Poliisi e Misiri egamba nti esobodde okulemesa bbomu ebadde etegeddwa mu bimu ku bifo by’obulambuzi mu ggwanga lino.
Abasajja basatu ababadde besibye bbomu babadde batuuse ku mulyango kyokka nebabazuula mangu
Poliisi bano egezezzaako okubasemberera era omu ku bbo n’akasuka ekisibi kya bbomu ky’abadde yesibye , ow’okubiri nebamukuba amasasi agamusse ate ow’okusatu asobodde okudduka n’ebiwundu
Abantu ba bulijjo babiri…
Eyali akulira oludda oluvuganya mu palamenti Nandala Mafabi asiimuddewo olugambo nti alina olutalo ku mukulembeze w’ekibiina mw’ava Maj Gen Mugisha Muntu
Mafaabi ayagala obwa ssabawandiisi w’ekibiina agamba nti okusuulawo emirimu gye kibiina tekaali kakodyo ka kulengezza bukulembeze bwa Muntu nga bangi bwebabyogera
Mafaabi agamba nti ayagala ekifo kino okusobola okunyweeza ekibiina kubanga alina obukugu mu kukunga abantu…
Ebibiina ebivuganya gavumenti byekozeemu omukago byegutuumye Democratic alliance nga guno ekigendererwa kyakutwala buyinza mu mwaka 2016.
Bano era bakaanyizza okutondawo akakiiko akeetongodde kalonde omuntu omu agenda okuvuganya ku bwa pulezidenti mu mwaka 2016 ne ku mitendera gyonna
Okusinziira ku kiwandiiko kyebagenda bonna okusaako emikono, bano baakukola gavumenti ey’ekaseera egenda okukola emyaka 5 gyokka , n’oluvanyuma okulonda okw’amazima…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni atongozeza ekijukiro ekirala eky’abazira mu gombolola ye Ddwaniro esangibwa mu disitulikiti ye Kiboga.
Museveni olumaliriza bino n’ayolekera ku somero lya Katwe primary school emikolo emikulu gyegiri.
Mu kaseera kano okugaba emidaali kugenda mu maaso era nga kukulembeddwamu Ssentebe w’akakiiko akagaba emidaali Gen Elly Tumwine.
Mu bawereddwa emidaali mwemuli n’omubaka we…
Waliwo munnakibiina kya NRM okuva mu disitulikiti ye Lwengo eyesimbye mu yali omubaka wa Bukoto mu bukiikaddyo,Haji Muyanja Mbabali ng’ayagala agaanibwe okwesimbawo kubanga talina buyigirize bumala
Kinajjukirwa nti ne mu mwaka gwa 2011, Mbabali yagaanibwa okwesimbawo lwabutaba na bisanyizo byebimu.
Ng’ayita mu bannamateeka be aba Ssewankambo and Company advocates, Posiano Matovo agambye nti amaze okuwandikira abakulira yunivasite…
Ng’eddwaliro lye Mulago ligenda mu maaso n’okuddabirizibwa, kati ekizibu ekipya kya bbula lya mazzi.
Abalwadde betyogeddeko nabo bagamba nti tebasobola na kugenda mu kabuyonjo kubanga teri mazzi.
Abasinze okukosebwa baana n’abakyala era nga bagala gavumenti wamu n’abakulira eddwaliro
Ssentebe we gombolola ye Kiyuni e Mubende Paul Sserumaga Bazzadde alabudde abazadde abeesulideyo ogwanagamba mu kugemesa abaana ekiviirako abamu ku baana bano okufuna obulemu nga bakyali bano.
Sserumaga ategezeezza ng’abamu ku bazadde bwebatafaayo kugemesa baana baabwe omuli endwadde nga Polio, olukusense,n’endwadde endala ez’obulabe ezirumbagana abaana ekizze kivirako abamu ku baana okufa nga bakyali bato nga nabaamu…
Minisitule y’ebyobulamu etandise kawefube w’okulongoosa ebyobulamu ku mutendera gw’amaka
Minisita akola ku byobulamu Dr.Elioda Tumwesigye agamba nti bakizudde nti amaka mangi geegasinga okweleetera endwadde ezibaluma ezituuka n’okutta abamu.
Tumwesigye agambye nti bagaala kulaba nti buli maka gatuukiriza ebyetaagisa mu byobulamu nga bayita mu kunyweeza ebikozesebwa mu malwaliro ga wansi
Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga lya Burundi kataddewo nga 15 omwezi ogujja okulonda omukulembeze w’eggwanga mu ggwanga lino.
Kinajukirwa nti abakulembeze b’amawanga ga Africa bazze basaba okulonda kwongezebweyo wakiri okumala weeki 6, kyoka kino tekinasoboka.
Okulonda kuno kwalina okubeerawo nga 26 omwezi guno, kati kutereddwa nga 15 omwezi ogujja.
Bo banansi ba Burundi bakyagenda mu maaso n’okwekalakasa ngabawakanya ekya…
Mu kibuga Stamford, waliwo abafumbo abaddukidde ku poliisi nebawaaba kkapa yaabwe lwakubalemesa kuyingira mu nyumba
Okusinziira ku sitatimenti gyebakoledde ku poliis, kkapa eno eyimiridde mu mulyango nga buli lwebagezaako okuyingira ng’ezimba n’efuuwa
Omusajja agambye nti mu kugezaako okugiyitako, emukwagudde ku kugulu n’emuluma nga y’ensonga lwaki addukidde ku poliisi.