Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Basatu bakwatiddwa lwa Mbabazi

Abantu 3 bakwatiddwa ku byekuusa ku kutimba ebipande okuli ebifananyi  bw’eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi . 2 bakwatiddwa wano mu Kampala sso nga omulala ategerekese nga Robert Kabagambe ’akwatiddwa e Kabale. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga era  ategezezza nga bwebaliko emmotoka gyebakutte nga ekubyeko ebipande bya Mbabazi. Enanga agamba baasindise dda basajja baabwe okutimbululayo…

Read More

Mbabazi okwesimbawo amala kwewandiisa- Ssabawandiisi

Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Justine Lumumba Kasule ategezezza nga Mbabazi bw’alina okusoka okwewandiisa nga tannetaba mu kamyufu ka kibiina. Nga ayogerera ku NTV amakya galeero,  Kasule ategezezza nga Mbabazi bw’ali ow’eddembe okuvuganya ku kifo kyonna mu kibiina kasita asooka okwewandiisa nga munnakibiina. Lumumba agamba ekibiina kibadde kilongoosa enkalala zaakyo kale nga era enkalala zino zezijja okugobererwa singa…

Read More

Besigye ayaanirizza Mbabazi

Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC  Dr. Kiiza Besigye  ayanirizza Mbabazi mu lwokaano lw’okwesimbawo ku bwa pulezidenti. Besigye ategezezza nga buli Muntu yenna avaayo ng’ayagala enkyukakyuka bw’asaana okuwagirwa. Ono ajjukizza abantu ebiwandiike mu baibuli, abamu ku basinga okusooka okulumba yesu ate bwebakyuuka nebatandika okubuulira enjiri kale nga Besigye agamba nti ne Mbabazi agambye nti asobola okukyuuka Azzeemu okujjukiza abantu…

Read More

Shaka ayimbuddwa

Kyaddaaki kkooti ekkirizza  Robert Shaka okweyimirirwa oluvanyuma lw’ebbanga ku alimanda e Luzira ku musango gy’okuwandiika ebivvoola omukulembeze w’eggwanga ku mutimbagano gwa yintaneti. Shaka alagiddwa asasule obukadde 2 ezabuliwo sso nga abamweyimiridde buli omu abadde wa bukadde 5 ezitali zabuliwo. Wakudda mu kkooti nga  30th June okutandika okuwulira omusango gwe. Oludda oluwaabi lulumiriza nti wakati wa 2011 ne  2015,…

Read More

Mwetegereze omwezi- ekisiibo kijja

Abayisiraamu basabiddwa okutunula enkaliriza ku mwezi ogusuubirwa okuboneka wiiki eno nga akabonero k’entandikwa y’ekisiibo ky’omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan. Akulira amateeka ga sharia ku kitebe ky’obuyisiramu ekya  Uganda Muslim Supreme Council Sheikh Yahaya Ibrahim Kakungulu agamba okusinga abakkiriza basaanye  kutunula nyo nkaliriza mu kiro ky’olunaku olwokubiri. Singa omwezi tegulabika ku lwokubiri okusiiba olwo kwakutandika ku lunaku lwokuna.

Read More

Aba FDC balayizibwa leero

Abakulembeze b’ekibiina kya FDC abajja  basuubirwa okulayizibwa olwaleero ku kitebe ky’ekibiina wali e Najjanankumbi. Bano baalondeddwa wiiki ewedde ku bifo ebyenjawulo. Nandala Mafabi  ye ssabwandiisi w’ekibiina omuggya, Ambasada  Wasswa  Biriggwa ye ssentebe mu ggwanga lyonna , Ingrid Turinawe  wakukunga bannakibiina, Ibrahim semujju Nganda ye mwogezi , Alice Alaso y’amyuka ssentebe w’ekibiina mu buvanjuba bw’eggwanga n’abalala.

Read More

Mbabazi alangiridde okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga

Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama  Amama Mbabazi alangiridde nga bw’agenda okwesimbawo ku bwapulezidenti  avuganye n’eyali mukamawe pulezidenti Museveni omwaka ogujja. Mu bubaka ku mukutu gwA  youtube, Mbabazi  asabye bannayuganda bonna okuli n’abekibiina kya NRM okumuwagira asiggukulule Museveni. Mbabazi anokoddeyo ebintun 8 by’agenda okuteeka enyo essira okuli okutumbla enkulakulana eyomuggundu, okutonderawo bannayuganda emirimu okulwanyisa obuli bw’enguzi n’ebirala. Agamba…

Read More

Mafaabi ayeze obululu okufuuka ssabawandiisi

Omubaka wa Budaadiri  mu bugwanjuba  Nathan Nandala Mafabi kati ye Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC omuggya. Mafaabi yalondeddwa mu kiro ekikeezesa olunaku lwalero era ng'afunye obululu 809 ate Kasiano Wandri n'afuna obululu 161 olwo  Nabilah Nagayi Ssempala eyawanduse mu lwokaano n'afunye obululu 9. Wasswa Biriggwa kati ye Ssentebe w’ekibiina kya FDC oluvanyuma lw’okufuna obululu  434  ate ye Bwanika Bbaale…

Read More

Paapa ajja mu November

Ekelezia Katolika mu ggwanga egambye nti tenafuna kiwandiiko kitongole okuva e Vatican newankubadde ng’emukutu gy’amawulire egyenjawulo  gikakasiza okukyala kwa Paapa mu Uganda ne Central African Republic. Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga agambye nti newankubadde amawulire ga ssanyu naye ekelezia teyinza kumala gagafulumya nga tenafuna lukusa okuva e Vatican. Lwanga agambye nti bwebanafuna ekiwandiiko…

Read More

Pulezidenti Museveni atabuse ku Whatsup

Pulezidenti Museveni kyaddaaki avuddemu omwaasi ku ky’ayita okukozesa obubi emikutu gya yintaneti. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa akawungeezi ka leero, pulezidenti alayidde okufafaagana n’abo abakyatambuza obulimba naddala nga bakozesa omukutu gwa Whatsup. Ono asonze ku bbaluwa ebadde etambulira ku mukutu gwa Whatsup ng’eraga nti ono aliko ebbaluwa gyeyawandiikira eyali omukulembeze w’eggwanga lya Libya Muammar Gaddaffi mu mwaka 2010 kyokka…

Read More