Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Amaduuka gaggaddwa

File Photo : Amaduuka nga gagadwa Ekitongole ekiwooza ky’omusolo kigadde amaduuka 6 wano mu Kampala lwabutasaula musolo. Amaduuka gano gagaddwa wali ku kizimbe kya Energy Centre nga okusinga gabadde gatunda byamasanyalaze. Akulira okukunganya amabanja mu kitongole kino Abdul Salam Waiswa ategezezza nga bwbatajja kukkiriza bantu kukola bzizinesi nga tebasasudde musolo nga era baakuggala n’amalala agagwa…

Read More

Omubaka bamugaanye okwogera

Abakungubazi bagaanye omubaka omukyala owa disitulikiti ye Mukono Peace Kusaasira Mubiru okwogerera ku lumbe nga bamulumiriza obutabakikirira bulungi. Bakombye kw'erima nga bagamba azze gyebali lwa kalulu akasembedde ssonga ebbanga lyonna talabikako mu bantu nebwebaba mu buzibu, atenga nemu palament tebamuwulira nti alina kyayogedde. Bino bibadde wali ku kyalo Kavunza mu muluka gwe Kawolo mu Buikwe bwebabadde baziika…

Read More

Ebiragalaragala bikosezza ebyenfuna

File Photo : Omusajja nga anya enjaga Bannayuganda okwongera okukozesa ebiragalaragala kitunuuliddwa ng'ebimu ku kusoomozebwa okwamanyi okwolekedde  eby’enfuna by’eggwanga. Okutya kuno kulagiddwa abakugu mu kujanjaba abalwadde b’emitwe nga eggwanga likuza olunaku lw’okulwanyisa okukozesa ebiragalaragala. Ng'ayogerako nebannamawulire wano mu kampala, akulira eddwaliro ly’abatabufu b’emitwe erye  Butabika David Basangwa agambye ku buli  balwadde 800 bebafuna, 250 kiba kivudde ku kukozesa…

Read More

Ekibba ttaka kikosezza ebyenjigiriza

Minisitule y’ebyenjigiriza etegezezza nga eggwanga bweritayinza kuba nabyanjigiriza byamulembe nga ekibba ttaka ly’amassomero ga gavumenti tekinaggwawo. Bino byogeddwa minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo mukiseera nga amassomerop agasinga gabiddwako ettaka . Nga ayogerako nebannamawulire ku ssengejjero lya gavumenti erya  ly’amawulire erya erya Media Centre, Minisita Alupo asabye ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti okutandika okunonyereza ku kibba ttaka ly’amassomero gano. Agamba baagala…

Read More

Jomayi ategeraganye ne Tumukunde

Abatuuze ku ttaka lya Jomayi e Bujuuko baakedde kujaganya oluvanyuma lwa kkooti okulagira munnamaggye Brig. Henry Tumukunde okuwaayo ekyapa ly’ettaka lyabadde agobako Jomayi e Bujuuko mu bwangu. Mu ngeri yemu, Jomayi alagiddwa okusasula ssente akawumbi kamu Tumukunde zeyali ayimiriza okusasula Tumukunde olw’okumusaba ebyapa nga tabimuwa. Abatuuze bino mu esiteeti eyo bino olubagudde mu mattu nebajaganya nga bagamba…

Read More

Eyatomerwa emmotoka za pulezidenti asaba buyambi

File Photo: Emotoka ya police nga etomedde   Bazadde b’omuwala ayatomerwa emotokamu luseregende lw’emmotoka z’omukulembeze w’eggwanga namenyeka amagulu nokumwabya omutwe basaba buyambi. Winnie Mutesi omutuuze we Wakiso mu Katawuni agamba yali mabbali ga kkubo wabula e motooka zamulumbayo bwezali ziziyiza emotoka endala okuyingira mu luseregedde lwa pulezidenti. Ono yatomerwa ku balaza ya sabiti eno Museveni bweyali ava okugulawo ekizimbe…

Read More

Mbabazi okwebuuza ku balonzi- bannamateeka

File Photo : Eyali sabaminisita we gwanga Eyali ssabaminisita Amama Mbabazi teyamenye tteeka lyonna kutegeka nkiiko za kwebuuza ku bantu Munnamateeka omukuukuutivu mu kibuga Ladislas Rwakafuzi  agamba nti omuntu yenna alina enteekateeka okwesimbawo waddembe okwebuuza ku bantu kasita aba ng’ategeezezzaako akakiiko akalondesa Rwakafuzi agamba nti mu kadde kano, tewaliwo tteeka ligaana Muntu kukola kino nga poliisi bw’egamba Ono agamba…

Read More

Mao ayagala kisanja kirala

File Photo : Mao ngali mulukumwana Akulira ekibiina kya DP Norbet Mao ajjeeyo foomu ng’ayagala kuddamu kwesimbawo ku bukulembeze bw’ekibiina kino Ono yegasse ku Dr Lulume Bayiga naye ayagala ekifo. Addukanya emirimu gy’ekibiina Peter Ssempijja agamba nti kwa bwa ssabawandiisi omuntu omu yeeyakajjayo foomu nga ye mubaka wa East Africa Fred Mukasa Mbidde Bannakibiina kya DP bakulonda abakulembeze abaggya…

Read More

Omupoliisi alumirizza abagambibwa okutega bbomu

File Photo : Atebelezebwa Okutega bomu Omupoliisi agambibwa okufuna sitatimenti yoomu ku basajja abavunaanibwa ogw’obutujju olwaleero naye awadde obujulizi. Moses Kato ng’akolera mu kiwayi ekinonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli yoomu ku baawandiika sitatimenti y’omu ku bagambibwa okutega bbomu ze Kyaddondo ne Kabalagala. Munnansi wa Kenya ono Mohammed Ali yakkiriza okubeera memba wa Alshabab. Kato agambye nti Mohammed Ali…

Read More