Gavumenti ate yefuludde ku bintu by’akaveera n’eddamu okukawera
Minisita akola ku by’amawulire Jim Muhwezi agambye nti tenaba kuzzaawo kaveera
Muhwezi agamba nti bakimanyi nti akaveera ka bulabe kale nga tebasobola kukakkiriza
Ono asabye ekitongole ekikola ku by’obutonde bw’ensi ekya NEMA okugenda mu maaso n’okukwata abakozesa obuveera.
Waliwo ekibinja kya bannakibiina kya FDC abatandise okuperereza eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye okukwata bendera y’ekibiina kino mu mwaka 2016
Besigye ayalekulira emirimu gy’ekibiina mu mwaka 2012 enfunda eziwera azze ng’ategeeza nga bw’atajja kwesimbawo okutuuka ng’amateeka g’ebyokulonda gatereezeddwa
Banna FDC bano bakulembeddwamu Robert Mayanja ne Jethro Nuwagaba nga bagamba nti Besigye y’asobola okuyuuya pulezidenti…
Eyali omukwanaganya w’ebitongole ebikessi mu ggwanga Gen David Ssejjusa akwatiddwa.
Ono akwatiddwa okuva ku luguudo lwa Kampala road, oluvanyuma lw’okuva mu motooka ye natandiika okuwubira ku bantu, era natwalibwa ku poliisi ya Jinja road.
Ssejusa akyagenda mu maaso n’okukola statement ku poliisi ya Jinja road era ebisingawo tujja kubifina mu mawulire agaddako.
Waliwo ekibinja ky’abavubuka b’ekibiina kya NRM abeeyita ba kaada 2014 abawandiikidde pulezidenti Museveni ekiwandiiko ku neyisa y’eyali ssabaminisita we Amama Mbabazi. Bano baagala agobwe mu kibiina Abavubuka bano ekiwandiiko kino bakikwanze minisita w’abavubuka Everlyn Anite nga balumiriza Mbabazi okukuba kampeyini ng'obudde obwatekeebwawo akakiiko k’ebyokulonda tebunatuuka. Abavubuka bano era balumiriza Mbabazi okukozesa akabonero ka ngaali kebagamba…
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi awandiikidde akakiiko k’ebyokulonda mu butongole n’abeyanjulira nga bw’agenda okwesimbawo ku bwapulezidenti omwaka ogujja. Mbabazi yesigamye ku kawayiro namba 3 mu ssemateeka w’eggwanga akawa omuntu agenda okwesimbawo eddembe okutegeeza akakiiko kano ku nteekatekaze z’okwesimbawo. Agamba wakwebuuza ku balonzi okwetolola eggwanga lyonna nga bweyetegekera okusunsulwa. Wakutandikira Mbale nga 9 July agende e…
Eby'ekibiina kya NRM e Mubende byongedde okwonooneka abavubuka mu kibiina kino bwebasse omukago n’aba DP okuwagira eyali ssabaminister John Patrick Amama Mbabazi alabise ng’eyavudde mu eyali mukamawe YKM7 n’alangirira okumwesimbako.
Abavubuka bano nti bakooye ettuulawamu emirimu gyabula dda ebiwandiiko byabwe babitambuzza naye mpaawo webayinza kuggya mirimu gyafuuka dda akalimu.
Bakkaanyizza nti beetegefu okwaniriza Mbabazi ssinga anaaba atuuse…
Bbo abasuubuzi ku bizimbe bya city centre ne Energy Centre bavudde mu mbeera nebekalakaasa nga bawakanya okwongezebwa ensimbi z’amasanyalaze.
Bano bagadde amaduuka gaabwe nga bagamba nekabuyonjo zebalina ku kizimbe tezimala.
Yo poliisi kati eri mu kulawuna ebizimbe byonna okulaba nga abasuubuzi bano tebakola ffujjo lyonna.
Aduumira poliisi ya CPS Godffrey Musana agamba kati bategese olukiiko okutema empenda butya…
Olunaku olwaleero lwelunaku olusoose mu mwezi omutukuvu ogwa Ramadan ogw’ekisiibo eri abayisiraamu.
Obukadde n’obukadde bw’abakkiriza okwetoolola ensi yonna lwebatandise okusiiba okuva e mambya lw'esala okutuusa enjuba bw’egwa nga bagoberera enkola ya nabbi Muhammad.
Akulira abatabuliki wali ku clock Tower Sheikh Sulaiman Kakeeto wabula alabula abayisiramu obutalekaayo kulya na kunywa kwokka wabula n’empisa envundu zonna bazireke.
Seeka era alabudde…
Okuwulira omusango gw’abagambibwa okutega bbomu ezatta abantu mu kibuga kampala kuyimiriziddwa okumala akabanga oluvanyuma lw’omujulizi abadde mu kaguli okufuna embiro n’okutandika okulumwa omutwe
Idris Nsubuga nga mujulizi wa kubiri abadde asoyezebwa bibuuzo ab’oludda oluwolereza abatujju Caleb Alaka ekiwalirizza omulamuzi omusango okugwongezaayo okutuuka olunaku lw’enkya
Omulamuzi Alfonse Owiny Dollo ayongezezzaayo omusango okusobozesa omujulizi ono okufuna obujjanjabi akomezebweewo mu…
Ebipya byongedde okuzuuka ku nsonga z’eyali ssabaminista w’eggwanga Amama Mbabazi okwesimbawo ku bukulembeze w’eggwanga
Amawulire getufuna galaga nti Mbabazi yasooka kuwandiikira pulezidenti Museveni ng’amusaba ave ku ntebe mu mirembe
Mu bbaluwa eno eyawandiikibwa nga 13 omwezi guno, Mbabazi mweyayita okutegeeza Museveni nti bingi ebikoleddwa wansi wa gavumenti ye kyokka nga kati olugero olwo luweddeko.
Mbabazi agamba nti keekadde…