Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Afudde Waragi

Entiisa ebutikidde abatuuze be Lugusuulu  mu disitulikiti ye Sembabule oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gwamunaabwe eyafudde waragi. Jackson Nkiranuye 40 okuva ku kyalo Kabulasoke asangiddwa nga afiiridde ku faamu ya mukamawe Perez Kwizuka oluvanyuma lw’okwekatankira entabaaza bakadde awatali kulya. Kwizuka ategezezza nga omukozi we ono bweyamusabye ssente okugenda okugula ebijanjaalo eby’okulya ewaka wabula ssente zonna y’azimalidde mu bbaala. Omulambo…

Read More

abakyala ba NRM basisinkanye- Muka Mbabazi abaddeyo

Pulezidenti Museveni akunze abakyala ba NRM okusomesa abantu ku ngeri y’okulwanyisaamu obwavu Bino puelzidenti abyogedde ayogerako eri abakyal a mu kibiina kya NRM abasisinkanye mu Lukiiko lwaabwe ku Imperial Royale Hotel Olukiiko luno olumaze olunaku olumu lwategekeddwa amyuka akulira abakyala mu bugwanjuba Susan Muhwezi Abakyala bano era batenderezza pulezidenti Museveni olw’obuterabira bakyala ng’abalonda ku bwaminista n’ebifo by’obuvunaanyizibwa Basonze…

Read More

Tekyaali Dipulooma Makerere

Ettendekero ekkulu erye Makerere lukulekera awo okugaba dipulooma mu masomo mukaaga Omukulu mu ttendekero lino Vincent Ssembatya, agambye nti basazeewo okuyimiriza dipulooma okukendeeza ku nsimbi ezissibwa mu kuddukanya ettendekro okusobola okusobola okussa essira ku masomo ga diguli Ono agambye nti babadde bassa ensimbi nyingi mu masomo ga dipulooma ekitetaagisa ate ng’abaana batono abagendayo Sembatya wabula atangaazizza nti abayizi…

Read More

Enyonyi egudde abasoba mu 150 bandiba abafu

Enyonyi ebadde ekubyeeko abantu 144 eremedde omugoba waayo n’egwa. Enyonyi eno eya bagirimaani egudde mu nsozi z’omuzira ezisangibwa mu Bufaransa Enyonyi eno ebadde edda Barcelona ng’eriko abagiddukanya mukaaga Omukulembeze w’eggwanga lya Bufaransa Francois Hollande agambye nti tebannategeera kivuddeko kabenje kano kyokka nga wekabadde balina okutya nti wayinza okubulawo alama

Read More

Bamukyaaye lwa bifananyi

  Omu ku bannabyabufuzi mu ggwanga lya Ukraine akyaaye mukyala we lwa bifananyi by’amuwerezza okumusikiriza Karen yekubisizza ebifananyi nga yeemolera ku motoka ye era n’ebimu n’abissa ku kitimba Omusajja ono ensonga azituusizza mu kkooti ng’ayagala babawuule nga mukyala we amulanga kumuswaza

Read More

Okunonyereza ku bya Kasiwukira kugenda mu maaso

Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ebisingawo ku kuttibwa kw’omugagga Eria ssebunya eyali amanyiddwa nga Kasiwukira. Bino byogeddwa munnamateeka wa gavumenti Ruth Kabahuma mu musango namwandu w’omugenzi Sarah Nabikolo mw’avunaanibwa okutta bba. Nabikolo avunaanibwa wamu n’omupoliisi Ashraf Dedeni ne mulamu we Sandra Nankungu bwebalabiseeko mu maaso g’omulamuzi George Watyekere  . Wabula omulamuzi ayongezezzaayo omusango ogutuuka nga 21st omwezi ogujja…

Read More

Ebola agenda mu gwa munaana

Obulwadde bwa Ebola mu bugwanjuba bw’eggwanga bujja kuba butuuliddwa ku nfeete mu mwezi gw’omunaana wegunaatukira Akulira omukago gw’amawanga amagatte ku bulwadde bwa Ebola Ismail Ahmed y’ategeezezza bw’ati. Ono azzeemu okukkiriza nga bwebasooka okugayaala ekyayongera obuzibu. Obulwadde buno bwakatta abantu abasoba mu mutwalo omulamba.

Read More

Omuceere tegugejja kasita ogufumba bulungi

Bannasayansi bazudde engeri omuceere gyeguyinza okutegekebwaamu omuntu n’agulya ate negutamugezza Bano bagamba nti omuceere guno bwegufumbibwa nga gulimu butto w’ebinazi omuntu n’agussa mu firiigi okumala essaawa mukaaga nga tannagulya guba guwedde ebiriisa ebigezza Abanonyereza bano okuva mu Srilanka bagamba nti omuceere omutegeke bweguti gukendeeza obulabe bw’ebiriisa ebigulimu n’ebitundu 60 ku kikumi Enkola eno ekendeeza ku sitaaki ali mu…

Read More

Bannamawulire bakwatiddwa lwakwogera na Mbabazi

Bannamawulire 3 bakwatiddwa amaggye ga  Special Forces command  lwakwogera ne mukyala Mbabazi nga ono ye  Jackeline Mbabazi nga tebafunye lukusa. Bano kuliko ab’olupapula lwa Daily Monitor okuli Fred Musisi, ne Dominique Bukenya  n’owa NTV  Sheila Nduhukire. Bino bibadde wali ku imperial Royale hotel ewategekeddwa olukungaana lw’abakyala ba NRM olukyagenda mu maaso. Mukyala Mbabazi abadde y’aganiddwa okuyingira olukungaana luno…

Read More