Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abatuuze baggadde oluguudo

Abatuuze  ku kyalo Sakabusolo  mu  gombolola ye Buwama  mu disitulikiti ye Mpigi bazibye oluguudo oluva e Butambala okudda e Mpigi nga bagamba nti abakulembeze ku gombolola balemereddwa okulukola. Abasubuzi abatwala ebyamaguzi  mu butale omuli Kamengo, Mpigi ne Buwama beebasinze okukosebwa. Abatuuze bagamba nti oluguudo luno lumaze ebbanga nga luyisibwa e gombolola ye Buwama kyokka nga negyebuli kati …

Read More

Munnamateeka Kasango bamuwenja

Poliisi eri ku muyiggo gwa munnamateeka omututumufu mu kampala Bob Kasango. Kasango avunaanibwa kwezibika obuwumbi 15 Omwogezi wa poliisi Fred Enanga sagambye nti Kasango yayimbuddwa poliisi y’oku luguudo lwe Kira era nga yalina okuddayo ku poliisi kyokka nga guno gujwa, talabikako Enanga agamba nti ono alina okunyonyola ku mayitire g’ensimbi zino ezamuweebwa gavumenti ku misango gy’abakozi ba gavumenti…

Read More

Okwegatta geemaanyi

Eyali omukwanaganya w’ebitongole bya gavumenti ebikeesi Gen David Ssejusa olunaku lw’eggulo yasobodde okukuba poliisi ekimooni neyetaba ku lukungana lw’abavubuka ba FDC e Masaka. Mu lukungana olwategekeddwa ku kitebe kya FDC e Masaka, Ssejusa yasabye ebibiina ebivuganya gavumenti okukolera awamu okusobola okuwangula pulezidenti Museveni. Sejusa yategeezezza nti sikyangu omuntu sekinoomu okutwala obuyinza, kyokka ebibiina bwebyegatta kijja kuba kyangu.

Read More

Pulezidenti Museveni atenderezza Nyerere

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni atendereza omulimu ogwakolebwa eyali omukulembeze w’eggwanga lya Tanzania Muwalimu Julius Nyerere mu kuwagira abayeekera abali balwanyisa obukulembeze bwa nakyemalira Idi Dada. Museveni okusiima kuno yakukoze mu kuziika omugenzi Johnson Nyinondi eyayamba ekibiina kya FRONASA, mu kulwanyisa Amin. Mu kwogerako eri abafiirwa Pulezidenti Museveni yagambye nti bannansi ba Yuganda tebayinza kwerabira omulimu gwa Nyerere…

Read More

Abagambibwa okutta Sheikh Kiirya bakwatiddwa

File Photo: Sheik Kirya eyatidwa Poliisi y’ensi yonna wano mu ggwanga wamu n’abatwala eby’okwerinda mu eggwanga lya  Kenya, batandise okwekenenya amawulire agalaga nti waliwo abasajja 2 bakwatiddwa nga bateberezebwa okutta Shiekh Hassan Kirya. Okusinzira ku mawulire okuva mu ggwanga lya Kenya, abakwatiddwa kuliko Malcom Lukwiya ne Emmanuel Oneka nga bakwatibwa mu kitundu ekimanyiddwa nga Kabete mu kibuga…

Read More

Okuddabiriza Namugongo kutandise

File Photo: Abalamazi nga bali e namugongo Ssabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga alangiridde mu butongole enteekateeka z’okuddabiriza ekiggwa ky’abajulizi ekye Namugongo n’ekye Munyonyo ng’omulimu gutandise olwaleero. Bino byonna byakukolebwa ng’eggwanga lyetegekera okukyala kwa Papa Francis mu mwezi gwa November. Ekelezia katolika era etegezeza nga Papa bw’agenda okutuuka kuno nga 27, olwo nga 28 agende…

Read More

Obujama bususse

File Photo:Abasajja nga baseena amazzi Abalwadde n’abajjanjabi ku ddwaliro lya Sembabule health center IV benyamidde olw’obujama obususse mu ddwaliro Bano okukandula ku maloboozi babadde baaniriza abakulembeze b’olukiiko oludddukanya disitulikiti ababadde bagenze okulongoosa eddwaliro nga basaaye n’okulonda kasasiro ku ddwaliro lino. Abalwadde bagamba nti embeera eno esusse nga bayinza n’okujjamu ate endwadde endala. Bano bagamba nti tebalina mazzi ne kabuyonjo…

Read More

Temukuliriza bumanyirivu

File Photo:Stanley Ntagali nga ayogeera Abagaba emirimu basabiddwa okuwa abayizi ababa bakatikiddwa omukisa okukolera mu makampuni gaabwe yadde nga tebalina bumanyirivu ku mulimu guno. Okusaba kuno kukoleddwa ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda kitaffe mu katonda Stanley Ntagali mu kutikkira abayizi ku yunivasite ya Uganda Christian University e Mukono. Ntagali ategezezza nti abavubuka bangi batikkiddwa zi diguli wabula baasigaza bikoofira…

Read More

Bukenya ssiwakwetaba mu kamyufu

File Photo : Bukenya nga bamusitudde Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya agamba nti ssiwakwetaba mu kamyufu ka NRM Bukenya bino abyogeredde mu Lukiiko lw’eokwebuuza ku ba memba b’ekibiina kye ekya National Transitional Party mu maka ge e Kakiri mu disitulikiti ye Wakiso. Prof Bukenya agambye nti mu kaseera k’akamyufu ka NRM, wakuwandiikira ssabawandiisi w’ekibiina kyaabwe okumunyonyola…

Read More