Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Mivuyo mu Burundi,pulezidenti tamanyiddwaako mayitire,amaggye getemyeemu

Abakulembeze b’amawanga ga East Africa basabye wabeewo okuyimiriza okulonda mu ggwanga lya Burundi Abakulembeze bano abasisinkanye mu Tanzania bagamba nti embeera eri mu Burundi tesobozesa kulonda kyokka nga bagamba okwongezaayo tekulina kusukka gavumenti eriko w’ebadde erina kukoma Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa abakulembeze bano, mwebayise okuvumirira ebiri e Burundi nebasaba ekisoboka kikolebwe okuzza emirembe mu ggwanga lino Bano era basabye…

Read More

Yeetugidde mu kaduukulu

Poliisi e Soroti etandise okunonyereza ku musibe asangiddwa mu kadukuulu ng’afudde Michael Egimu Sunday asangiddwa ng’alina olugoye mu bulago era nga kiteberezebwa nti yeetuze Ssentebe w’ekitundu ky’obuvanjuba mu municipaali eno Paul Omer agambye nti bagaala kunonyereza kuzuula oba ddala omugenzi yesse oba waliwo abamutuze. Wabula bbo ab’enganda z’omusajja ono bagamba nti baakomye okumulaba nga mulamu bulungi nga taliiko…

Read More

Abayiga obusawo abamu basasuddwa- bagaanye okusazaamu akeediimo

Nga wayise ennaku ttaano ng’abayiga obusawo bassizza wansi ebikola, minisitule y’ebyobulamu egonze n’ebasasulako omwezi gumu Abakulira abasawo bano mu bitundu bye Soroti, Jinja, Mbale ne Naguru bagamba nti basasuddwaako omwezi gwa January kyokka nga tebagenda kudda ku mirimu okutuuka nga bongeddwa ensimbi. Omu ku basawo bano aataagadde kwatuukiriza mannya ge agambye nti bakkiriziganyizza nti balinde…

Read More

KCCA ereese akatale buli ssande

Kampala Capital city Authority erangiridde nga oluguudo lwa Luwum bwerugenda okufuulibwa olw’okutundirako ebintu buli lwa ssande. Akatale kano kakutandika nga ku ssaawa kkumi n’emu ey’okumakya kaggalwe kkumi n’emu eya kawungeezi Atwala eby’emirimu n’empereeza mu KCCA Harriet Mudondo agambye nti kino bakikoze kumalawo muze gwa butembeeyi nga kati bano baweereddwa obudde okutunda ebyaabwe Mudondo wabula agamba nti buli musuubuzi…

Read More

Ababaka ba palamentia bakyala bakendeezebwe

Ekibiina ekitaba bannamateeka kyagaala eby’abakyala okuba n’abakiise ku buli disitulikiti biveewo kko n’abakiise n’amaggye. Bano babadde balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka akakungaanya ebirowoozo ku nongosereza mu ssemateeka Akulira ekibiina kino Kalooli Ssemwogerere agambye nti kino kijja kuyamba okukendeeza ku ku bungi bw’ababaka mu palamenti Ekirowooza kyaabwe kiri nti abakiise b’abakyala babe nga bali ku bitundu…

Read More

Dr Besigye, Lukwago bakwatiddwa

Loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago akwatiddwa nga ye eyali ssenkagale w’ekibiina kya  FDC l Dr. Kizza Besigye bulekidawuni emusikidde mu mmotokaye gy’alemeddemu. Gyebuvuddeko poliisi erinye eggere mu lukungaana lw’abannabyabufuzi abavuganya gavumenti olubadde lugendereddwamu okukubaganya ebirowoozo ku nongosereza mu mateeka g’ebyokulonda. Mu kiseera kino Besigye ku poliisi ya Jinja road ate Lukwago ku ye Katwe ye aduumira poliisi…

Read More

Abavuganya banjizza enjowooza zaabwe

Oluvanyuma lwa gavumenti okwanja enongosereza zaayo mu ssemateeka eri palamenti , ab’oludda oluvuganya gavumenti nabo banjizza ezaabwe eri akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka.   Kino kiddiridde amyuka sipiika wa palamenti  okutegeeza nti buli awulira nti ebirowoozo bye tebyabadde mu nongosereza ezaayanjiddwa gavumenti  waddembe okuwa ebirowoozo eri akakiiko ka palamenti kano ak’ebyamateeka.   Okusinziira ku ssabawolereza wa gavumenti  yekisiikirize  Abdul katuntu,mpawo…

Read More

Abasomesa balangiridde okwediima

Abasomesa balangiridde akediimo okwetoloola eggwanga lyonna okutandika olunaku olwaleero.. Bano nga bakulembeddwamu ssabawandiisi w’ekibiina ekibataba mu ggwanga  James Tweheyo bategezezza nga gavumenti ne minisitule y’ebyenjigiriza bwebalemereddwa okutuukiriza ebisuubizo byabwe.   Ku bino kuliko okubongeza omusaala mu mwaka gw’ebyensimbi  ogujja n’ebitundu 10% ssaako n’okulemera obuwumbi bwabwe 25 obwabaweebwa omukulembeze w’eggwanga okwekulakulanya.

Read More

Gavumenti ya Burundi evuunikiddwa- Kujaganya

Agava mu Burundi  galaga nga  bwekirangiridwa  nti  omukulembeze w'eggwanga lino Pierre Nkurunziza  ne gavumenti ye bavunikiddwa Omu ku bakulu mu maggye Godefroid Niyombareh ategeezezza bannamawulire nti akavuyo kaweddewo, era nga bakozeewo n’akakiiko akeetongodde kebatuumye National salvation committee okugira nga kafuga eggwanga lino. Kaakano emikutu gyamawulire gyonna mu ggwanga lino gyogeraku kuvuunikibwa gwa gavumenti  era nga okucacanca kulabiddwako…

Read More

Aba NRM balabuddwa

Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM alabudde bannakibiina abamegebwa mu kamyufu oluvanyuma nebesimbawo nga abatalina kibiina. Mukyala Justine Kasule Lumumba okulabula kuno yakuyisizza atongoza okuwandiisa bannakibiina wali e Masaka ku woteeri ya Garden Courts e Masaka. Lumumba agamba baakuteesa emikono ku ndagaano abantu bonna abegnda okwesimbawo mu kamyufu nga teri kwesimbawo nga abatalina kibiina nga bawanguddwa. Lumumba era y’alabudde abakukulembeze…

Read More