Namwandu w’eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Samson Kisekka afudde
Mary Nanfuka Kisekka afiiridde mu ddwlairo e Nsambya enkya ya leero
Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde mu maka g’omukulembeze w’eggwanga, Omukyala ono afudde aweza emyaka 92
Wajja kubaawo okusabira omwoyo gwe ku lw’okubiri ku kkanisa y’abadiventi Entebbe olwo aziikivwe e Temangalo olw’okusatu.
Poliisi ekutte dereeva w’omubaka we Rubaga mu bukiikakkono Moses Kasibante .
Ono abadde avuga motoka ebadde eranga olukungaana lw’ategese e Nakulabye okwebuuza ku bantu ku nongosereza mu mateeka g’eby’okulonda
Kasibante agambye nti yawandiikira poliisi okugitegeeza ku lukungaana kale nga tewali nsonga ate lwaki abantu be bakwatibwa
Wabula yye omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti…
Poliisi ye Luweero eriko emotoka z’amanda 25 z’ekutte lwakutikka kabindo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu.
Akulira poliisi y’ebidduka mu kitundu kya Savanah Hassan Ssekalema agambye nti emotoka zabadde zittisse nyo ate nga ziri mu mbeera mbi.
Sekalema agambye nti emotoka nga zino ezitikka akabindo zeezivaako obubenje obweyongedde ku nguudo.
Wabula bbo abatambuza amanda bagamba nti…
Eyali omukulembeze wa misiri Mohamed Morsi asaliddwa ekibonerezo kya kuwandikibwa ku kalabba.
Kiddiridde ono okusingisibwa emisango gy’okumenya ekkomera okutolosa abantu bonna abaali bakwatiddwa nga beekalakaasa okuvuunika gavumenti ya Hosni Mubarak.
Kati ebisaliddwaawo abalamuzi byakusindikibwa eri bannadiini abakulemberwa mufuti okusalawo oba attibwa oba nedda
Wabula ono asobola okujulira yadde bannaddiini baba bakkirizza attibwe
Morsi yamamulwa ku ntebe mu mwaka 2013…
Okukola dduyiro eri abantu abakaddiye kibawangaaza era nga bweguli n’eri abo aberekereza sigala.
Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa ku basajja abakadde abawerera ddala 5,700 mu ggwanga lya Norway nga kyeyolese ntia bakadde abakola dduyiro bawangaalayo emyaka emirala etaano.
Mu kunonyereza kuno abasawo mwebayise okukubiriza abantu bulijjo okukubiriza abakadde bano okukola dduyiro
Abavubuka 2 bakubiddwa amasasi agabatiddewo mu kwekalakaasa kw’abayizi mu ggwanga lya Chile.
Abagenzi bategerekese nga Exequiel Borbaran, 18, ne Diego Guzman, 24.
Bano batiddwa mutabani mu maka agamu kwebabadde basiiga birangi mu kwekalakaasa .
Abayizi mu ggwanga lino bazze bekalakaasa nga baagala enongosereza mu by’ensoma by’eggwanga lino.
Poliisi egamba y’akakwata abavubuka 22 mu kwekalakaasa okugenda mu maaso.
Ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’ebintu mu ggwanga kitongozza enkola y’okusasula emisolo gy’ebyamaguzi ebiva ebweru weggwanga ku yintaneti.
Akulira ekitongole kino Ben Mayindo agamba bakufissa kumpi obukadde nga 100 ezibadde zisasanyizibwa ku mpapula ezetaagisa okuyisamu ebyamaguzi buli mwaka.
Agamba era kino kyakukendeeza ku misoso egirina okuyitibwamu n’obuli bwenguzi mu kuyisawo ebyamaguzi bino.
Abatuuze be Buzaaya mu disitulikiti ye Kamuli bakkakanye ku musajja gwebalumirizza okubeera omulogo nebamutta.
Abatuuze bazze balumiriza Moses Mutawoza okutta banaabwe ku kyalo nga abasindikira ebyokoola.
Bano bategezezza nga ekikolwa kya kalogo kalenzi ekyakasembayo, omusajja ono y’aloga abaana b’essomero 3 nebagwa ku kabenje nebafa okusobola okufunira amayembe ge geyakajja e Tanzania omusaayi.
Aduumira poliisi ye Kamuli Ninsiima alabudde…
Omuyizi w’ekibiina ekyokuna ku ssomero lya Nyamitanga Primary school e Sembabule atomeddwa mmotoka nemuttirawo
Musa Ssekandi y’atomeddwa ttipa namba UAU 803C ebadde eva e Nyamitanga okudda e Ntusi nga era okusinziira ku taata w’omugenzi Muhamad Kalanzi mutabaniwe abadde adda waka okuva mu katawuni ke Nyamitanga gy’abadde agenze okugula ebintu.
Kalanzi agamba bafunye entiisa oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti…
Ba general abasatu abaabadde emabega w’okugezaako okuvuunika gavumenti ye Burundi bakwatiddwa wabula omukulembeze waabwe Gen Godefroid Niyombare akyekukumye.
Gen Niyombare eyatandise eby’okuvuunika gavumenti ya pierre Nkurunziza ategezezza bannamawulire ba AFP nti batya banditibwa.
Gen Niyombare ategezezza nga bwebewaddeyo eri abali mu buyinza nga era kitegerekese nga Nkurunziza bweyazze dda kubutaka.
Bbo abajaasi 5 batiddwa mu kasambattuka akaabadde mu…