.
Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Zubair Sowedi Kayongo mulwadde.
Kayongo aweereddwa ekitanda ku Case hospital
Omwogezi w’ekiwayi kye Kibuli Sheikh Hassan Kiirya agamba nti kituufu Supreme mufti mulwadde kyokka ng’embeera teyeraalikiriza
Akakiiko akatekeebwawo okunonyereza ku ngeri y'okukulakulanyamu ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba olunaku olwaleero kawaddeyo alipoota yaako eri Katikiro Charles Peter Mayiga .
Akikiiko kano akakulembeddwamu Dr Kenneth Ssemwogerere kaweebwa emyezi mukaaga okufulumya alipoota eno.
Bw’abadde akwasibwa alipoota eno, Mayiga atendereza abakulu ku kakiiko kano okukola omulimu mu budde awatali kwekwasa nsonga yonna.
Mayiga era agambye nti abantu ba…
Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti okutiisatiisa abatujju kwebakola tekujja kubakosa era bakole gyaabwe
Bino bizze ng’abantu batandise okweralikirira nti okukanga kuno kwandigoba bamusiga nsigo
Ng’ayogerako eri bannamwulire, Kaihura agambye nti waliwo akakiiko akassiddwaawo okulawuna ebifo byonna ebiyinza okulumbibwa abatujju
Asabye abantu okubeera obulindaala okuloopa ekyo kyonna kyebekengedde naddala abantu abatategerekeka
Ebigambo bya Kaihura bizze nga wakayita…
KKampuni y’emifaliso eya Crestfoam tejja kuggulwaawo okutuuka nga bafunye alipoota ku muliro ogwatta abantu mukaaga
Minisita w’abakozi Kamanda Bataringaya akyaddeko ku kkolero lino,agambye nti bano basooka kusasula abaviibwaako abaabwe nga tebanaddamu kukola
Ono era yenyamidde nti ekkolero eddene nga lino lirina omulyango gumu nga gweguyingira ate negufuluma
Yye atwala ekkolero lino Joselyn Kateeba agamba nti bakutereeza kyokka ng’agamba…
Omusajja ow’emyaka 31 asibiddwa emyaka 2 lwakusangibwa na njaga
Dauda Lutwama amukalize ye mulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya City hall Elias Kakooza oluvanyuma lw’obujulizi okulaga nti ddala ono yali atambuza enjaga
Omulamuzi era yesigamye ku bujulizi obutwaliddwaawo mukyala wa Lutwama n’abaana nga bagamba nti buli lw’abadde aginywa ng’abakuba
Wabula omulamuzi asabye obukuumi eri mukyala wa Lutwama n’abaana…
Minisitule y’ebyobulamu etongozezza kawefube w’okugema abasawo bonna mu kawefube w’okulwanyisa ekirwadde kya Hepatitis mu Uganda.
Minisita akola ku byobulamu Dr Elioda Tumwesigye agamba nti kino kigendereddwaamu kutangira kirwadde kino kuva ku balwadde kukwata basawo ate abalina okubakolako
Tumwesigye agamba nti bannayuganfa abali mu bukadde 16 beebali mu bulabe bw’okufuna ekirwadde kya Hepatitis.
Amaggye ga Nigeria gagamba nti geezizza ekitebe ky’abannalukalala ba Bokoharam mu Kibuga Gwoza
Abakambwe bano abawera battiddwa ate abalala bakwatiddwa
Amaggye gagamba nti kati gali mu kweruula kifo kino ekyaali kyeddizibwa abakambwe bano
Bino bizze nga Nigeria yetegeka kulonda mukulembeze w’eggwanga olunaku lw’enkya
Omusajja avunaanibwa okubba banka akimazeeko omulamuzi bw’ajjeemu empale neyeyambira mu kkooti n’oluvanyuma obubi bwe n’abulya
Mu kutya omulamuzi ayimirizza kkooti okumala akabanga.
Bino bibadde mu ggwanga lya California ng’omusajja omunaanibwa agambibwa okubaamu Katwe wungu.
Waliwo omwana azaaliddwa ne nnamba 12 ng’emwetimbye mu kyenyi
Omwana ayogerwaako azaalidwa mu ggwanga lya South Africa mu kibuga Johanesburg nga n’abasawo tebannaba kutegeera kivuddeko mbeera eno
Ekyewunyisa nti omwana ono ali bulungi ddala nga talina yadde bulwadde
Disitulikiti y’e Mpigi eyisizza embalirira ya buwumbi 21 n'obukadde 400 .
Ensimbi zino okusinga zakuzimba nguudo, okuyamba ku by'enjigiriza n’eby’obulamu.
Eby’obulamu biweereddwa obuwumbi 2 n'obukadde 800 nga obukadde 293 zakuddabiriza ddwaliro ly’eNkozi akawaumbi kamu kasasule emisaala gy’abasawo.
Eby’enjigiriza biweereddwa obuwumbi 12 nga obukadde 477 za bonna basome wa pulayimale sso nga 982 za bonna basome wa secondary.
Ensimbi ezisinga…