Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abagambibwa okuba abatujju bakwatiddwa

Waliwo abagambibwa okuba abatujju bataano abakwatiddwa Bano bajjiddwaako emmundu 17 n’emotoka enzibe 8 Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa omukago gw’abakulira poliisi mu mawanga ga east Africa nga gukolagana n’ogwo ogw’abatwaala poliisi mu mawanga agali mu bukiikaddyo bwa Africa. Atwala poliisi y’ensi yonna mu Uganda Asan Kasingye agambye nti mu kikwekweto kino mwebasoboledde okununula abantu 8 abaali bakukusibwa nga…

Read More

Namwandu wa Amin Sarah Amin afudde

Eyali muk’omukulembeze w’eggwanga Idi Amin nga ye Sarah Amin afudde. Ono afiiridde mu kibuga London ekya Bungereza ng'aweza emyaka 60. Mutabani wa Amin Jaffer Amin agambye nti batandise enteekateeka ez’okuza omulambo. Ono agambye nti kitaawe yali ayagala nnyo omukyala ono era nga tebawuukana okutuuka lweyafa Abaaliwo bagamba nti omukyala ono eyali omuzanyi mu bandi y'amaggye Amin yamusiima bali mu…

Read More

Embalirira esomeddwa- emisolo ku mwenge, sigala , embaawo girinnye

Gavumenti eyongezezza emisolo ku bbiya, sigala, ebitamiiza nga wine n’enkagaali, ebikolebwa mu ngano n’ebikolebwa ba mu mbaawo. Okufuna paasipoota kati omuntu yetaaga emitwalo 15 okuva ku mitwalo 12 Abagaala paasipoota eza mangu nga zifuluma mu ssaawa 24, omuntu wakusasula emitwalo 30 Mu kawefube w'okutaasa obutonde bw'ensi, emisolo ku motoka enkadde gyeyongedde ng’ezitunuuliddwa ennyo zeeziri mu myaka etaano ne…

Read More

Abasuubuzi ku Majestic beekalakasizza

Abasuubuzi ku kizimbe kya Majestic Plaza bali mu kwekalakaasa Bano basazeewo okuggala amaduuka gaabwe nebatuula ebweru Bawakanya ekya landi loodi waabwe Drake Lubega okulinyisa ez'obupangisa n'amasanyalaze Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okugugumbulula abasuubuzi bano b'egamba nti babadde batandise okukola effujjo Kati poliisi etegese olukiiko wakati wa nanyini kizimbe n'abasuubuzi okulaba nti olutalo luggwaawo Akulembeddemu poliisi Micheal Musana asabye abasuubuzi okukkakkana nga byonna…

Read More

Agambibwa okutegulula bbomu eyogedde byewunyisa

Omu ku basajja abagambibwa okutega bbomu ezatta abantu abasoba mu 70 mu mwaka 2010 amazeeko abantu ebyewungula bw'asobodde okwogera amannya g'abaatega bbomu n'ategeera n'ebifanyi byaabwe nga bimulagiddwa Ono alagiddwa ebifananyi by'emitwe gy'abalumira mwoyo abeesibako bbomu era n'abategeera ng'agamba nti omu bakolagana butereevu naye Idris Nsubuga agambye nti eyabalulira ku Rugby grounds e Lugogo yeeyali Muruzalu nga nzaalwa…

Read More

Bba wa Stecia addiziddwaayo e Luzira

Bba w'omuyimbi Stecia Mayanja addiziddwaayo mu kkomera e Luzira Kino kikoleddwa okuwa oludda oluvuganya obudde okwekebejja empappula z'abajulirwa abaleeteddwa Abbas Mubiru ng'asaba okweyimirirwa Ku bano kuliko Victoria Bukenya omutunzi w'essimu , Andrew Kayonga omutunzi w'emmotoka, ne Godfrey Ssebaggala omusuubuzi ku Mutaasa Kafeero Omulamuzi omukulu owa kkooti eya Buganda road Lilian Buchana kati omusango ogwongezezzaayo okutuuka lw'enkya lw'anasalawo oba ono amuyimbula…

Read More

Dr. Tamale ayitiddwa ku ttaka lya Kitante

Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku kibba ttaka mu kampala kayisizza ekiragiro ekiyita omusawo omukugu mu nsonga z’abakyala Dr Tamale Ssali. Kiddiridde ono okwepena akakiiko kano omulundi ogw’okubiri okunyonyola engeri gyeyafunamu ettaka erya Kitante pimary school. Ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, akulira akakiiko akanonyereza Robert Migadde agambye nti ono alina okunyonyola engeri gyeyafunamu yiika ettaano ennamba ezaali ez’essomero.

Read More

Besigye alabudde abavuganya- bakubacunya

Eyaliko omukulembeze w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye alabudde abalondedwa okukulembera emukago omugya ogwa Democratic Alliance ,nti government egenda kubwa akadde akazibu, era nga basaanye okubeera abulindaala. kinajukirwa nti bano amakya ga leero bakedde kwekolamu mukago gwebatuumye Democratic alliance nga  guno ekigendererwa kyakutwala buyinza mu mwaka 2016, songa bakanyizza n’okutondawo akakiiko aketongodde kalonde omuntu omu agenda…

Read More

FIFA eyimirizza entegeka

Okulonda eggwanga elinakyaaza empaka z’ekikopo ky’ensi yonna mu mwaka 2026 kwongezeddwaayo Ssabawandiisi wa FIFA Jerome Valcke agambye nti kibadde kijja kuba kya bwewussa okugenda mu maaso n’okulonda eggwanga erinakyaaza empaka zino wakati mu mbeera egenda mu maaso Akalulu akanasalawo ggwanga ki erinategeka kakukwatibwa mu Kuala Lumpar mu gw’okutaano gw’omwaka 2017 Amerika y’ekulembedde ku lukalala lw’abayinza okwuangula yadde nga…

Read More