bonna okwewala effujjo nga twetegekera okulonda kwa 2016. General Aronda Nyakayirima okulabula kuno akuwadde atongoza okugaba endaga Muntu mu disitulikiti ye Masaka. Gen. Nyakayirima agamba nga okulonda kubulako emyezi mibale okutuuka, ebitongole ebikuuma ddembe  biri bulindaala okwanganga omukozi w’effujjo yenna. Minisita w’ebyobulambuzi Maria Mutagamba nga y’akiikiridde omugenyi omukulu omumyumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward…

Read More

Musasule abafiirwa mu kittabantu

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Museveni ayagala eggwanga lya Rwanda liyirire bannayuganda bonna abafiirwa ebyaabwe mu lutalo olwaleeta gavumenti y’eggwanga lino mu buyinza wakati wa 1990-1994. Bweyabadde aggulawo ekkolero ly’enanansi wali mu  gombolola ye Maziba mu disitulikiti ye Kabale , pulezidenti Museveni yategezezza nga Rwanda ensonga eno bw’ebadde egitunulira ekyamuli sso nga kyetaagisa. Museveni yasuubizza okujjukiza omukulembeze w’eggwanga lya…

Read More

Gavumenti yewozezzaako ku misaala gy’abasomesa

Minisitule y’ebyenjigiriza etadde abakulira ebyenjigiriza ku zi disitulikiti ku ninga banyonyole lwaki abamu ku basomesa tebannafuna musaala gwaabwe ogw’omwezi oguwedde. Kino kigyidde mu kiseera nga abamu ku basomesa mu disitulikiti ye Iganga, Arua ne Kampala tebannafuna musaala guno. Minisita omubezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako John Chrysostom Muyingo agamba minisitule y’ebyenjigiriza y’aweereza dda emisaala gino kale ng'abakulira ebyenjigiriza bano balina…

Read More

Enkalala zekenenyezebwa

Akakiiko k’ebyokulonda kakyagenda mu maaso n’okwekenenenya enkalala z’abalonzi okukakasa ebyo byonna ebyaweebwayo abalonzi. Akakiiko kano omwezi oguwedde kaamaliriza okuwandiisa bannayuganda nga twetegekera okulonda kwa 2016 omwezi oguwedde. Omwogezi w’akakiiko kano  Jotham Taremwa agamba enkalala zino zakumaliriziba akadde konna basobola okutandika okuzitimba kwebasuubira okutandika nga 22 July 2015. Ku zino kwekugenda okusinziirwa okulonda abakulembeze mu mwaka ogujja  

Read More

Abasuubuzi bakyatubiridde e Congo

Enkaayana z’ettaka ku nsalo eyawula Uganda ne Congo zikyagenda mu maaso oluvanyuma lw’enjuuyi zombi okulemererwa okukkanya ku ani nanyini ttaka omutuufu. Ekitundu kye Vura  mu disitulikiti ye  Arua kyaggalwa oluvanyuma lwa Congo okweyongeza ettaka lya Uganda eriwezaako mita 300 okuva ku nsalo yaabwe . Abakungu okuva mu gavumenti ya Congo beekwasa nti bbo wano baagala kuzimbawo kibangirizi…

Read More

Ebbugumu erisusse lisse abantu

Abantu abasoba mu 120 bafudde mu ggwanga lya Pakisatan mu ssaza lye Sindh olw’ebbugumu erisusse. Ab’ebyobulamu bagamba nti okusinga bafudde mu bitundu bye Karachi nga eno akasana kali pereketya nga era abasinga kati basigala mu mayumba gaabwe okwewala ekibambulira. Mu bitundu ebisinga amasanyalaze matono ddala olw’abantu okugayayanira okukozesa ebyuuma ebireeta ku mpewo. Abasinze okufa bebannamukadde.

Read More