Omukyala gwebasaze obubi enviiri ensonga zitutte ku poliisi
Omukyala ono ow’enzaalwa ya Bungereza akubidde poliisi ng’agyebuzaako oba asobola okutwala ensonga eno mu kkooti
Omukyala ono era ategeezeza poliisi nti agaanye okusasula kale nga ssinga nanyini saluuni abaloopera tebebuuza lwaki tasasudde
Abayisiraamu basabiddwa bulijjo okwongera okusoma ekitabo ekitukuvu ekya quran mu mwezi guno omutukuvu ogwa Ramadhan
Kinnajjukirwa mu mwezi guno Quran mweyakkira era nga ne nabbi Muhammed yanyiikiranga okugisoma
Imam w’omuzikiti gwe Najjanankumbi Ahmed Kyeyune agambye nti okusoma Quran kabonero kalungi ak’obwetowaze kale nga buli omu asaanye okugyekwata
File Photo: Abakyala nga bawebwedwa mama kits
Mu disitulikiti ye Lira , abakyala b’embuto bagenda okufuna ebikozesebwa mu kuzaala kyokka nebababitunda okufunamu ejjamba.
Abakyala aboogerwako beebali mu divizoni ya leerwe ng’ebikozesebwa bino babiggya ku Ayago health centre III nebabitunda mu malwaliro ge miriraano ku shs omutwalo gumu n’ekitundu.
Abakyala bano nno olumala nebaddukira mu ddwaliro ekkulu erye Lira…
File Photo: Abalwadde Mu dwaliro
Abatwala eddwaliro lya gavumenti erya Mukono Health Centre 4 bagamba balina essuubi nti eddwaliro lino lyakulongooka. Omukulembeze w’eggwanga yasuubiza okuyambako mu kuzimba ebizimbe by’eddwaliro lino kisobozese minisitule y’ebyobulamu okulisuumusa okudda ku ddaala ly’eddwaliro eddene wabula kati kitutte ebbanga. Akulira eddwaliro lino Dr. Godfrey Kasirye ategezezza nti wadde Munisipaali ye Mukono eriko…
File Photo : Abakaramoja
Minisita w’ensonga za Karamoja era mukomukulembeze w’eggwanga Janet Kataha Museveni alabudde abavuzi ba taxi n’abagoba ba bodaboda okwewala okwewola ensimbi buli kiseera wabula beterekere okusobola okwetandikirirawo emirimu emirala.
Nga ayogerako eri abantu bano, mukyala Museveni y’ategezezza nga basajja battu bu bizinesi bwabwe bwebutwalibwa abawozi b’ensimbi oluvanyuma lw’okulemererwa okusasula amabanja agabayitirirako.
Mungeri yeemu abawadde amagezi…
File Photo : Omukulembeze wa Uganda Museveni
Ababaka b’akabondo k’ekibiina kya NRM ssibakuteesa ku nsonga z’eyali ssabaminisita w’eggwanga wabula ensonga z’ekibiina endala ez’etagisa okukolebwko amangu ddala.
Kino kiddiridde ssentebe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga okuyita abababaka b’akabondo ka NRM okuteesa ku ku nsonga ez’enjawulo mu kibiina.
Omwogezi w’akabondo k’ababaka bano Hamson Obua ategezezza nga bwebagenda okuteesa mabago…
File Photo: Katikiiro wa Buganda
Ssabasajja Kabaka wa Buganda alagidde Katikiro w’amasiro ge Kasubi agobe abatundirayo eddagala wamu n’abo abasamirira mu kifo kino.
Okiragiro kino akitisse Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu lukiiko lwa Buganda olugenda mu maaso wali e Bulange Mengo.
Beene era ayingidde mu kusika omuguwa wakati wa Nalinya w’amasiro g’e Kasubi n’akulira okusereka amasiro…
File Photo: Magogo owa Fufa
Emivuyo mu kibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ekya FIFA gyandikosa enzirukanya y’emirimu mu kibiina kyakuno ekya FUFA.
Akulira FUFA Moses Magogo agamba embeera eno yandibakosa mu byensimbi naye nga nabo betegekerawo ensimbi ezisobola okubatwaza kumpi emyaka 4 nga tebafunye buyambi kuva eri FIFA.
File Photo: Abantu nga bekalakasa
Eggwanga lya Israel likkirizza okuyimbula omusibe omufirisuuti asiibye enjala kati ennaku 55.
Israel etegezezza nga embeera ya Khader Adnan, 37 bweyeralikiriza wabula nga wakutandika okulya n’okunywa era ayimbulwe mu wiiki 2.
Wabula Israel etegezezza nti yadde nga ono bagenda kumuyimbula, wattabu nyo eri ensi yonna.
Adnan azze akwatibwa Israel enfunda eziwerako nga…
Gavumenti eweze okutagyawo kkoligo lyeyateeka ku balimi baakuno okutatunda ebirime byabwe mu katale k’amawanga ga Bulaaya okutuusa nga balinyisizza omutindo ogwetagisa.
Omwezi oguwedde amawanga ga bulaaya ag’enjawulo gemulugunya ku mutindo gw’ebirime bya Uganda omubi nokukozesa enyo eddagala ku birime bino.
File Photo: Omukyala na baana munimilo
Okuwera okutunda ebirime bya Uganda kwalangirirwa minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde nga kwatandika…